bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 1
Joshua 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
1
Musa omuweereza w'Omukama bwe yamala okufa, Omukama n'ayogera ne Yoswa mutabani wa Nuunu, omuyambi wa Musa nti:
2
“Musa omuweereza wange afudde; situka kati, osomoke wano omugga Yorudani, ggwe n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye ŋŋenda okubawa, abo Abayisirayeli.
3
Buli kifo kye mulirinnyako ekigere kyammwe, ŋŋenda kukibawa nga bwe nasuubiza Musa.
4
Eno yonna eneeba nsi yammwe: okuva ku ddungu ne Lebanoni, okutuukira ddala ku Mugga Omunene, Furaati; ensi eyo yonna ey'Abakitti okutuuka ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba.
5
Ennaku zonna ez'obulamu bwo tewaliba n'omu alisobola kukuziyiza. Ndiba naawe nga bwe nali ne Musa; sirikulekerera, sirikwabulira.
6
“Beera wa maanyi, guma, kubanga ggwe ojja okukulembera abantu bano obayingize basikire ensi gye nalayirira bajjajjaabwe nti ŋŋenda kugibawa.
7
Nkusaba kimu: beera wa maanyi, guma nnyo. Okwatanga era otuusanga etteeka lyonna Musa omuweereza wange lye yakulagira; towunjukanga kudda ku ddyo oba ku kkono n'olivaako, olwo olibeera n'omukisa yonna gy'oligenda.
8
Ekitabo ky'Etteeka kino tekikuvanga mu kamwa, wabula okyebuulirirangako emisana n'ekiro, olyoke okwatenga era otuusenga byonna ebyawandiikibwamu. Olwo amakubo go galikulamira, oliba n'omukisa.
9
Sikulagidde nti: ‘Guma, nywera?’ Kale nno totya, totekemuka, kubanga Omukama Katonda wo aliba naawe yonna gy'onoogendanga”
10
Awo Yoswa n'alagira abaami b'abantu nti:
11
“Mugende muyiteeyite mu lusiisira, mugambe abantu nti: ‘Mutegeke entanda, kubanga nga wayise ennaku ssatu mujja kusomoka Yorudani wano, muyingire, mutwale ensi Omukama Katonda wammwe gy'agenda okubawa ebeere yammwe.’ ”
12
Yoswa yagamba ab'ekika kya Rubeni, ekya Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse nti:
13
“Mujjukire Musa omuweereza w'Omukama kye yabagamba nti: ‘Omukama Katonda wammwe abawadde ekiwummulo n'ensi eno.’
14
Bakazi bammwe n'abaana bammwe bayinza okusigala, ko n'ensolo zammwe, mu nsi Musa gye yabawa ebuvanjuba wa Yorudani, naye mmwe mwenna abatabaazi nga mubagalidde ebyokulwanyisa, musomoke nga mukulembeddemu baganda bammwe, mubayambeko,
15
okutuusa Omukama lw'aliwa baganda bammwe ekiwummulo, nga nammwe bwe yakibawa, okutuusa nga batutte ensi Omukama Katonda wammwe gy'agenda okubawa. Olwo nno mulidda mu nsi gye mwatwala era mwe munaabeeranga, Musa omuweereza w'Omukama gye yabawa ku ludda olw'ebuvanjuba, emitala wa Yorudani.”
16
Ne baanukula Yoswa nti: “Byonna by'otulagidde, tunaabikola, na yonna gy'onootusindika, tujja kugendayo;
17
nga bwe twagonderanga Musa mu byonna, naawe bwe tunaakugondera. N'Omukama Katonda wo abeere naawe nga bwe yali ne Musa.
18
Buli yenna aliwakanya ky'ogamba, n'atagondera by'omulagidde, wa kuttibwanga. Tukusaba kimu: beera wa maanyi, guma.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24