bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 24
Joshua 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Yoswa n'akuŋŋaanya ebika bya Yisirayeli byonna e Sekemu, n'ayita abakadde n'abakulembeze, abalamuzi n'abaami ba Yisirayeli, ne beeyanjula mu maaso ga Katonda.
2
Awo n'ayogera eri abantu bonna nti: “Kino ky'agamba Omukama Katonda wa Yisirayeli: ‘Edda ennyo bajjajjammwe, nga Tera kitaawe wa Yiburayimu, ne Nakori, baabeeranga mitala w'omugga; baaweerezanga balubaale.
3
Naye ne nzigya kitammwe Yiburayimu mu nsi y'emitala w'omugga, ne mmuleeta, ne mmuyisa mu nsi yonna eya Kanaani, ne mmuwa ezzadde ddene. Namuwa Yizaake,
4
Yizaake ne mmuwa Yakobo ne Ezawu. Ezawu namuwa ensozi za Seyiri azitwale. Ye Yakobo n'abaana be ne bakkirira e Misiri.
5
“ ‘Ne ntuma Musa ne Aroni, ne mbonereza Abamisiri ne bye nakolayo; oluvannyuma ne mbaggyayo.
6
Bwe naggya bajjajjammwe mu Misiri, ne mujja ku nnyanja; Abamisiri ne bawondera bajjajjammwe n'ebigaali n'abeebagazi okutuuka ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa.
7
Ne bakowoola Omukama abayambe; n'aleeta enzikiza wakati wammwe n'Abamisiri, n'akomyawo ennyanja n'ababuutikira. Mwalabirako ddala n'amaaso gammwe bye nakola Abamisiri. Oluvannyuma mwabeera mu ddungu ebbanga ggwanvu.
8
Ne mbaleeta mu nsi y'Abaamori abaabeeranga emitala wa Yorudani. Baabalwanyisa, naye ne mbabawa mu mikono gyammwe, ne mbazikiriza mu maaso gammwe, ensi yaabwe ne mugitwala.
9
Balaki mutabani wa Zippori, kabaka wa Mowabu, bwe yasituka okulwanyisa Yisirayeli, yatumya Balaamu mutabani wa Bewori ajje abavumirire.
10
Naye saawuliriza Balaamu, wabula ate yabasabira mikisa ku mikisa, ne mbawonya mu mikono gye.
11
“ ‘Ne musomoka Yorudani ne mujja e Yeriko; abatuuze b'omu kibuga ekyo ne babalwanyisa, n'Abaamori, Abaperizzi, Abakanaani, Abakitti, Abagirugasi, Abakivi n'Abayebusi; era bonna ne mbawaayo mu mikono gyammwe.
12
Nasindika ennumba ne zibakulemberamu, ne zigenda nga zibagobawo mu maaso gammwe. Ne zigoba ne bakabaka Abaamori bombi; si na kitala kyo, wadde akasaale ko.
13
Ne mbawa ensi gye mutaateganira, n'ebibuga bye mutaazimba, mwe musula; n'ennimiro z'emizabbibu n'ez'oliva ze mutaasimba, mwe mulya.’
14
“Kale nno mutyenga Omukama era mumuweerezenga mu bwesimbu ne mu mazima. Mwessamule balubaale bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'omugga ne mu Misiri, muweerezenga Mukama.
15
Naye obanga okuweereza Omukama tekibasanyusa, olwa leero mweronderewo gwe mwagala okuweereza, oba balubaale bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'omugga, oba balubaale b'Abaamori bannannyini nsi gye mulimu. Naye nze n'ennyumba yange tujja kuweerezanga Mukama.”
16
Abantu ne baanukula nti: “Kikafuuwe, ffe okwabulira Omukama ne tuweereza balubaale abagwira.
17
Kubanga yali Mukama Katonda waffe eyatuggya, ffe ne bajjajjaffe, mu nsi y'e Misiri, ennyumba y'obuddu, eyakola obubonero obwo obw'amaanyi nga naffe tulaba. Yatukuuma mu lugendo lwonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu.
18
Ye Omukama n'atugoberawo amawanga gonna, omwali n'Abaamori abaabeeranga mu nsi. Naffe tujja kuweereza Mukama, kubanga ye Katonda waffe.”
19
Yoswa n'agamba abantu nti: “Temujja kusobola kuweeereza Mukama, kubanga ye Katonda mutuukirivu, Katonda ow'obuggya; tagenda kubasonyiwa nsobi zammwe na bibi byammwe.
20
Bwe kalibatanda ne muleka Omukama, ne muweereza balubaale abagwira, agenda kwekyusa ababonyeebonye, abasaanyeewo, sso ng'amaze okubakolera ebirungi.”
21
Naye abantu ne bagamba Yoswa nti: “Nedda! Tujja kuweerezanga Mukama.”
22
Yoswa n'agamba abantu nti: “Mmwe mwennyini muli bajulirwa b'ebigambo byammwe nga mulonze kuweerezanga Mukama.” Ne baddamu nti: “Tuli bajulirwa.”
23
N'abagamba nti: “Kale nno mweggyemu balubaale abagwira be mulina mu mmwe; emitima gyammwe mugiwunzikire eri Omukama Katonda wa Yisirayeli.”
24
Abantu ne baanukula Yoswa nti: “Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe, era tujja kumuwuliranga.”
25
Ku olwo Yoswa n'akolera abantu endagaano awo e Sekemu; n'abassizaawo amateeka n'ebiragiro.
26
Ebintu bino n'abiwandiika mu Kitabo ky'Etteeka lya Katonda. Awo n'addira ejjinja eddene n'alitereeza wansi w'omuvule ogwali okumpi n'ekifo ky'Omukama ekitukuvu.
27
N'agamba abantu bonna nti: “Mulabe ejjinja lino. Ligenda kutulumiriza ffe; liwulidde ebigambo byonna eby'Omukama by'atugambye. Liribalumiriza bwe mulyegaana Omukama Katonda wammwe.”
28
Awo n'asiibula abantu, badde buli omu ku busika bwe.
29
Oluvannyuma, Yoswa mutabani wa Nuunu omuweereza w'Omukama, n'afa: yali wa myaka kikumi mu kkumi egy'obukulu.
30
Ne bamuziika ku busika bwe e Timunati-Sera, obuli mu nsozi za Efurayimu, mu mambuka g'olusozi Gaasi.
31
Yisirayeli yaweereza Omukama ebbanga lyonna Yoswa ng'akyali mulamu, ne mu biseera by'abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa, abaamanya byonna Omukama bye yali akoledde Yisirayeli.
32
N'amagumba ga Yozefu Abayisirayeli ge baali baggye e Misiri, ne gaziikibwa e Sekemu, mu butaka bwa Yakobo bwe yali aguze ku Kamori kitaawe wa Sekemu ebitundu bya ffeeza kikumi. Bwe bwafuuka obusika bw'abazzukulu ba Yozefu.
33
Ne Eleyazari mutabani wa Aroni n'afa, n'aziikibwa e Gibewa, ekibuga ekyali kiweereddwa mutabani we Finekasi, mu nsozi za Efurayimu.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24