bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 16
2 Kings 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 17 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Peka mutabani wa Remaliya, Akazi mutabani wa Yotamu kabaka wa Yuda n'afuuka kabaka,
2
Akazi yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri; yafugira mu Yeruzaalemu emyaka kkumi na mukaaga. Teyakola kituufu mu maaso ga Mukama Katondawe nga Dawudi jjajjaawe bwe yakola,
3
wabula yagoberera amakubo ga bakabaka ba Yisirayeli. Era yawonga ne mutabani we mu muliro, n'akola ebyenyinyalwa eby'amawanga Omukama ge yali agobeddewo abantu ba Yisirayeli.
4
Yatambiranga n'okunyookeza obubaani mu bifo ebigulumivu ne ku busozi na buli wansi wa muti oguggumizza.
5
Olwo Rezini kabaka wa Aramu ne Peka mutabani wa Remaliya kabaka wa Yisirayeli baayambuka okutabaala Yeruzaalemu, ne bazinda Akazi, naye tebaasobola kumuwangula.
6
Mu budde obwo kabaka wa Edomu n'anunula Elati n'akiddiza Edomu. Yagobamu Abayudaaya, Abeedomu ne basenga mu Elati, ne babeera omwo n'okutuusa olunaku lwa leero.
7
Akazi n'atuma ababaka ewa Tigulati-Pileeseri kabaka wa Assuri, bamugambe nti: “Nze ndi muweereza wo, mutabani wo. Jjangu eno, omponye mu mikono gya kabaka wa Aramu ne mu gya kabaka wa Yisirayeli abannumbye.”
8
Akazi n'akuŋŋaanya ffeeza ne zaabu eyasangibwa mu Kiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze z'olubiri lwa kabaka, n'amuweereza kabaka wa Assuri ng'ebirabo.
9
Ne kabaka wa Assuri n'akkiriza, era n'alumba Damasiko, n'akiwamba. Abatuuze baamu n'abawaŋŋangusiza e Kiri, ne Rezini n'amutta.
10
Olwo kabaka Akazi n'agenda okusisinkana Tigulati-Pileeseri kabaka wa Assuri mu Damasiko. Akazi bwe yalaba omwaliiro ogwali mu Damasiko n'aweereza ewa Wuriya kabona ekifaananyi n'entereeza yonna ey'enzimba yaagwo.
11
Wuriya kabona n'azimba omwaliiro ng'agoberera entereeza yonna kabaka Akazi gye yali aweerezza ng'ayima e Damasiko, n'amaliriza nga kabaka Akazi tannadda okuva e Damasiko.
12
Kabaka bwe yava e Damasiko n'alaba omwaliiro, n'asembera gye guli n'aweererezaako ebitambiro.
13
Yaweereza ebitambiro bye ebyokye n'ebitone bye eby'obuwunga; yayiwa ekitone eky'okuyiwa, n'amansira ku mwaliiro omusaayi gw'ekitambiro eky'okussa ekimu.
14
Omwaliiro ogw'ekikomo ogwali mu maaso g'Omukama yaguggya mu maaso g'Ekiggwa, kwe kugamba, okuva wakati w'omwaliiro omuggya n'Ekiggwa ky'Omukama, n'agussa ku luuyi lw'omwaliiro omuggya olw'emambuka.
15
Era kabaka Akazi n'alagira Wuriya kabona nti: “Ku mwaliiro omunene kw'oba oweererezanga ekitambiro ekyokye eky'oku makya n'ekitone eky'obuwunga eky'akawungeezi, ekitambiro kya kabaka ekyokye n'ekitone kye eky'obuwunga, ebitambiro ebyokye eby'abantu bonna mu ggwanga, n'ebitone byabwe eby'obuwunga n'eby'okuyiwa. Mansira ku mwaliiro gwonna omusaayi gwonna ogw'ebitambiro ebyokye n'ebitone. Gwo omwaliiro ogw'ekikomo nnaagweyambanga okwebuuza.”
16
Wuriya kabona n'akola byonna nga kabaka Akazi bwe yali abiragidde.
17
Kabaka Akazi yaggya ku butandaalo enzizi, era n'ebinaabirwamu n'abiggyako. Ennyanja ey'ekikomo yagiggya ku nte ez'ekikomo ezaali zigiwanirira n'agissa awaaliriddwa amayinja.
18
Olw'okubeera kabaka wa Assuri yaggyawo ekidaala kya sabbaato ekyali kizimbiddwa ku Kiggwa n'ekkubo lya kabaka w'ayingirira eryali ebweru w'Ekiggwa ky'Omukama.
19
Ebirala mu bifaayo bya Akazi ne bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
20
Akazi n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi; mutabani we Kezekiya n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25