bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 9
Joshua 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
1
Olwawulira ebyo, bakabaka bonna abaalinga emitala wa Yorudani, abaalinga mu nsi ey'ensozi, mu Sefela, bonna ab'oku lubalama lw'Ennyanja Ennene okutuuka ku Lebanoni, Abakitti, Abaamori, Abakanaani, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi,
2
ne beekuŋŋaanya wamu okulwanyisa Yoswa ne Yisirayeli.
3
Naye ab'omu Gibewoni bwe baawulira byonna Yoswa bye yali akoze Yeriko ne Ayi,
4
nabo ne bakola akakodyo: baagenda ne beesibirira entanda, ne bassa ku ndogoyi ensawo enkadde, n'endyanga ez'evviini nazo nga nkadde, nga ngyabirivu era ntungirire;
5
nga bambadde engatto za birakalaka mu bigere n'engoye enkadde; n'emigaati gy'entanda yaabwe nga mikalu, gikukudde.
6
Ne bajja eri Yoswa mu lusiisira e Gilugali, ne bamugamba n'Abayisirayeli bonna nti: “Tuva mu nsi ya wala; mukole naffe endagaano.”
7
Abasajja ba Yisirayeli ne baanukula Abakivi nti: “Oba oli awo muva kumpi naffe; tukola tutya nammwe endagaano?”
8
Ne baanukula Yoswa nti: “Tuli baweereza bo.” Yoswa n'ababuuza nti: “Mmwe baani? Muva wa?”
9
Ne baanukula nti: “Abaweereza bo bavudde mu nsi ya wala nnyo olw'ettutumu ly'erinnya ly'Omukama Katonda wo. Twawulirako n'ebyo bye yakola mu Misiri,
10
ne bye yakola bakabaka ababiri Abaamori emitala wa Yorudani, Sikoni kabaka wa Kesuboni ne Ogi kabaka wa Basani eyabeeranga mu Asutaroti.
11
Awo abakadde n'abantu bonna mu nsi yaffe ne batugamba nti: ‘Mwesibirire entanda, mugende mubasisinkane; mubagambe nti: “Tuli baweereza bammwe; mukole naffe endagaano.” ’
12
Emigaati gyaffe gino we twagisibirako nga tuva eka okujja gye muli gyali gikyabuguma, naye kati mikalu, gikukudde.
13
Zino endyanga z'evviini zaali mpya we twazijjuliza, ziizino kati zaabiridde; ebyambalo byaffe n'engatto byonna biggweeredde biweddewo olw'obuwanvu bw'olugendo.”
14
Abakulembeze ne bagabana ku ntanda gye baabawa, naye tebeebuuza ku Mukama.
15
Yoswa n'akola nabo endagaano y'emirembe okubaleka nga balamu; n'abakulembeze b'ekibiina ne bakakasa endagaano eyo nga balayira.
16
Nga wayise ennaku ssatu zokka okuva ku ndagaano lwe yakolebwa, ne bawulira nti ba ku muliraano; babeera kumpi nabo.
17
Abayisirayeli ne basitula, ku lunaku olwokusatu ne batuuka ku bibuga byabwe bino: Gibewoni, Kefira, Beeroti ne Kiriyati-Yewarimu.
18
Naye Abayisirayeli tebaabalumba, kubanga abakulembeze b'ekibiina baali babalayiridde mu linnya ly'Omukama Katonda wa Yisirayeli. Ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulembeze.
19
Abakulembeze bonna ne baanukula nti: “Twabakakasa ne tulayira mu linnya ly'Omukama Katonda wa Yisirayeli, awo nno tetuyinza kubakwatako.
20
Naye kino kye tujja okukola: tujja kubaleka nga balamu, tuleme kwewakulira busungu olw'okumenya ekirayiro kye twabalayirira.”
21
Ne bongerako nti: “Ka basigalewo nga balamu, naye babeerenga baasi ba nku na bakimi ba mazzi eri ekibiina kyonna.” Ne bakola ng'abakulembeze bwe baagamba.
22
Yoswa n'atumya Abagibewoni n'abagamba nti: “Lwaki mwatulimbalimba nga mugamba nti: ‘Tubeera wala nnyo okuva we muli,’ sso nga mubeera kumpi naffe?
23
Kale nno muvumiriddwa; mu mmwe temulibulamu muddu ayasiza nku n'akimira mazzi nnyumba ya Mukama Katonda wange.”
24
Ne baanukula nti: “Ffe abaweereza bo baatubuulira nti Omukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi eno yonna n'okusaanyaawo mu maaso go abatuuze baamu bonna. Twatiiririra nnyo obulamu bwaffe olw'okubeera mmwe, kyetwava tukola tutyo.
25
Kale nno tuli mu mikono gyo; tukole ky'olowooza nga kye kirungi ate ekituufu.”
26
Bw'atyo Yoswa n'abawonya mu mikono gy'Abayisirayeli, ne batabatta.
27
Ku olwo n'alagira Abagibewoni babe baasi ba nku na bakimi ba mazzi mu kibiina n'eri omwaliiro gw'Omukama mu kifo Omukama ky'aliba alonze. Bwe batyo bwe bali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24