bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 8
Joshua 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
1
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Leka kutya, totekemuka. Twala eggye lyo lyonna, situka olumbe ekibuga Ayi. Kabaka waayo mmuwadde mu mikono gyo, n'abantu, ekibuga n'ensi ye.
2
Ayi ne kabaka waakyo bya kukola nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waakyo, wabula nti muyinza okwetwalira ku munyago ne ku bisolo by'awaka. Mubeekwekerere emabega w'ekibuga.”
3
Yoswa n'asituka wamu n'eggye lyonna okulumba Ayi; yalonda enkumi ssatu ez'abasajja abazira n'abasindika ekiro.
4
Yabalagira nti: “Mubeekwekerere aweesiifu emabega w'ekibuga, naye temukyesamba nnyo; mwenna mubeere bulindaala.
5
Olwo nze n'abatabaazi bonna be ndi nabo, tujja kulumba ekibuga. Bwe banaafuluma okutulumba nga luli, nga tubadduka.
6
Bajja kutuwondera okutuusa nga bonna tubatwalirizza ne baleka ekibuga, kubanga bajja kulowooza nti. ‘Batudduse nga bwe baakola luli.’ Ffe bwe tunaaba tubadduka,
7
olwo nga nammwe musituka gye mwekwese, nga mukwata ekibuga. Omukama Katonda wammwe ajja kukibawa mu mikono gyammwe.
8
Bwe mumalanga okuwamba ekibuga, nga mukiteekera omuliro. Mukolanga ng'Omukama bw'agambye. Mwekkaanye, nze mbalagidde.”
9
Yoswa n'abasindika, ne balaga mu kifo ekyesiifu, ne balindira wakati wa Beteli ne Ayi, ebugwanjuba wa Ayi. Ye Yoswa ekiro yakimala n'abantu.
10
Ku makya n'asituka, n'akunga abantu; ye n'abakadde ba Yisirayeli nga bakulembeddemu, n'ayambuka e Ayi.
11
Ye n'eggye lyonna eryali naye ne bambuka, ne basemberera ekibuga, ne bayimirira emitala w'ekibuga, ne basiisira mu mambuka ga Ayi, ng'ekiwonvu kibaawudde ku kibuga.
12
Yoswa yali alonze abasajja enkumi nga ttaano ng'abakwese mu makkati ga Beteli ne Ayi, ebugwanjuba w'ekibuga ekyo kyennyini.
13
Abantu ne basimba olusiisira lwabwe emambuka w'ekibuga, ne bateeka eggye eryekwese ebugwanjuba bw'ekibuga. Yoswa n'agenda ekiro ekyo mu kiwonvu wakati.
14
Kabaka w'e Ayi bwe yalaba ekyo, n'ayanguwa ku makya, n'afuluma wamu n'abantu be bonna ab'omu kibuga okusisinkana Yisirayeli mu lutalo mu kifo ekitunuulidde Araba; naye teyamanya nti bamwekwekeredde emabega w'ekibuga.
15
Ye Yoswa ne Yisirayeli yenna ne beefuula ng'ababadduka, ne badduka nga boolekedde eddungu.
16
Abantu bonna abaali mu Ayi ne bakungibwa babawondere. Ne bawondera Yoswa, bonna ne batwalirizibwa okuva mu kibuga.
17
Tewaasigala musajja n'omu mu Ayi ne mu Beteli ataawondera Yisirayeli. Baaleka ekibuga kiggule ne bagoba Yisirayeli.
18
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Gololera ku Ayi akajogolo akali mu mukono gwo, kubanga ŋŋenda kukuwa Ayi mu mikono gyo.” Yoswa n'agololera akajogolo ku Ayi.
19
Olwali okugolola omukono, abasajja abaali beekwese ne basituka, ne bafubutuka amangu ago okuva gye baali, ne bayingira ekibuga, ne bakikwata, amangu ago ne bakiteekera omuliro.
20
Abantu b'e Ayi bwe baakebuka; okwetegereza nga balaba omukka gw'ekibuga guttunka gwambuka ku ggulu. Tebaalina na wa kuddukira batoloke, kubanga be baali bawondera, abaali babadduka nga balaga mu ddungu, baakyuka ne balumba ababawondera.
21
Anti Yoswa ne Yisirayeli yenna bwe baalaba ng'ekibuga kimaze okuwambibwa, n'omukka mu kibuga nga guttunka, ne bakyuka ne balumba abasajja b'e Ayi.
22
Ate n'abaali ku gw'okwekwekerera, ne bafuluma mu kibuga okubalumba; ne bataayizibwa mu makkati, nga Yisirayeli ali ku njuyi zombi. Yisirayeli n'abakuba okutuusa nga tewali asigaddewo yawonawo oba eyasumattuka.
23
Naye kabaka w'e Ayi ne bamuwamba nga mulamu, ne bamutwalira Yoswa.
24
Yisirayeli bwe yamala okutta bonna ab'e Ayi abaali ku ttale ne mu ddungu, gye baali babagobedde okutuusa nga bonna basaanyiziddwaawo n'obwogi bw'ekitala, Abayisirayeli ne badda e Ayi, ne batta bonna abaali mu kibuga.
25
Omuwendo gw'abo abattibwa ku olwo, bonna abasajja n'abakazi, baawera omutwalo gumu mu enkumi bbiri; bonna nga bantu ba mu kibuga Ayi.
26
Yoswa teyassa mukono gwe yali agolodde waggulu ng'akutte akajogolo, okutuusa abatuuze b'omu Ayi bonna nga bamaze okuttibwa.
27
Naye Yisirayeli yeetwalirako ku bisolo by'awaka ne ku munyago ng'Omukama bwe yali alagidde Yoswa.
28
Yoswa ekibuga yakyokya, n'akifuulira ddala ntuumu ya mirembe gyonna, amatongo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
29
Ye kabaka w'e Ayi yamuwanika ku muti n'amuleka okwo okutuusa akawungeezi. Enjuba bwe yali egwa Yoswa n'alagira bawanule omulambo gwe bagusuule mu muzigo gw'omulyango gw'ekibuga. Ne bagutuumako entuumu y'amayinja, ekyaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
30
Awo Yoswa, n'azimbira Omukama Katonda wa Yisirayeli omwaliiro ku lusozi Ebali,
31
nga Musa omuweereza w'Omukama bwe yali alagidde Abayisirayeli ne kiwandiikibwa mu Kitabo ky'Etteeka lya Musa nti omwaliiro gubanga gwa mayinja amalamba, agatakoonwangako kintu kya kyuma. Okwo kwe baaweerereza Omukama ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu.
32
Eyo Yoswa, mu maaso g'Abayisirayeli, gye yawandiikira ku mayinja Etteeka Musa lye yali awandiise
33
Yisirayeli yenna, omugwira n'omuzaaliranwa, abakadde, abaami n'abalamuzi baali bayimiridde erudda n'erudda w'Essanduuku, nga batunuulidde bakabona Abaleevi abaali basitudde Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama. Ekitundu ekimu eky'abantu kyali ku lusozi Gerizimu, ate ekirala ku lusozi Ebali, nga Musa omuweereza w'Omukama okuva mu masooka bwe yali alagidde bibeere ng'abantu ba Yisirayeli bagenda okufuna omukisa.
34
Oluvannyuma Yoswa n'asoma ebigambo by'Etteeka byonna, omukisa n'ekikolimo, nga bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky'Etteeka.
35
Ku ebyo Musa bye yalagira tekwali ky'ataasomera Yisirayeli yenna ng'akuŋŋaanye; omwo mwe mwali abakazi, abaana, n'abagwira abaabeeranga mu bo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24