bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Kings 23
2 Kings 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 24 →
1
Kabaka n'atumya abakadde bonna mu Yuda ne mu Yeruzaalemu ne bakuŋŋaanira w'ali.
2
N'ayambuka mu Kiggwa ky'Omukama wamu n'abasajja bonna aba Yuda, abantu bonna ab'omu Yeruzaalemu, bakabona, abalanzi n'abantu bonna okuva kw'asooka okutuuka kw'asembayo, n'asoma bonna nga bawulira ebigambo byonna eby'Ekitabo ky'Endagaano ekyali kizuuliddwa mu Kiggwa ky'Omukama.
3
Kabaka n'ayimirira ku mpagi, n'addamu endagaano mu maaso g'Omukama: okugoberera Omukama, okukwatanga ebiragiro bye, by'ayigiriza n'amateeka ge n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, bw'atyo n'akakasa buto ebigambo by'Endagaano eyo ebyali biwandiikiddwa mu kitabo kino. Abantu bonna ne beeyama okukuuma endagaano eyo.
4
Kabaka n'alagira Kilukiya kabona omukulu, bakabona ab'eddaala eryokubiri n'abakuumi b'oku mulyango bakasuke ebweru w'Ekiggwa ky'Omukama ebintu byonna ebyali bikoleddwa olwa Baali, Asera n'eggye ly'emmunyeenye z'eggulu. Yabyokera ebweru wa Yeruzaalemu mu nnimiro ezaali mu Kiwonvu Kiduroni, evvu lyabyo n'alitwala e Beteli.
5
Yazikiriza bakabona bakabaka ba Yuda be baali bataddeyo okunyookezanga obubaani mu bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda n'ebyetoolodde Yeruzaalemu, n'abo abaanyookezanga Baali obubaani, enjuba, omwezi, ebibinja by'emmunyeenye, n'eggye lyonna ery'emmunyeenye z'eggulu.
6
Yaggya empagi ya Asera mu Kiggwa ky'Omukama n'etwalibwa ebweru wa Yeruzaalemu mu Kiwonvu Kiduroni n'agyokera eyo. Yagyasaayasa n'agifuula vvu, n'alimansa ku malaalo aga lukale.
7
Yamenyawo ebigango bya bamalaaya abasajja ab'omu biggwa ebyali mu Kiggwa ky'Omukama, abakazi mwe baalukiranga engoye za Asera.
8
Yakuŋŋaanya bakabona bonna mu bibuga bya Yuda; ebifo ebigulumivu bakabona kwe baanyookerezanga obubaani n'abijaajaamya, okuva e Geba okutuuka e Beriseba; yazikiriza ebifo ebigulumivu ku miryango, ebyali ku muzigo gw'Omulyango gwa Yoswa, omukulu w'ekibuga, ku kkono wa wankaaki w'ekibuga.
9
Kyokka bakabona b'ebifo ebigulumivu tebaaweerezanga ku mwaliiro gwa Mukama mu Yeruzaalemu, naye baalyanga ku migaati egitazimbulukuse ne bakabona bannaabwe.
10
Yajaajaamya ne Tofeti, ekiri mu kiwonvu Beni-Yinnomu wabulewo awongera Moleki mutabani we oba muwala we mu muliro.
11
Yaggya mu maaso g'Ekiggwa embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawongedde enjuba. Zalinga awo mu luggya kumpi n'ekisenge ky'omukungu eyayitibwanga Natani-Meleki. Yayokya n'ebigaali ebyali biwongeddwa enjuba.
12
Yamenyawo emyaliiro bakabaka ba Yuda gye baali bakoze ku kasolya mu kisenge ekya waggulu ekya Akazi, n'emyaliiro Manasse gye yali akoze mu mpya ebbiri ez'Ekiggwa ky'Omukama. Yaziggyayo n'azaasaayasa, obulere n'abukasuka mu Kiwonvu Kiduroni.
13
Kabaka yayonoona ebifo ebigulumivu ebyali ebugwanjuba wa Yeruzaalemu mu maserengeta g'Olusozi olw'Okuzikirira Solomoni kabaka wa Yisirayeli bye yali azimbidde Asutoreti, ekyenyinyalwa ky'Abasidoni, n'eky'ab'e Cemosi, n'eky'ab'e Mowabu, ne Moleki ekyenyinyalwa ky'Abammoni.
14
Yaseseggula amayinja amawonge, n'atema empagi za Asera, ebifo byabyo n'abijjuzaamu amagumba g'abafu.
15
N'omwaliiro ogwali mu Beteli n'ekifo ekigulumivu Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yakola bye yaleetera Yisirayeli okugwamu, omwaliiro ogwo n'ekifo ekigulumivu yabizikiriza. Yazimbulula amayinja gaakyo, n'agasaasaanya, n'agafuula lusennyente, n'empagi ya Asera n'agimenyawo.
