bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 7
Joshua 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Naye Abayisirayeli tebaali beesigwa ku bisaliddwa okuzikirizibwa, ne beetwalira ku bisaliddwa okuzikirizibwa. Akani mutabani wa Karumi, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Zeraki, ow'ekika kya Yuda, yatwala ku bikolimire; obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Bayisirayeli.
2
Yoswa yatuma abasajja okuva e Yeriko bagende e Ayi ekiri okumpi ne Beti-Aveni ebuvanjuba wa Beteli, n'abagamba nti: “Mwambuke, mukette ensi” Nabo ne bagenda, ne baketta Ayi.
3
Bwe badda eri Yoswa ne bamugamba nti: “Tekyetaagisa bantu bonna kwambuka; abasajja ng'enkumi bbiri oba ssatu bagende, bawambe Ayi. Leka kukooyeza bwereere bantu, kubanga abantu batono abaliyo.”
4
Abasajja abatabaazi ng'enkumi ssatu mu bantu ne bambuka ku Ayi, naye ne badduka abasajja b'e Ayi.
5
Abo baabattamu abantu ng'asatu mu mukaaga, ne babawondera okubaggya ku wankaaki okutuuka e Sebarimu; mu kukkirira ensozi ne bagenda nga babakuba. Abantu emitima gyabwe ne gibatekemuka ne giba ng'amazzi obuzzi.
6
Yoswa n'ayuza ebyambalo bye n'agwa wansi ku maaso ge okutuuka ku ttaka mu maaso g'Essanduuku y'Omukama, n'abeera awo okutuusa akawungeezi. N'abakadde bonna aba Yisirayeli ne bakola nga bwe yakola, bonna ne beeyiira enfuufu ku mitwe.
7
Yoswa n'agamba nti: “Aa! Mukama Katonda, lwaki abantu bano wabasomosa omugga Yorudani okuwaayo mu mikono gy'Abaamori okutuzikiriza? Singa kyatumalira okusigala emitala wa Yorudani!
8
Ayi Mukama, ŋŋambe ki nga ndaba Yisirayeli abalabe adduka badduke?
9
Abakanaani n'abatuuze b'omu nsi bonna bajja kukiwulira; bajja kwegatta batuzingize, basaanyeewo erinnya lyaffe ku nsi. Kiki ky'onookolera erinnya lyo ekkulu?”
10
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Yimirira. Lwaki weeyaze wansi ku maaso go ku ttaka?
11
Yisirayeli akoze ekibi; ayonoonye Endagaano yange gye nali mbalagidde bagikuumenga. Baatutte ku bisaliddwa okuzikirizibwa; babbye ne balimba, ne babiteeka mu migugu gyabwe.
12
N'olw'ekyo Abayisirayeli tebasobola kutalira balabe baabwe, badduka badduke, kubanga basaliddwa okuzikirizibwa. Sikyazzeemu kubeera nammwe, okuggyako nga musaanyizzaawo ebyasalirwa okuzikirizibwa ebiri mu mmwe.
13
Situka, tukuza abantu, obagambe nti: ‘Mwetukuze okwetegekera olw'enkya, kubanga Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agambye nti: “Yisirayeli, mu makkati go mulimu ebyasalirwa okuzikirizibwa; tojja kusobola kutalira balabe bo, okutuusa nga mubyeggyeeko.” ’
14
“Awo nno enkya mujja kwesowolayo buli kika kinna kimu; ab'ekika Omukama ky'anaaba alonzeemu n'akalulu, bajja kwesowolayo ssiga kinna limu. Ab'essiga Omukama ly'anaaba alonzeemu n'akalulu bajja kwesowolayo nnyumba kinneemu; ate n'ab'omu nnyumba Omukama gy'anaaba alonzeemu n'akalulu, bajja kwesowolayo kinnoomu.
15
Oyo anaakwatibwa n'ekintu ekyasalirwa okuzikirizibwa, ajja kwokebwa omuliro wamu n'ebibye byonna, kubanga ayonoonye endagaano y'Omukama n'akola eky'obugwagwa mu Yisirayeli.”
16
Yoswa n'asituka mu matulutulu, n'asembeza Yisirayeli, buli kika kinna kimu; akalulu ne kalondamu Yuda.
17
Bwe yasembeza amasiga ga Yuda akalulu ne kalondamu essiga lya Zeraki. Bwe yasembeza essiga lya Zeraki nnyumba kinneemu, akalulu ne kalondamu ennyumba ya Zabudi.
18
Bwe yasembeza ennyumba ya Zabudi, ne bavaayo buli musajja kinnoomu, akalulu ne kalondamu Akani mutabani wa Karumi, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Zeraki ow'ekika kya Yuda.
19
Awo Yoswa n'agamba Akani nti: “Mwana wange, wa ekitiibwa Omukama, Katonda wa Yisirayeli, era muwe ettendo; mbuulira kye wakoze, tonkisa.”
20
Akani n'ayanukula Yoswa nti: “Kituufu, nasobya eri Omukama Katonda wa Yisirayeli; bino bye nakola:
21
mu munyago nalabamu omunagiro omulungi ogwakolerwa e Sinari, sekeli ebikumi bibiri eza ffeeza, n'ekitole kya zaabu ekizitowa sekeli amakumi ataano, ne mbyegomba, ne mbitwala. Nabikweka mu ttaka wansi munda wa weema yange, ffeeza nga y'ali wansi.”
22
Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani, ne basanga byonna nga bikwekeddwa mu kifo kyennyini, ne ffeeza ng'ali wansi waabyo.
23
Baabiggyayo mu weema ne babireeta eri Yoswa n'Abayisirayeli bonna, ne babyanjululiza mu maaso g'Omukama.
24
Awo Yoswa n'atwala Akani mutabani wa Zeraki wamu ne ffeeza, omunagiro, n'ekitole kya zaabu, wamu n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente, endogoyi, endiga ne weema yennyini, na buli kantu ke yalina. Yisirayeli yenna n'agenda naye, ne babatwala mu Kiwonvu kya Akori.
25
Yoswa n'agamba nti: “Lwaki otuleetedde entaanya eno? Olwa leero naawe Omukama k'agikuleetere.” Awo Yisirayeli yenna n'amukuba amayinja, ate nga bonna bamaze okubakuba amayinja, ne babookya mu muliro.
26
Ne bamukuŋŋaanyizaako entuumu nnene ey'amayinja, ekyaliwo na buli kati; Omukama n'aleka obusungu bwe obwesera. Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu Akori n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24