bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 5
Joshua 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
1
Bakabaka bonna ab'Abaamori ebugwanjuba wa Yorudani, ne bakabaka bonna ab'Abakanaani abaali ku lubalama lw'Ennyanja Ennene, bwe baawulira ng'Omukama yakaza amazzi ga Yorudani mu maaso g'Abayisirayeli okutuusa lwe baamala okugusomoka, emitima ne gibatekemuka, ne babulwa n'otwanyi olw'Abayisirayeli.
2
Mu budde obwo Omukama n'agamba Yoswa nti: “Kola obwambe mu mayinja, oddemu okutayirira Abayisirayeli.”
3
Yoswa n'akola obwambe mu mayinja n'atayirira Abayisirayeli ku Kasozi k'Obuliba.
4
Eno ye nsonga okwava Yoswa okubatayirira: Abantu bonna abaali bavudde mu Misiri, abasajja abatabaazi bonna, baali bafiiridde mu ddungu mu lugendo lwabwe olwabaggya mu Misiri.
5
Bonna abaali bavudde mu Misiri baali batayirire; naye abo abaazaalirwa mu ddungu tebaali.
6
Anti Abayisirayeli baabungeetera mu ddungu, emyaka amakumi ana, okutuusa abasajja bonna abaali abatabaazi nga bafudde, kubanga baali tebagondedde ddoboozi lya Mukama. Omukama yali alayidde nti talibaleka kulaba nsi gye yali alayiridde bajjajjaabwe okugituwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
7
Ab'ekika kya bano be yazza mu kifo kya bajjajjaabwe; be bo Yoswa be yatayirira. Tebaali batayirire, kubanga tewaali abatayirira mu ŋŋendo.
8
Abantu bonna nga bamaze okutayirirwa, baasigala awo mu lusiisira, okutuusa nga bawonye.
9
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Olwa leero mbaggyeeko ensonyi z'e Misiri.” Olwo ekifo ekyo kwe kuyitibwa Gilugali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
10
Abayisirayeli ne basigala mu Gilugali, ne bakuliza awo Pasika akawungeezi ku lw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, mu lusenyi lwa Yeriko.
11
Ku lunaku olwaddirira Pasika, ku lunaku olwo lwennyini, baalya ku bibala by'omu nsi eyo: emigaati egitazimbulukuse n'empeke ensiike.
12
Enkeera nga bamaze okulya ku bibala by'ensi eyo, manu n'ekoma; Abayisirayeli tebaddayo kufuna manu, wabula mu mwaka ogwo baalya bibala bya mu nsi y'e Kanaani.
13
Yoswa yali ali kumpi ne Yeriko, bwe yasitula amaaso n'alaba omusajja ng'amuyimiridde awo mu maaso, ng'akutte ekitala ekisowole mu mukono gwe. Yoswa n'agenda gy'ali n'amubuuza nti: “Oli waffe nandiki oli wa balabe baffe?”
14
N'addamu nti: “Siriiko luuyi; kati nzize ng'omuduumizi w'eggye ly'Omukama.” Yoswa n'agwa wansi ku maaso ge ku ttaka, n'amuvunnamira, n'amubuuza nti: “Biki Mukama wange by'agamba omuweereza we?”
15
Omuduumizi w'eggye ly'Omukama n'agamba Yoswa nti: “Naanula engatto mu bigere, kubanga ekifo w'oyimiridde kitukuvu.” Yoswa n'akola ekimulagiddwa.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24