bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 22
Joshua 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Awo Yoswa n'ayita Abarubeni, Abagaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse,
2
n'abagamba nti: “Mwatuukiriza n'obwesigwa byonna Musa omuweereza w'Omukama bye yabalagira, era buli lwe nabalagiranga, mwaŋŋonderanga.
3
Ebbanga libadde ggwanvu, naye n'okutuusa ku lunaku lwa leero temwabuliranga baganda bammwe; mutuukirizza Omukama Katonda wammwe kye yabakuutira.
4
Kale nno, ng'Omukama Katonda wammwe bw'amaze okuwa baganda bammwe ekiwummulo nga bwe yabasuubiza, mweddireyo mu weema zammwe, mu nsi y'obutaka bwammwe Musa omuweereza w'Omukama gye yabawa emitala wa Yorudani.
5
Naye mwekkaanye nnyo okutuusanga ekiragiro n'etteeka Musa omuweereza w'Omukama bye yabawa: okwagalanga Omukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukwatanga ebiragiro bye, okumunywererako, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna.”
6
Yoswa n'abawa omukisa n'abasiibula, ne badda eka mu weema zaabwe.
7
Ekyokubiri eky'ekika kya Manasse Musa yali akiwadde ekitundu kyakyo mu Basani; ekyokubiri ekirala eky'ekika Yoswa n'akikubira akalulu, ne bafuna mu baganda baabwe emitala wa Yorudani, ku ludda olw'ebugwanjuba. Bwe yali abasiibula baddeyo mu weema zaabwe, yabawa omukisa,
8
n'abagamba nti: “Muddeeyo mu weema zammwe n'entuumu y'obugagga bwammwe, n'amagana gammwe amanene ennyo, ffeeza, zaabu ekikomo, ekyuma, n'ebyambalo ebingi ennyo. Kw'ebyo bye mwanyaga ku balabe bammwe, mwawulizangako baganda bammwe.”
9
Bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse, ne baawukana n'Abayisirayeli e Silo, ekiri mu Kanaani, ne baddayo, bayingire mu Gileyaadi, ensi y'obutaka bwabwe bwe baali bafunye ng'Omukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
10
Bwe baatuuka e Geliloti, mu Kanaani, okumpi ne Yorudani, bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ne bazimba okumpi ne Yorudani omwaliiro omugulumivu mu ndabika yaagwo.
11
Abayisirayeli bwe baawulira nti bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse bazimbye omwaliiro e Geliloti, ku nsalo ne Kanaani, ku mugga Yorudani, naye ku ludda lwabwe olw'omugga,
12
ekibiina kyonna ekya Yisirayeli ne kikuŋŋaanira e Silo, bagende babatabaale.
13
Abayisirayeli ne batumira bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse Finekasi, mutabani wa Eleyazari kabona,
14
ng'ali n'abaami kkumi, omu omu ku lwa buli kika kya Yisirayeli, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abo ku lw'ebika bya Yisirayeli.
15
Bajja eri bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse, mu nsi ya Gileyaadi, ne babagamba nti:
16
“Ekibiina ky'Omukama kyonna kino kye kyebuuza: ‘Bulyake nnabaki buno ne mumenya obwesigwa eri Omukama Katonda wa Yisirayeli, ne muva ku Mukama olwa leero nga mwezimbira omwaliiro, okumujeemera kaakati?
17
Ekibi ky'e Pewori tekyatumalira, ekyo n'okutuusa ku lunaku lwa leero kye tutetukuzangako, newandibadde nga kyo ekibonerezo kyagwira ekibiina ky'Omukama?
18
Kati muumwo muva ku Mukama! Singa munaajeemera Omukama olwa leero, enkya Omukama ajja kusunguwalira ekibiina kyonna ekya Yisirayeli.
19
Obanga ensi y'obutaka bwammwe nnyonoonefu, musomoke, mujje eno mu nsi y'obutaka bw'Omukama omuli Ekisulo kye, tugabane eyo; naye muleke kujeemera Mukama, naffe okutujeemera, nga muzimba omwaliiro omulala ogutali mwaliiro gwa Mukama Katonda waffe.
