bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 3
Joshua 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
1
Mu matulutulu, Yoswa bwe yazuukuka, ye n'Abayisirayeli bonna ne basitula, ne bava e Sittimu, ne batuuka ku Yorudani ne basula awo nga tebannasomoka.
2
Nga wayise ennaku ssatu, abaami ne bayitaayita mu lusiisira,
3
nga balangirira eri abantu nti: “Bwe mulaba Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama Katonda wammwe ne bakabona Abaleevi nga bagisitudde, nammwe olwo nga muva mu bifo byammwe, nga mugigoberera,
4
mulyoke mumanye ekkubo ery'okukwata, kubanga n'okutuusa kati temuliyitangamu. Wakati wammwe n'Essanduuku wabeerewo ebbanga nga lya mikono enkumi bbiri; mwekkaanye: temugeza ne mugisemberera.”
5
Yoswa n'agamba abantu nti: “Mwetukuze, kubanga enkya Omukama ajja kukola ebyewuunyisa mu mmwe.”
6
Oluvannyuma Yoswa n'agamba bakabona nti: “Musitule Ssanduuku y'Endagaano musomoke nga mukulembeddemu abantu.” Ne basitula Ssanduuku y'Endagaano, ne bakulemberamu abantu.
7
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Ntandise n'olwa leero luno okukugulumiza mu maaso ga Yisirayeli yenna, bamanye nti nga bwe nabeeranga ne Musa, bwe ndi naawe.
8
Kati lagira bakabona abeetisse Ssanduuku y'Endagaano nti: ‘Bwe mutuuka ku lubalama lw'amazzi ga Yorudani, nga muyimirira mu Yorudani.’ ”
9
Awo Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Musembere wano, muwulire ebigambo by'Omukama Katonda wammwe.”
10
N'ayongera nti: “Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu makkati gammwe, nti ddala agenda kubagoberawo mu maaso gammwe Abakanaani, Abakitti, Abakivi, Abaperizzi, Abagirugasi, Abaamori n'Abayebusi.
11
Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama w'ensi yonna ejja kubasookayo mu Yorudani.
12
Mutegeke abasajja kkumi na babiri mu bika bya Yisirayeli, omu mu buli kika.
13
Bakabona abatwala Ssanduuku y'Omukama, Omukama w'ensi yonna, olunaalinnya ekigere mu mazzi ga Yorudani, amazzi agakulukuta okuva engulu gajja kusalwako, geetuume ng'entuumu”
14
Awo abantu ne basimbula weema zaabwe basomoke Yorudani; bakabona abaali beetisse Ssanduuku y'Endagaano nga bakulembeddemu.
15
Bakabona abasitudde Ssanduuku bwe baatuuka ku Yorudani, olwalinnya amala g'ebigere byabwe bati ku lubalama lw'amazzi, [Yorudani guba gwaladde ku lubalama lwagwo lwonna mu budde bwonna obw'amakungula],
16
amazzi ag'engulu ne galekeraawo okukulukuta, ne geetuuma ng'entuumu wala nnyo awali ekibuga Adamu ekiri okumpi ne Zaretani; naye go amazzi ag'emmanga agakkirira mu nnyanja ya Araba, kwe kugamba nti Ennyanja ey'Omunnyo, ne gasalirwako ddala. Abantu ne basomoka nga boolekedde Yeriko.
17
Bakabona abaali beetisse Ssanduuku y'Endagaano ey'Omukama, ne bayimirira ku ttaka nga kkalu mu makkati ga Yorudani, okutuusa ng'abantu bonna bamaze okukutula Yorudani ku ttaka ekkalu.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24