bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 3
2 Kings 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 4 →
1
Yoramu mutabani wa Akabu yafuuka kabaka ku Yisirayeli mu Samariya mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosafati, kabaka wa Yuda; yafugira emyaka kkumi n'ebiri.
2
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, naye teyenkana nnyina ne kitaawe; ye ejjinja lya Baali kitaawe lye yali akoze yaliggyawo.
3
Kyokka era yalemera mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu; naye teyabivaamu.
4
Mesa, kabaka wa Mowabu yali mulunzi wa ndiga; yalinanga okuwa kabaka wa Yisirayeli akasiriivu kalamba ak'endiga, n'ebyoya by'endiga ennume akasiriivu kamu.
5
Naye Akabu bwe yamala okufa, kabaka wa Mowabu n'ajeemera kabaka wa Yisirayeli.
6
Awo kabaka Yoramu n'ava mu Samariya, n'agenda akunga Yisirayeli yenna.
7
N'atumira Yosafati kabaka wa Yuda nti: “Kabaka wa Mowabu anjeemedde. Oyagala okugenda nange tutabaale Mowabu?” Ye n'ayanukula nti: “Nzija kujja, anti nze naawe ffe bamu, abantu bo n'abantu bange be bamu, embalaasi zange n'embalaasi zo ze zimu.”
8
Naye n'abuuza nti: “Tukwate kkubo ki okwambuka?” Ye n'ayanukula nti: “Ery'omu ddungu ly'e Edomu.”
9
Kabaka wa Yisirayeli n'asitula ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu; ne beekooloobya okumala ennaku musanvu; eggye ne liggweebwako amazzi, nga tebakyalina gaabwe na ga kuwa bisolo bye baali nabyo.
10
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Tufudde! Omukama akuŋŋaanyizza bakabaka basatu, atuweeyo mu mikono gya Mowabu.”
11
Yosafati n'abuuza nti: “Waliwo wano omulanzi w'Omukama twebuuze ew'Omukama nga tuyita mu ye?” Omu ku baweereza ba kabaka wa Yisirayeli n'ayanukula nti: “Wano waliwo Elisa mutabani wa Safati, eyafukiriranga Eliya amazzi.”
12
Yosafati n'agamba nti: “Oyo alimu ekigambo ky'Omukama.” Kabaka wa Yisirayeli n'aserengetayo, ne Yosafati ne kabaka wa Edomu.
13
Elisa n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Ogubadde nze naawe? Genda eri'abalanzi ba kitaawo n'eri abalanzi ba nnyoko.” Kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Nedda, kubanga Omukama akuŋŋaanyizza bakabaka bano abasatu abaweeyo mu mikono gya Mowabu.”
14
Elisa n'agamba nti: “Mazima Omukama w'Amagye gwe mpeereza nga mulamu, singa sikuba nti nzisaamu Yosafati kabaka wa Yuda ekitiibwa, sandikutunuddeko yadde okukufaako.
15
Kale mundeetere omutongooli.” Omutongooli bwe yalinga ayimba ku ntongooli omukono gw'Omukama nga gumujjako.
16
N'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Mu kiwonvu kino mujjuzeemu ebinnya nkumu.’
17
Kubanga Omukama agamba nti: ‘Temujja kulaba kibuyaga yadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi; mujja kunywa, mmwe n'amagana gammwe, n'ebisolo byammwe ebirala.’
18
Ekyo kitono mu maaso g'Omukama; era ne Mowabu Omukama ajja kumuwaayo mu mikono gyammwe.
19
Mujja kuwangula ebibuga byonna okuli ebigo, na buli kibuga ekinene, buli muti omulungi mujja kugutema, n'enzizi zonna ez'amazzi muzizibe, n'ennimiro zonna engimu mujja kuzoonoona nga muzibikka amayinja.”
20
Ku makya, ekitambiro we kitera okuweererezebwa, baalabira awo ng'amazzi gava ku ludda lwa Edomu; ensi n'ejjula amazzi.
21
Abamowabu bonna bwe baawulira nti bakabaka bambuse okubalwanyisa, ne bakunga bonna abeesibye ebyokulwanyisa, abato n'abakulu, ne bayimirira ku nsalo.
22
Bwe baazuukuka ku makya, enjuba yali ekuba ku mazzi, ku Bamowabu abaali emitala ng'amazzi gabafaananira ng'omusaayi,
23
ne bagamba nti: “Ogwo musaayi! Bakabaka balwanaganye bokka na bokka ne battiŋŋana! Mowabu, genda weenyagire!”
24
Ne bajja mu lusiisira lwa Yisirayeli. Abantu ba Yisirayeli ne basituka, ne balwanyisa Abamowabu okutuusa bali lwe badduka. Abantu ba Yisirayeli ne bazinda Mowabu, ne batta Abamowabu.
25
Ebibuga ne babizikiriza; buli muntu yakasuka ejjinja mu nnimiro ennungi, ne bazijjuzaamu amayinja; enzizi zonna ne baziziba, n'emiti gyonna emirungi ne bagitema. Ekibuga Kiri-Kareseti kyokka kye kyasigalawo n'amayinja gaakyo. Naye abalwanyisa envuumuulo baakyetooloola nakyo ne bakirumba.
26
Kabaka wa Mowabu bwe yalaba ng'olutalo lumwefuukidde, n'atwala abasajja lusanvu abakwasi b'ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, ne balemwa.
27
Awo n'akwata mutabani we omuggulanda eyali ow'okumusikira ku bwakabaka, n'amutambirira ku bbugwe w'ekibuga. Obusungu ne buba bungi ku Yisirayeli; eby'okulumba ne babivaako, ne baddayo mu nsi yaabwe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25