bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 17
Joshua 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
1
Guno gwe mugabo gw'ekika kya Manasse, omuggulanda wa Yozefu, oba ogwa Makiri, omuggulanda wa Manasse. Makiri ye yali kitaabwe w'abaasenga mu Gileyaadi. Baali baweereddwa Gileyaadi ne Basani, kubanga ab'essiga lya Makiri baali basajja batabaazi.
2
Bazzukulu ba Manasse abalala nabo baafuna kuno mu masiga gaabwe. Be bazzukulu ba Abiyezeri, aba Keleki, aba Asuryeli aba Sekemu, aba Keferi n'aba Semida. Abo be bazzukulu abalenzi aba Manasse, mutabani wa Yozefu, mu masiga gaabwe.
3
Ye Zelofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gileyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manasse, teyalina baana ba bulenzi, yalina bawala beereere, nga be ba Makula, Nowa, Kogula, Miluka ne Tiruza.
4
Bajja eri Eleyazari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuunu n'eri abakulembeze, ne bagamba nti: “Omukama yalagira Musa okutuwa obusika mu bannyinaffe.” Yoswa n'abawa ekitundu ekyabwe mu baganda bakitaabwe ng'Omukama bwe yali alagidde.
5
Manasse yafuna ebibanja kkumi, nga tobaze Gileyaadi ne Basani eri emitala wa Yorudani.
6
Bwe batyo bawala ba Manasse ne bafuna obusika mu batabani be. Ensi ya Gileyaadi yali y'abazzukulu ba Manasse abaali basigaddewo.
7
Ensalo za Manasse nga ziva Aseeri ne ziraga e Mikumetati ebuvanjuba wa Sekemu, ne ziserengeta mu bantu ababeeranga e Eni-Tappuwa;
8
Ensi ya Tappuwa yali ya Manasse, naye ekibuga Tappuwa ku nsalo kyali ky'abazzukulu ba Efurayimu.
9
Ensalo ne ziserengeta ku Kiwonvu Kana. Waalingayo ebibuga bya Efurayimu mu bibuga bya Manasse, naye ensalo za Manasse nga lwe lubalama lw'omugga olw'emambuka ne zikoma ku nnyanja.
10
Ku ludda olw'emaserengeta nga wa Efurayimu, ate olw'emambuka nga wa Manasse. Kwe kugamba nti ekitundu kya Manasse nga kikoona ku nnyanja, emambuka ng'eriyo Aseeri, ate ebuvanjuba nga kisalagana ne Yissakari.
11
Mu Yissakari ne mu Aseeri, Manasse yalinamu ebibuga: Beti-Sani n'obubuga bwakyo, Yibulewamu n'obubuga bwakyo, abatuuze b'omu Dori n'obubuga bwakyo, abatuuze b'omu Eni-Dori n'obubuga bwakyo, abatuuze b'omu Taanaki n'obubuga bwakyo, abatuuze b'omu Megiddo n'obubuga bwakyo, n'ekyokusatu ekya Nafati.
12
Bazzukulu ba Manasse tebaasobola kuwangula bibuga bino, kubanga Abakanaani baayagala okusigala mu kitundu kino.
13
Naye Abayisirayeli bwe beeyongera amaanyi, ne bassa Abakanaani ku kasanvu, naye era tebaabagobaamu kubamalamu.
14
Bazzukulu ba Yozefu ne bagamba Yoswa nti: “Lwaki ompadde omugabo gumu n'ekitundu kimu okuba obusika, sso ng'abantu bange bangi, sso nga n'Omukama n'okutuusa kati abadde akyampadde omukisa mungi?”
15
Yoswa n'abaddamu nti: “Obanga abantu bo bangi bwe batyo, ate nga n'ensozi za Efurayimu nfunda ku ggwe, yambuka mu kibira weeyerulire ekitundu mu nsi y'Abaperizzi n'Abarefa.”
16
Bazzukulu ba Yozefu ne bamuddamu nti: “Ensi ey'ensozi tetumala, ate Abakanaani bonna abali mu nsenyi, balina ebigaali eby'ekyuma, abo abali mu Beti-Sani ne mu bubuga bwakyo, n'abo abali mu lusenyi lwa Yezureeli.”
17
Yoswa n'agamba ennyumba ya Yozefu, ye Efurayimu ne Manasse nti: “Muli ggwanga ddene ery'amaanyi ennyo; temujja kufuna mugabo gumu gwokka;
18
n'ensi ey'ensozi ejja kubeera yiyo. Gyerule ogituusize ddala gy'ekoma, kubanga Abakanaani newandibadde nga balina ebigaali eby'ekyuma ate nga ba maanyi, ojja kusobola okubagobamu.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24