bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 12
Joshua 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
1
Bano be bakabaka Abayisirayeli be baawangula n'ensi zaabwe ne bazitwala, ebuvanjuba wa Yorudani, okuva ku kiwonvu kya Arunoni okutuuka ku lusozi Kerumoni, n'ekitundu kyonna ebuvanjuba wa Araba:
2
Sikoni, kabaka w'Abaamori eyabeeranga e Kesuboni, yafuganga okuva ku Aroweri, ekiri ku lubalama lw'omugga Arunoni, n'amakkati g'Ekiwonvu Arunoni, n'ekyokubiri kya Gileyaadi okukoma ku mugga Yabboki, Abammoni kwe bakoma.
3
Ne mu Araba ebuvanjuba, okutuuka ku nnyanja y'e Kinnereti, ebugwanjuba, okutuuka ku nnyanja eya Araba, ye Nnyanja ey'Omunnyo, ebuvanjuba, okutuuka e Beti-Yesimoti, emaserengeta wansi w'enkonko za Pisuga.
4
Ensi ya Ogi kabaka w'e Basani, omu ku Barefa abaali bakyasigaddewo, eyabeeranga mu Asutaroti ne mu Edureyi, yali:
5
olusozi lwonna olwa Kerumoni, Saleka, ensi yonna eya Basani okutuuka ku nsalo n'Abagessuri ne Abamaakati, n'ekyokubiri kya Gileyaadi, okutuuka ku nsalo ne Sikoni, kabaka wa Kesuboni.
6
Bano Musa omuweereza w'Omukama n'Abayisirayeli baabawangula, ensi yaabwe Musa n'agiwa ab'ekika kya Rubeni ne Gaadi, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ebeere yaabwe.
7
Bano be bakabaka b'ensi Yoswa n'Abayisirayeli ze baawangula ebugwanjuba wa Yorudani, okuva ku Baali-Gaadi mu Kiwonvu kya Lebanoni okutuuka ku lusozi Kalaki olugenda lugulumira okweyunga ku Seyiri. Ensi zaabwe Yoswa yazigabira ebika bya Yisirayeli mu bitundu byabwe.
8
Kye kitundu kino: mu nsozi, mu Sefela, mu Araba, mu kitundu eky'enkonko z'ensozi, mu ddungu ne mu Negevu, omwali Abakitti, Abaamori, Abakanaani, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi. Be bano:
9
Kabaka wa Yeriko omu; kabaka wa Ayi, okumpi ne Beteli omu;
10
kabaka wa Yeruzaalemu omu; kabaka wa Keburoni omu;
11
kabaka wa Yarumuti omu; kabaka wa Lakisi omu;
12
kabaka wa Eguloni omu; kabaka wa Gezeri omu;
13
kabaka wa Debiri omu; kabaka wa Gederi omu;
14
kabaka wa Koruma omu; kabaka wa Aradi omu;
15
kabaka wa Libuna omu; kabaka wa Adullamu omu;
16
kabaka wa Makkeda omu; kabaka wa Beteli omu;
17
kabaka wa Tappuwa omu; kabaka wa Keferi omu;
18
kabaka wa Afeki omu; kabaka wa Lasaroni omu;
19
kabaka wa Madoni omu; kabaka wa Kazori omu;
20
kabaka wa Simuroni-Meroni omu; kabaka wa Akusafu omu;
21
kabaka wa Taanaki omu; kabaka wa Megiddo omu;
22
kabaka wa Kedesi omu; kabaka wa Yokunewamu mu Karumeli omu;
23
kabaka wa Dori mu Nafati-Dori omu; kabaka wa Goyimu mu Gilugali omu;
24
kabaka wa Tiruza omu. Bonna awamu, bakabaka asatu mu omu.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24