bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 18
Joshua 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaanira e Silo, ne bassaayo Weema ey'Ensisinkano; ensi yonna baali bamaze okugiwangula.
2
Kyokka waali wasigadde ebika musanvu eby'Abayisirayeli ebyali bitannafuna busika bwabyo.
3
Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Munaalinda kutuusa wa okutandika okwezza ensi Omukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?
4
Mulonde abasajja basatu basatu mu buli kika, mbasindike, bagende batalaage ensi, bawandiike ebifa ku nsi okusinziira ku busika nga bwe bunaagenda, oluvannyuma badde gye ndi.
5
Ensi mugyawulemu ebitundu musanvu. Yuda ajja kusigala mu kitundu kye emaserengeta, ate ennyumba ya Yozefu mu kitundu kye emambuka.
6
Ng'ensi mumaze okugisalamu ebitundu musanvu, muwandiike ebibifaako, mubindetere wano; olwo mbakubire akalulu mu maaso g'Omukama Katonda waffe.
7
Bo abaleevi tebalina mugabo mu mmwe, kubanga emirimu gy'obwakabona bw'Omukama bwe busika bwabwe. Ye Gaadi ne Rubeni n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baafuna dda obusika bwabwe emitala wa Yorudani ebuvanjuba, Musa omuweereza w'Omukama bwe yabawa.”
8
Abasajja bwe baali bagenda okutalaaga ensi, Yoswa n'alagira abaali bagenda okugiyiga nti: “Mugende muyiteeyite mu nsi, mugiyige, muwandiike bye mulabye, mudde gye ndi wano; nzija kubakubira akalulu mu maaso g'Omukama e Silo.”
9
Abasajja ne bagenda, ne batalaaga ensi, kibuga ku kibuga, mu bitundu musanvu, ne bawandiika ebifa ku nsi mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Silo.
10
Yoswa n'abakubira akalulu mu maaso g'Omukama e Silo, ensi n'agigabanyizaamu Abayisirayeli ng'agoberera ebika byabwe n'ekitundu kya buli omu.
11
Akalulu akaasooka kaayokya ab'ekika ky'abazzukulu ba Benyamiini mu masiga gaabwe. Ekitundu eky'omugabo gwabwe kyali wakati w'abazzukulu ba Yuda ne bazzukulu ba Yozefu.
12
Ensalo zaabwe, emambuka, zisimbuka ku Yorudani, ne zambuka ku Yeriko ku buserengeto bw'olusozi, ne zambuka ebugwanjuba mu nsi ey'ensozi, ne zikoma mu ddungu ery'e Beti-Aveni.
13
Bwe ziva eyo ne zisala okudda ku kaserengeto k'e Luzi, oba Beteli, ne zikkirira e Ataroti-Addari ku lusozi oluli mu maserengeta ga Beti-Koroni ekya wansi.
14
Okuva ku kasozi akali mu maserengeta ga Beti-Koroni ekya wansi, ensalo ziweta ne ziserengeta ebugwanjuba ne ziggukira e Kiriyati-Baali, oba Kiriyati-Yewarimu, ekibuga ky'abazzukulu ba Yuda. Olwo lwe ludda olw'ebugwanjuba.
15
Ku ludda olw'emaserengeta ensalo zitandikira Kiriyati-Yewarimu ebugwanjuba, ne zigendera ddala ku nsulo z'Amazzi g'e Nefutowa,
16
ne ziserengeta wansi w'olusozi gye lukoma okutunuulira Ekiwonvu Beni-Yinnomu mu mambuka g'Ekiwonvu Refayimu, ne zikkirira mu Kiwonvu Yinnomu, ne zigoba akaserengeto k'ekibuga ky'Abayebusi ak'emaserengeta, ne zigwa e Eni-Rogeli.
17
Ate awo ne ziweta okwambuka, ne ziraga e Eni-Semesi, ne zigendera dda e Geliloti ekitunuulidde akasozi k'e Adummimu. Awo ne zikkirira ku Jjinja lya Bowani, eyali mutabani wa Rubeni.
18
Ne zisala okulaga ku kaserengeto akatunuulidde Araba ak'emambuka, ne zikkirira mu Araba.
19
Ate olwo ne zisala okudda ku kasozi ka Beti-Kogula emambuka, ne ziggukira ku kyondo eky'engulu eky'Ennyanja ey'Omunnyo Yorudani we gukoma emmanga.
20
Mu buvanjuba, Yorudani ye nsalo. Ezo ze nsalo z'ekitundu ky'abazzukulu ba Benyamiini ku njuyi zonna, obusika bwabwe mu masiga gabwe.
21
Ekika kya Benyamiini mu masiga gaabwe baalina ebibuga bino: Yeriko, Beti-Kogula ne Emeki-Kezizi;
22
Beti-Araba, Zemarayimu ne Beteli;
23
Avvimu, Para ne Ofura;
24
Kefari-Ammoni, Ofuni ne Geba; bye bibuga kkumi na bibiri n'ebyalo byabyo;
25
Ate ne Gibewoni, Rama ne Beeroti;
26
Mizupa, Kefira ne Moza;
27
Rekemu, Yirupeeli ne Tarala;
28
Zela, Elefu, Yebusi, oba Yeruzaalemu, Gibewa ne Kiriyati; bye bibuga kkumi na bina n'ebyalo byabyo. Obwo bwe busika bw'abazzukulu ba Benyamiini mu masiga gaabwe.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24