16
Yosiya bwe yeebunguluza amaaso, n'alaba amalaalo agaali ku lusozi, n'alagira ne baggyamu amagumba, n'agookera ku mwaliiro ogujaajaamiziddwa, ng'Omukama bwe yayogera luli omuntu wa Katonda lwe yayatulira Yerobowamu bwe yali ayimiridde ku mwaliiro ku lunaku olukulu. Bwe yasitula amaaso, Yosiya n'alaba amalaalo g'omuntu wa Katonda eyali alanze ebintu bino.
17
N'abuuza nti: “Ago malaalo gaani ge ndaba?” Ab'omu kibuga ekyo ne bamugamba nti: “Ge malaalo g'omuntu wa Katonda eyava mu Yuda n'alanga ebigambo ku mwaliiro gw'e Beteli ggwe wennyini gw'obikozeeko.”
18
N'agamba nti: “Mumuleke; tewabaawo akwata ku magumba ge.” Amagumba ge ne bagataliza ko n'amagumba g'omulanzi eyali avudde mu Samariya.
19
Era n'ebiggwa byonna ku bifo ebigulumivu ebyali mu bibuga bya Samariya bakabaka ba Yisirayeli bye baali bakoze - ekyanyiiza Omukama - Yosiya yabijaajaamya, nga bwe yali akoze eby'omu Beteli.
20
Bakabona bonna ab'oku bifo ebigulumivu yabatambira ku myaliiro, n'ayokerako amagumba g'abantu. Olwo n'akyusa n'adda e Yeruzaalemu.
21
Kabaka n'alagira abantu bonna nti: “Mukuze Pasika ku lw'Omukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu Kitabo ky'Endagaano.”
22
Okukuza Pasika mu ngeri ng'eno kwali tekubangawo okuva mu budde obw'abalamuzi abaalamula Yisirayeli ne mu biseera byonna ebya bakabaka ba Yisirayeli ne Yuda.
23
Ku mulundi guno, mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosiya, Pasika eno n'ekuzibwa ku lw'Omukama mu Yeruzaalemu.
24
Era n'abasamize, emmandwa, bulubaale bw'awaka, ebifaananyi bya balubaale n'ebirala byonna ebyenyinyalwa ebyali mu nsi ya Yuda ne mu Yeruzaalemu Yosiya yabiggyawo, atuukirize ebigambo by'Etteeka ebyawandiikibwa mu kitabo kabona Kilukiya kye yasanga mu Kiggwa ky'Omukama.
25
Mu bakabaka abaamukulembera temwalimu kabaka amufaanana, eyadda ew'Omukama n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna, mu mutima gwennyini ogw'Etteeka lyonna erya Musa. Ne mu bakabaka abaamuddirira tasangikanga.
26
Naye era Omukama teyaleka busungu bwe obukambwe obwesera obwali bweserera ku Yuda, olw'okubeera okunyiiga Manasse kwe yali amunyiizizzaamu.
27
Omukama n'agamba nti: “Ne Yuda nzija kumuggyawo mu maaso gange nga bwe naggyawo Yisirayeli; nzija kuboola Yeruzaalemu ekibuga kino kye neerondera n'Ekiggwa kino kye nayogerako nti: ‘Erinnya lyange liribeeranga omwo.’ ”
28
Ebirala mu bifaayo bya Yosiya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
29
Mu budde bwe Faraawo Neko kabaka w'e Misiri yayambuka okugenda ku Mugga Furaati ayambe kabaka wa Assuri. Kabaka Yosiya n'agenda okumusisinkana. Naye Neko bwe yamulaba, Neko n'amuttira e Megiddo.
30
Abaweereza be ne baggya omulambo gwe e Megiddo ne baguleetera ku kigaali e Yeruzaalemu ne bamuziika mu ntaana ye. Bannansi ne baddira Yowakazi mutabani wa Yosiya ne bamusiiga omuzigo, ne bamusikiza kitaawe ku bwakabaka.
31
Yowakazi yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu esatu; yafugira emyezi esatu mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
32
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama nga bajjajjaabe bwe baali bakoze.
33
Faraawo Neko yamusibira e Ribula ekiri mu nsi y'e Kamati aleme kufuga mu Yeruzaalemu. N'abinika Yuda omusolo gwa talenta za ffeeza kikumi, ne talenta emu eya zaabu.
34
Faraawo Neko yasikiza Eliyakimu mutabani wa Yosiya ku bwakabaka mu kifo kya kitaawe Yosiya, erinnya lye n'alikyusa n'amutuuma Yoyakimu. Yaddira Yowakazi n'amutwala mu Misiri gye yafiira.
35
Yoyakimu yawanga Faraawo ffeeza ne zaabu. Okusobola okusasula ffeeza nga Faraawo bwe yasaba, Yoyakimu ensi yagibinika omusolo, n'akakanga abantu okuwa ffeeza ne zaabu nga bwe baagerekerwanga.
36
Yoyakimu yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu etaano; yafugira emyaka kkumi na gumu mu Yeruzaalemu. Erinnya lya nnyina nga ye Zebida muwala wa Pedaaya ow'e Ruma.
37
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama nga bajjajjaabe bonna bwe baali bakoze.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25