bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 10
Joshua 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
1
Kati nno Adoni-Zedeki kabaka wa Yeruzaalemu yawulira nti Yoswa yawamba Ayi n'akizikiriza kyonna, n'akola ekibuga ne kabaka waakyo nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waakyo; nti era ab'e Gibewoni baakola endagaano ey'emirembe ne Yisirayeli, era nga kati bali wamu nabo.
2
Ne batya nnyo, kubanga Gibewoni kyali kibuga kikulu, nga kye kimu ku bibuga eby'obwakabaka. Kyali kinene okusinga Ayi, nga n'abasajja baamwo batabaazi.
3
Awo Adoni-Zedeki kabaka wa Yeruzaalemu kwe kutumira Owamu kabaka wa Keburoni, Piramu kabaka wa Yarumuti, Yafiya kabaka wa Lakisi ne Debiri kabaka wa Eguloni.
4
N'abagamba nti: “Mwambuke eno gye ndi, munnyambe tulwanyise Gibewoni, kubanga yakola endagaano ey'emirembe ne Yoswa n'Abayisirayeli.”
5
Bakabaka abataano Abaamori ne bakuŋŋaana: kabaka wa Yeruzaalemu, kabaka wa Keburoni, kabaka wa Yarumuti, kabaka wa Lakisi, ne kabaka wa Eguloni; ne bagenda n'amagye gaabwe, ne basiisira okumpi ne Gibewoni, ne bakirumba.
6
Ab'e Gibewoni ne batumira Yoswa eyali akyali mu lusiisira e Gilugali, ne bamugamba nti: “Toyabulira baweereza bo; jjangu mangu eno otudduukirire; tuyambe, kubanga bakabaka bonna ababeera mu nsozi beegasse okutulwanyisa.”
7
Yoswa n'ayambuka ng'ava e Gilugali, ye n'abasajja be bonna abalwanyi n'abatabaazi be bonna abazira.
8
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya, kubanga mbakuwadde mu mikono gyo; tewali n'omu ku bo anaasobola kukugumira.”
9
Yoswa n'ava e Gilugali; oluvannyuma lw'okumala ekiro kyonna ng'atambula, n'abazinduukiriza.
10
Omukama n'abaleetamu okutabukatabuka bwe baalaba Yisirayeli. Yisirayeli n'abakuba bubi e Gibewoni; n'abawondera mu kkubo eryambukira e Beti-Koroni, n'agenda ng'abasa okutuuka e Makkeda.
11
Ate baba bakkirira akaserengeto k'e Beti-Koroni, nga badduka Abayisirayeli, Omukama n'abakuba amayinja amanene ag'omuzira agaava mu ggulu okubatuusiza ddala e Azeka. Abaafa amayinja g'omuzira ne baba bangi okusinga abo abattibwa ekitala ky'Abayisirayeli.
12
Awo Yoswa, mu maaso ga Yisirayeli, n'ayogera n'Omukama ku lunaku olwo lwennyini Omukama lwe yagabulirako Abaamori mu mikono gy'Abayisirayeli, n'agamba nti: “Ggwe Enjuba, teweenyeenya waggulu ku Gibewoni, naawe omwezi, ku kiwonvu kye Ayijaloni.”
13
Enjuba teyeenyeenya, n'omwezi ne guyimirira okutuusa ng'abantu beesasulizza ku balabe baabwe. Kino tekyawandiikibwa mu Kitabo kya Yasari? Enjuba yayimirira mu makkati g'eggulu n'eteyanguwa kugwa, kyenkana olunaku lulamba.
14
Tewabangawo lunaku lwenkana ng'olwo, era terulibaawo, Omukama lwe yagondera eddoboozi ly'omuntu; kubanga Omukama yali alwanirira Yisirayeli.
15
Awo Yoswa n'adda mu lusiisira e Gilugali, wamu ne Yisirayeli yenna.
16
Bakabaka abataano baali badduse nga beekukumye mu mpuku y'e Makkeda.
17
Ne babuulira Yoswa nti: “Bakabaka abataano baasangiddwa nga beekukumye mu mpuku e Makkeda.”
18
Yoswa n'alagira nti: “Muyiringisize agayinja ku mulyango gw'empuku, musseeyo abasajja bakuume nga waggale.
19
Mmwe temuyimirira: muwondere abalabe, muve ennyuma nga mubatta; temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga Omukama Katonda wammwe ababawadde mu mikono gyammwe.”
20
Yoswa n'Abayisirayeli nga bamaze okukuba abalabe bubi nnyo kumpi obutalekaawo n'omu, abaagenda basigalira nga baddukidde mu bibuga byabwe okuli ebigo,
21
eggye lyonna ne lidda eri Yoswa mu lusiisira e Makkeda, nga balamu, tebaliiko kabi; tewali yagezaako nate kugamba kantu ku Yisirayeli.
