bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 4
Joshua 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Abantu bonna bwe baamala okusomoka Yorudani, Omukama n'agamba Yoswa nti:
2
“Mulonde abasajja kkumi na babiri mu bantu, omu mu buli kika,
3
obalagire mu makkati ga Yorudani, wennyini bakabona we bayimiridde, baggyewo amayinja kkumi n'abiri, mugende nago, mugateeke mu kifo we munaasula ekiro kino.”
4
Awo Yoswa n'ayita abasajja kkumi na babiri be yali amaze okulondobamu mu Bayisirayeli, omu mu buli kika,
5
n'abagamba nti: “Mukulembereemu Essanduuku y'Omukama Katonda wammwe mu makkati ga Yorudani. Buli omu yeetikke ejjinja limu ku kibegabega, ng'ebika bya Yisirayeli bwe byenkana,
6
gabe akabonero mu mmwe. Gye bujja singa abaana bammwe bababuuzanga nti: ‘Amayinja gano gategeeza ki?’
7
Mubaddangamu nti: ‘Engezi ya Yorudani yakutulibwako mu maaso g'Essanduuku y'Endaagano y'Omukama. Amazzi ga Yorudani gaasalwako Ssanduuku y'Omukama bwe yali ng'esomoka; amayinja gano kijjukizo eri Abayisirayeli emirembe gyonna.’ ”
8
Abayisirayeli ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira. Ne baggya amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudani, okwenkanankana omuwendo gw'ebika bya Yisirayeli, ng'Omukama bwe yali alagidde Yoswa, ne bagatwala okutuuka mu kifo we baasula, ne bagassa awo.
9
Ne Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudani mu kifo bakabona abaali batwala Ssanduuku y'Endagaano we baali bayimiridde; gakyaliyo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
10
Bakabona abaali batwala Ssanduuku baasigalira ddala mu makkati ga Yorudani okutuusa nga byonna Omukama bye yagamba omuweereza we Yoswa abantu babituukirizza, era nga Musa bwe yali alagidde Yoswa. N'abantu ne banguwa, ne basomoka.
11
Bonna bwe baamala okusomoka, Essanduuku y'Omukama ne bakabona ne basomoka ng'abantu bonna balaba.
12
Bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse nga babagalidde ebyokulwanyisa baasomoka nga bakulembeddemu Abayisirayeli, nga Musa bwe yali abalagidde.
13
Baali abatabaazi emitwalo ng'ena, nga babagalidde ebyokulwanyisa, abaasomoka mu maaso g'Omukama okugenda okulwana mu lusenyi lwa Yeriko.
14
Ku olwo Omukama yagulumiza Yoswa mu maaso ga Yisirayeli yenna, bamutye nga bwe baali batidde Musa ennaku zonna ez'obulamu bwe.
15
Awo Omukama n'agamba Yoswa nti:
16
“Lagira bakabona abeetisse Ssanduuku y'Endagaano bave mu Yorudani, bambuke.”
17
Yoswa n'alagira bakabona nti: “Muve mu Yorudani, mwambuke.”
18
Bwe baayambuka nga beetisse Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, bakabona olwassa bati ekigere ku lukalu, amazzi ne gadda mu kifo kyago, ne gakulukuta nga mu masooka, nga gaaladde ku mbalama zaago zonna.
19
Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi omubereberye abantu ne basitula okuva ku Yorudani, ne bambuka, ne basiisira e Gilugali, ku njegooyego za Yeriko ebuvanjuba.
20
Amayinja ekkumi n'abiri ge baali baggye mu Yorudani, Yoswa n'agasimba e Gilugali,
21
n'agamba Abayisirayeli nti: “Eyo gye bujja abaana bammwe bwe babuuzanga bajjajjaabwe nti: ‘Amayinja gano gaaki?’
22
Mutegeezanga abaana bammwe nti: ‘Yisirayeli yasomoka Yorudani ku ttaka ekkalu.’
23
Kubanga Omukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yorudani mu maaso gammwe, okutuusa lwe mwasomoka, nga bwe yakola luli ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa, gye yakaliza mu maaso gaffe okutuusa nga tusomose.
24
Olwo abantu bonna mu nsi balyoke bategeere nti omukono gw'Omukama gwa maanyi, nammwe mulyoke mutye Omukama Katonda wammwe obudde bwonna.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24