bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 20
Joshua 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Gamba Abayisirayeli nti:
2
‘Musseewo ebibuga eby'obuddukiro bye nabalagira nga mpita mu Musa,
3
buli yenna asse omuntu mu butanwa nga tagenderedde gy'anaasanganga obuddukiro ku awoolera eggwanga olw'omusaayi.
4
Bw'addukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, ayimiriranga ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga n'asooka yennyonnyolako eri abakadde b'ekibuga ekyo. Olwo balimukkiriza n'ayingira mu kibuga, ne bamuwa w'anaabeeranga.
5
Awoolera eggwanga olw'omusaayi bw'awonderanga eyatta, tebamuwangayo mu mikono gye, kubanga teyagenderera kutta munne; tekyava mu bukyayi mu kusooka.
6
Omuntu eyatta, ateekwa okusigala mu kibuga ekyo okutuusa ng'awozeseddwa mu maaso g'ekibiina, n'okutuusa nga kabona omukulu eyaliwo mu budde obwo amaze okufa. Olwo eyatta omuntu alisobola okuddayo mu maka ge, mu kibuga kye kye yali adduseemu.’ ”
7
Awo kwe kwawula ebibuga: Kedesi mu Galilaaya, mu nsozi za Nafutali, Sekemu, mu nsozi za Efurayimu, ne Kiriyati-Aruba, oba Keburoni, mu nsozi za Yuda.
8
Emitala wa Yorudani ne ebuvanjuba wa Yeriko baalonda Bezeri, ekiri mu ddungu, ku museetwe, mu kika kya Rubeni, Ramoti mu Gileyaadi, mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani, mu kika kya Manasse.
9
Bino bye bibuga ebyayawulirwa Abayisirayeli bonna, n'abagwira abaalinga mu bo, buli yabanga asse omuntu mu butanwa mwe yaddukiranga asobole okuwona awoolera eggwanga olw'omusaayi, okutuusa ng'amaze okuwozesebwa ekibiina.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24