22
Yoswa n'alagira nti: “Muzibukule omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka abataano mubandeetere.”
23
Ne bakola batyo; ne bamuggyirayo bakabaka abataano mu mpuku ne babamuleetera: kabaka wa Yeruzaalemu, kabaka wa Keburoni, kabaka wa Yarumuti, kabaka wa Lakisi ne kabaka wa Eguloni.
24
Bwe baatuusa bakabaka awali Yoswa, n'atumya abasajja Abayisirayeli bonna, n'agamba abagabe b'abatabaazi abaali naye nti: “Mujje wano, musse ebigere byammwe ku nsingo za bakabaka bano.” Ne basembera, ne bassa ebigere byabwe ku nsingo zaabwe.
25
N'abagamba nti: “Temutya, temutekemuka, mugume, munywere, kubanga eno ye ngeri Omukama gy'anaayisangamu abalabe bammwe be mulwanyisa.”
26
Awo Yoswa n'abakuba, n'abatta, n'abawanika ku miti etaano; ne balengejjera okwo okutuusa akawungeezi.
27
Enjuba bwe yali egwa Yoswa n'alagira babawanule ku miti; ne babawanula ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bassaako agayinja aganene; gakyaliko n'okutuusa ku lunaku luno lwennyini.
28
Ku olwo Yoswa n'awamba Makkeda. Kabaka waakyo na bonna abaalimu n'abatta n'ekitala; n'atta buli kiramu kyonna ekyalimu. Teyaleka na kimu kyasigalawo. Kabaka wa Makkeda n'amukola nga bwe yakola kabaka wa Yeriko.
29
Yoswa, n'ava mu Makkeda wamu ne Yisirayeli yenna, n'alaga e Libuna, n'akirwanyisa.
30
Nakyo Omukama n'akiwaayo mu mikono gya Yisirayeli wamu ne kabaka waakyo; Yisirayeli n'atta buli kiramu kyonna ekyalimu; mu kyo teyalekamu na kimu kyasigalawo. Kabaka wa Libuna n'amukola nga bwe yakola kabaka wa Yeriko.
31
Yoswa n'ava e Libuna wamu ne Yisirayeli yenna, n'alaga e Lakisi, n'akizinda, n'akirwanyisa.
32
Omukama n'awa Lakisi mu mikono gya Yisirayeli, ne Yisirayeli n'akiwamba ku lunaku olwaddirira, n'atta buli kiramu kyonna ekyalimu n'ekitala, nga bwe yali akoze e Libuna.
33
Mu kaseera ke kamu Oramu kabaka wa Gezeri yali azze okuyamba Lakisi; naye Yoswa n'amukuba n'abantu be bonna okutuusa nga tewasigaddewo n'omu.
34
Yoswa n'ava e Lakisi wamu ne Yisirayeli yenna, n'alaga e Eguloni, n'akizinda, n'akirwanyisa.
35
Yakiwangula ku lunaku olwo lwennyini; bonna abaali mu kibuga n'abatta n'ekitala, nga bwe yali akoze Lakisi.
36
Yoswa yava e Eguloni wamu ne Yisirayeli yenna n'alaga e Keburoni, ne bakirwanyisa.
37
Ekibuga n'akiwamba; n'akuba n'ekitala ekibuga, kabaka waakyo, ebyalo byakyo byonna na buli muntu; teyalekawo n'omu yawonawo. Nga bwe yakola Eguloni, bwe yakola ne Keburoni; kyonna baakizikiriza na buli ekyalimu.
38
Yoswa yakomawo wamu ne Yisirayeli yenna, n'adda e Debiri, n'akirwanyisa,
39
Ekibuga baakiwamba, ne kabaka waakyo n'ebyalo byakyo byonna ne babikuba n'ekitala; ne batta buli kiramu kyonna ekyalimu; teyalekamu n'omu yawonawo. Nga bwe yakola Keburoni ne Libuna ne bakabaka baabyo, era bwe yakola ne Debiri ne kabaka waakyo.
40
Bw'atyo Yoswa n'awangula ensi yonna: ekitundu eky'ensozi, Negevu, Sefela n'ensi ensozi gye ziserengeta, ne bakabaka baamu. Teyalekamu n'omu yawonawo, wabula buli ekissa kyonna yakizikiriza, ng'Omukama Katonda wa Yisirayeli bwe yali alagidde.
41
Yawangula bonna, okuva ku Kadesi-Baruneya okutuuka e Gaza, n'okuva mu nsi yonna ey'e Goseni okutuukira ddala e Gibewoni.
42
Yoswa yawamba Bakabaka bano bonna n'ensi zaabwe mu lutalo lumu, kubanga Omukama Katonda wa Yisirayeli ye yali alwanirira Yisirayeli.
43
Yoswa, wamu ne Yisirayeli yenna, n'adda mu lusiisira e Gilugali.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24