bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 24
2 Kings 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 25 →
1
Mu biseera bya Yoyakimu Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni yakola olulumba. Yoyakimu n'afuuka muweereza we okumala emyaka esatu; oluvannyuma yeekyusa n'amujeemera.
2
Omukama n'amusindikira ebikwanga ebyaya eby'Abakaludeya, eby'Abaaramu, eby'Abamowabu, n'eby'Abammoni bizikirize Yuda ng'ekigambo ky'Omukama bwe kyali kye yali ayogedde ng'ayita mu baweereza be abalanzi.
3
Ebintu bino byagwira Yuda olw'obusungu bw'Omukama eyayagala Yuda amuggye mu maaso ge olw'ebibi bya Manasse byonna bye yakola,
4
n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa, kubanga yajjuza Yeruzaalemu n'omusaayi gw'abataliiko musango; Omukama nga tasobola kusaasira.
5
Ebirala mu bifaayo bya Yoyakimu ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
6
Yoyakimu n'agalamira ne bajjajjaabe; Yoyakini mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
7
Kabaka wa Misiri teyaddayo kuva mu nsi ye kulumba, anti kabaka w'e Babiloni yali atutte ebitundu bye byonna, okuva ku Kiwonvu Misiri okutuuka ku mugga Furaati.
8
Yoyakini yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi na munaana; yafugira emyezi esatu mu Yeruzaalemu. Erinnya lya nnyina nga ye Nekusuta muwala wa Elunatani ow'e Yeruzaalemu.
9
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama ng'akola byonna kitaawe bye yali akoze.
10
Mu budde obwo abagabe ba Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni ne balumba Yeruzaalemu, ekibuga ne bakizinda.
11
Ne Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni n'ajja ku kibuga, abagabe be ne bakizinda.
12
Yoyakini kabaka wa Yuda n'afuluma n'ajja ewa kabaka w'e Babiloni, ye yennyini, nnyina, abaweereza be, abakungu be n'abalaawo be ne beewaayo mu mikono gye. Kabaka w'e Babiloni n'amukwata mu mwaka ogwomunaana ogw'obwakabaka bwe.
13
Nebukadunezzari yatwala amakula gonna ag'Ekiggwa ky'Omukama n'ag'olubiri lwa kabaka, n'ayasaayasa ebintu byonna ebya zaabu Solomoni kabaka wa Yisirayeli bye yali akoze mu Kiggwa ky'Omukama ng'Omukama bwe yali agambye.
14
Yatwala Yeruzaalemu yenna mu buwaŋŋanguse: abakungu bonna, abatabaazi bonna, be basajja nga mutwalo mulamba, na buli mukugu mu mirimu gy'emikono n'okuweesa; tewaali kyalekebwa mu ggwanga wabula abantu abasinga obwavu mu ggwanga bokka.
15
Ne Yoyakini yamuwaŋŋangusiriza e Babiloni, wamu ne nnyina kabaka, bakazi be, abakungu be, n'abatuuze abakulu mu ggwanga; bonna n'abaggya e Yeruzaalemu n'abatwala mu Babiloni.
16
Kabaka w'e Babiloni era yawaŋŋangusiza e Babiloni abasajja bonna abeesobola, abasajja kasanvu, n'abakugu mu mirimu gy'emikono n'okuweesa lukumi.
17
Mu kifo kya Yoyakini n'assaawo Mattaniya kitaawe omuto abeere kabaka, n'amutuuma Zedekiya.
18
Zedekiya yafuuka kabaka nga wa myaka abiri mu gumu; mu Yeruzaalemu yafugiramu emyaka kkumi na gumu. Nnyina ye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
19
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama nga Yoyakimu bwe yakola.
20
Bino byonna byagwira Yeruzaalemu ne Yuda olw'obusungu bwa Katonda, obwamuleetera okubagoba mu maaso ge. Kati nno Zedekiya yagenda n'ajeemera kabaka w'e Babiloni.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25