bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 11
Joshua 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Yabini, kabaka wa Kazori bwe yawulira ebyo, n'atumira Yobabu kabaka wa Madoni, ne kabaka wa Simuroni, ne kabaka wa Akusafu,
2
n'eri bakabaka b'emambuka mu nsozi, ne mu Araba emaserengeta ga Kinnereti, ne mu Sefela, ne mu Nafoti-Dori ebugwanjuba,
3
n'eri Abakanaani ebuvanjuba n'ebugwanjuba, Abaamori, Abakitti, Abaperizzi, Abayebusi mu nsi y'ensozi, n'Abakivi abaabeeranga wansi w'olusozi Kerumoni mu nsi y'e Mizupa.
4
Ne basitula bonna, amagye gaabwe gonna n'embalaasi wamu n'ebigaali bingi nnyo, ng'abatabaazi bangi, butabalika ng'omusenyu ogw'oku lubalama lw'ennyanja.
5
Bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana ne basiisira wamu ku mazzi g'e Meromu, balwanyise Yisirayeli.
6
Awo Omukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya, kubanga enkya mu budde nga buno, abo bonna nzija kubassa mu maaso ga Yisirayeli nga bamaze okuttibwa; embalaasi zaabwe ojja kuzisala enteega, n'ebigaali obyokye omuliro.”
7
Yoswa n'agenda ku mazzi ga Meromu, wamu n'eggye lyonna, n'abazinduukiriza.
8
Omukama n'abawaayo mu mikono gya Yisirayeli. Baabakuba, ne babawondera okubatuusa e Sidoni Omunene n'e Misurefoti-Mayimu ne mu Kiwonvu ky'e Mizupa ebugwanjuba; yabakubira ddala okutuusa nga tewali n'omu asigaddewo.
9
Yoswa yakola ng'Omukama bwe yali amulagidde: embalaasi zaabwe n'azisala enteega, n'ebigaali n'abyokya.
10
Mu budde obwo Yoswa n'awamba Kazori, ne kabaka waakyo n'amutta n'ekitala; Kazori kye kyali ekibuga ekikulu eky'eŋŋoma zino zonna.
11
Yatta bonna abaabeerangamu okubasaanyizaawo ddala. Buli kirimu akassa kyonna yakizikiriza, n'ekibuga n'akyokya omuliro.
12
Yoswa n'awamba ebibuga byonna ebya bakabaka ebyetooloddewo ne bakabaka baabyo n'abawangula, n'abisaanyaawo nga Musa omuweereza w'Omukama bwe yali alagidde.
13
Naye Yisirayeli teyayokya bibuga byali ku ntuumu; kimu kyokka, Kazori, Yoswa kye yazikiriza n'omuliro.
14
Bye baanyaga mu bibuga bino n'ebisolo by'awaka Abayisirayeli baabyetwalira, naye bo abantu baabatta bonna, obutatalizaawo n'omu; buli alimu akassa baamutta.
15
Omukama kye yali alagidde omuweereza we Musa, ne Musa kye yalagira Yoswa, Yoswa kye yakola; teyalekayo wadde akagambo kati ku ebyo Omukama bye yali alagidde Musa.
16
Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi yonna: ensi ey'ensozi, ne Negevu yenna, n'ensi yonna eya Goseni, Sefela, Araba, ensozi za Yisirayeli n'emiseetwe ensozi gye zisembera.
17
Okuva ku lusozi Kalaki, olugenda lugulumira okweyunga ku Seyiri, okutuuka ku Baali-Gaadi mu Kiwonvu kya Lebanoni wansi w'Olusozi Kerumoni. Bakabaka baabwe bonna yabakwata, n'abakuba n'abatta.
18
Yoswa yamala ebbanga ggwanvu ng'alwanyisa bakabaka abo.
19
Tewali kibuga kyakola ndagaano na Bayisirayeli okuggyako Abakivi abaabeeranga mu Gibewoni; abalala bonna Yisirayeli yabakwata mu ntalo.
20
Kubanga Omukama ye yagugubya emitima gyabwe balwanyise Yisirayeli, balyoke bazikirizibwe ddala, baleme kusaasirwa n'akatono, basaanyizibwewo, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
21
Mu budde obwo Yoswa n'agenda n'atta Abaanaki mu nsozi z'e Keburoni, mu Debiri, mu Anabu, mu nsozi za Yuda ne mu nsozi zonna eza Yisirayeli. Yoswa bonna n'abazikiriza n'ebibuga byabwe.
22
Mu Baanaki teyalekawo n'omu mu nsi ya Yisirayeli, okuggyako abaali mu bibuga Gaza, Gati ne Asudodi be baawonawo.
23
Yoswa n'awamba ensi yonna ng'Omukama bwe yali agambye Musa, n'agiwa Yisirayeli ng'obusika bwabwe ng'agoberera ebika byabwe n'ebitundu byabwe. Awo ensi n'eweerako ku ntalo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24