bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 21
Joshua 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
1
Awo abakulu b'omu masiga g'Abaleevi ne bajja eri Eleyazari kabona, Yoswa mutabani wa Nuunu n'eri abakulu b'amasiga mu bika byonna eby'Abayisirayeli,
2
e Silo eky'omu Kanaani, ne babagamba nti: “Omukama yalagira ng'ayita mu Musa, mutuwe ebibuga mwe tunaabeeranga, n'amalundiro gaakyo olw'amagana gaffe.”
3
Awo Abayisirayeli, ng'Omukama bwe yali alagidde, ne baddira ku busika bwabwe ne bawaako Abaleevi, ebibuga n'amalundiro gaabyo.
4
Akalulu akasooka kaayokya essiga lya Kewati mu nnyumba zaabwe. Abaleevi abasibuka mu Aroni kabona baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika ekya Yuda, ekya Simewoni n'ekya Benyamiini.
5
Abasigadde ab'essiga lya Kewati akalulu kaabawa ebibuga kkumi okuva mu bika ekya Efurayimu, ekya Daani, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse.
6
Ab'essiga lya Gerusoni akalulu kaabawa ebibuga kkumi ba bisatu okuva mu kika ekya Yissakari, ekya Aseeri, ekya Nafutali, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse mu Basani.
7
N'ab'essiga lya Merari mu nnyumba zaabwe, baafuna ebibuga kkumi na bibiri okuva mu bika ekya Rubeni, ekya Gaadi n'ekya Zebuluni.
8
Ebibuga bino ko n'amalundiro gaabyo, Abayisirayeli bye baawa Abaleevi ku kalulu ng'Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa.
9
Ab'omu kika ky'abazzukulu ba Yuda n'eky'abazzukulu ba Simewoni baawaayo ebibuga bino eby'amannya gano,
10
anti bazzukulu ba Aroni mu ssiga lya Kewati ery'abazzukulu ba Leevi, akalulu be kaasooka okwokya,
11
baabawa Kiriyati-Aruba oba Keburoni, mu nsozi za Yuda, ko n'amalundiro agakyetoolodde. Aruba ye yali kitaawe wa Anaki.
12
Lyo ettale n'ebyalo ebyetoolodde ekibuga baali babiwadde Kalebu, mutabani wa Yefunne ng'obusika bwe.
13
Ne bawa abazzukulu ba Aroni bakabona Keburoni n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eri abeera asse omuntu, era ne Libuna ko n'amalundiro gaakyo,
14
Yattiri n'amalundiro gaakyo, Esutemowa n'amalundiro gaakyo,
15
Koloni n'amalundiro gaakyo, Dabiri n'amalundiro gaakyo,
16
Ayini n'amalundiro gaakyo, Yutta n'amalundiro gaakyo, ne Beti-Semesi n'amalundiro gaakyo; bye bibuga mwenda ebyaggyibwa mu bika bino ebibiri.
17
Mu kika kya Benyamiini baabawaayo Gibewoni n'amalundiro gaakyo, Geba n'amalundiro gaakyo,
18
Anatoti n'amalundiro gaakyo, ne Alumoni n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bina.
19
Ebibuga by'abazzukulu ba Aroni bakabona ne biba kkumi na bisatu, ko n'amalundiro gaabyo.
20
Ab'essiga lya Kewati abaafikkawo, ab'omu masiga g'Abaleevi, baaweebwa ebibuga bino okuva mu kika kya Efurayimu:
21
mu nsozi za Efurayimu: Sekemu n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eri abeera asse omuntu, Gezeri n'amalundiro gaakyo,
22
Kibuzayimu n'amalundiro gaakyo, ne Beti-Koroni n'amalundiro gaakyo; by'ebibuga bina.
23
Ne mu kika kya Daani baafunayo: Eruteke n'amalundiro gaakyo, Gibbetoni n'amalundiro gaakyo,
24
Ayijaloni n'amalundiro gaakyo, ne Gati-Rimmoni n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bina.
25
Mu kyokubiri eky'ekika kya Manasse baafunayo: Taanaki n'amalundiro gaakyo, ne Gati-Rimmoni n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bibiri.
26
Ebibuga bino byonna ekkumi n'amalundiro gaabyo byaweebwa ab'essiga lya Kewati mu mayumba gaabwe.
27
N'ab'essiga lya Gerusoni, okuva mu masiga g'Abaleevi, baafuna mu kyokubiri eky'ekika kya Manasse ebibuga: Golani n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eri abeera asse omuntu, eky'omu Basani, ne Be-Esutera n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bibiri.
28
Okuva mu kika kya Yissakari baafuna: Kisiyoni n'amalundiro gaakyo, ne Daberati n'amalundiro gaakyo,
29
Yarumuti n'amalundiro gaakyo, ne Eni-Gannimu n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bina.
30
Okuva mu kika kya Aseeri baafuna: Misali n'amalundiro gaakyo, Abudoni n'amalundiro gaakyo,
31
Kelukati n'amalundiro gaakyo, ne Rekobu n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bina.
32
Okuva mu kika kya Nafutali baafuna: Kedesi n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eky'omu Galilaaya, Kammoti-Dori n'amalundiro gaakyo, ne Karutani n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bisatu.
33
Ebibuga byonna eby'essiga lya Gerusoni mu nnyumba zaabwe byali kkumi na bisatu, ko n'amalundiro gaabyo.
34
Ab'omu ssiga lya Merari, Abaleevi abaali basigalidde, baafuna okuva mu kika kya Zebuluni ebibuga: Yokunewamu n'amalundiro gaakyo, Karuta n'amalundiro gaakyo,
35
Dimuna n'amalundiro gaakyo, ne Nakalali n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bina n'amalundiro gaabyo.
36
Okuva mu kika kya Rubeni baafuna ebibuga: Bezeri n'amalundiro gaakyo, Yawazi n'amalundiro gaakyo,
37
Kademoti n'amalundiro gaakyo, ne Mefaati n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bina n'amalundiro gaabyo.
38
Okuva mu kika kya Gaadi baafuna ebibuga: Ramoti n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eri abeera asse omuntu, eky'omu Gileyaadi, Makanayimu n'amalundiro gaakyo,
39
Kesuboni n'amalundiro gaakyo, ne Yazeri n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bina.
40
Ebibuga byonna ebyaweebwa ab'essiga lya Merari, be Baleevi mu masiga gaabwe abaali basigalidde, biwera kkumi na bibiri.
41
Ebibuga by'Abaleevi byonna wamu ebyali mu bitundu by'Abayisirayeli, byawerera ddala amakumi ana mu munaana, ko n'amalundiro gaabyo.
42
Buli kibuga ku bino kyalina amalundiro agakyetoolodde; byonna ebibuga bino byali bwe bityo.
43
Bw'atyo Omukama n'awa Yisirayeli ensi yonna gye yali alayidde okuwa bajjajjaabwe; ne bagitwala ne babeera omwo.
44
Omukama yabawa obuweerero ku njuyi zonna, nga bwe yali alayiridde bajjajjaabwe; tewali mulabe n'omu yabagumira; bonna abalabe baabwe yababawa mu mikono gyabwe.
45
Tewali kyonna kirungi Omukama kye yasuubiza nnyumba ya Yisirayeli kyagwa butaka; naye byonna byatuukirira.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24