20
Akani mutabani wa Zeraki bw'ataali mwesigwa eri ebyali bisaliddwa okuzikirizibwa, obusungu tebwajjira kibiina kyonna ekya Yisirayeli? Si ye yekka eyafa olw'okubeera ekibi kye.’ ”
21
Bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ne baanukula abakulu b'ebika bya Yisirayeli nti:
22
“Katonda Omukulu! Omukama! Katonda Omukulu! Omukama! Amanyi, ne Yisirayeli naye amanye; oba kino tukikoze mu bujeemu oba butawulira Mukama, temutusonyiwa olwa leero.
23
Oba twezimbidde omwaliiro kuva ku Mukama, tuguweererezeeko ebitambiro ebyokye, n'ebitone eby'obuwunga n'ebitambiro eby'okussa ekimu, Omukama yennyini atuvunaane.
24
Ffe twakikoze lwa kutya nti olumu abaana bammwe bagenda kugamba abaffe nti: ‘Ate mmwe Omukama Katonda wa Yisirayeli mumwagaza ki?
25
Mmwe bazzukulu ba Rubeni n'aba Gaadi, Omukama yassaawo ensalo wakati waffe nammwe, gwe mugga Yorudani. Awo nno mu Mukama temulinaamu mugabo.’ Bwe guba gutyo, abaana bammwe bagenda kuggya abaana baffe ku kutya Omukama.
26
“Kyetwava tugamba nti: ‘Mugire twezimbire omwaliiro, naye nga si gwa bitambiro ebyokye oba ebitone;’
27
wabula gubeere obujulizi wakati waffe nammwe n'eri amazadde gaffe agalituddirira, nti tuli ba kusinzanga Omukama n'ebitambiro ebyokye, ebitone n'ebitambiro eby'okussa ekimu. Olwo gye bujja abaana bammwe baleme kugamba baana baffe nti: ‘Temulina mugabo mu Mukama.’
28
Ne tugamba nti: ‘Bwe baliba ekyo bakitugambye oba nga bakigambye abaana baffe, tulibaanukula nti: “Mulabe ekifaananyi ky'omwaliiro gw'Omukama bajjajjaffe gwe baakola, nga si gwa kwokerako bitone oba okutambirirako, wabula ogw'okutujuliranga gye muli.” ’
29
Kikafuuwe, ffe okujeemera Omukama ne tumuvaako nga tuzimba omwaliiro ogw'ebitambiro ebyokye, ebitone eby'obuwunga n'ebitone, ogutali guli ogw'Omukama Katonda waffe, oguli mu maaso g'Ekisulo kye.”
30
Finekasi kabona n'abakulu b'ebika by'Abayisirayeli bwe baawulira bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'aba Manasse bye baayogera, ne basanyuka.
31
Finekasi mutabani we Eleyazari kabona, n'agamba abazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'aba Manasse nti: “Kati tumanyi nti Omukama ali naffe, kubanga temwonoonye eri Mukama ne kye mukoze; muwonyezza Abayisirayeli mu mukono gw'Omukama.”
32
Awo Finekasi, mutabani wa Eleyazari kabona, n'abakulembeze ne baleka bazzukulu ba Rubeni n'aba Gaadi mu Gileyaadi ne baddayo mu nsi y'e Kanaani eri Abayisirayeli, ne babategeeza bwe bibadde.
33
Abayisirayeli bye baawulira ne bibasanyusa, ne batendereza Katonda; era tebaddayo kwogera ku kugenda kutabaala n'okuzikiriza ensi ab'ekika kya Rubeni ne Gaadi mwe baabeeranga.
34
Bazzukulu ba Rubeni n'aba Gaadi omwaliiro gwe baazimba ne bagutuuma 'Mujulirwa mu ffe nti Omukama ye Katonda'.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24