bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 13
Joshua 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Yoswa bwe yali akaddiye ng'ayise mu myaka, Omukama n'amugamba nti: “Okaddiye, era oyise mu myaka, sso ate ensi ekyali nnene nnyo etennawambibwa.
2
Eno ye nsi ekyasigalidde: ensi yonna ey'Abafilisitiini n'ey'Abagessuri yonna,
3
okuva ku mugga Sikori ebuvanjuba wa Misiri, okutuuka ku nsalo ya Ekuroni emambuka, ensi ebalibwa ng'ey'Abakanaani ey'abafuzi abataano Abafilisitiini, e Gaza, Asudodi, Esukeroni, Gati, ne Ekuroni; Abavvi bali emaserengeta.
4
Ensi yonna ey'Abakanaani okuva ku Ara eky'Abasidoni, okutuuka ku Afeki, ne ku nsi y'Abaamori,
5
n'ensi y'Abagebali wamu n'ensi yonna eya Lebanoni ebuvanjuba, okuva ku Baali-Gaadi, wansi w'olusozi Kerumoni okutuuka ku Lebo-Kamati.
6
“Bonna abatuuze b'omu nsozi okuva ku Lebanoni okutuuka ku Misurefoti-Mayimu, kwe kugamba abatuuze bonna Abasidoni, abo nze nzija kubagobawo mu maaso g'Abayisirayeli. Ggwe ensi gigabanyizeemu Abayisirayeli ku kalulu ng'obusika nga bwe nakulagira.
7
Kale nno gigabanyizeemu ebika omwenda n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ng'obusika.”
8
Ebika ekya Rubeni ne Gaadi wamu n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baali bafunye obusika okuva ku Musa, nga Musa omuweereza w'Omukama bwe yali abubawadde ebuvanjuba wa Yorudani:
9
okuva ku Aroweri, ekiri ku lubalama lw'Ekiwonvu Arunoni, okuva ku kibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu n'otwaliramu n'emiseetwe gyonna egy'e Medeba okutuusa e Diboni,
10
n'ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w'Abaamori, eyafugiranga e Kesuboni, okutuuka ku nsalo y'Abammoni,
11
ssaako Gileyaadi n'ensi y'Abagessuri n'Abamaakati, n'olusozi Kerumoni lwonna, ne Basani yenna okutuuka e Saleka,
12
kwe kugamba obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafugiranga mu Asutaroti ne Edureyi, eyali akyasigaddewo mu Barefa abasembayo. Musa yabakuba n'abawamba.
13
Naye Abayisirayeli tebaazikiriza Bagessuri n'Abamaakati. N'olw'ekyo Abagessuri n'Abamaakati bakyali n'Abayisirayeli n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
14
Kyokka ekika kya Leevi teyakiwa busika; wabula ebitambiro by'Omukama Katonda wa Yisirayeli ebiweerezebwa n'omuliro, bwe busika bwabwe, nga bwe yali abagambye.
15
Musa yawa ekika kya Rubeni ng'agoberera amasiga gaabwe, ensi eno:
16
baava ku Aroweri ku lubalama lw'Ekiwonvu Arunoni, ku kibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu, n'omuseetwe gwonna okutuuka e Medeba,
17
n'okweyongerayo okutuuka e Kesuboni n'ebibuga byakwo eby'oku museetwe, omuli Diboni, Bamoti-Baali, ne Beti-Baali-Mewoni;
18
Yawazi, Kedemoti ne Mefaati;
19
Kariyatayimu, Sibuma ne Zereti-Sakari ku lusozi olw'omu kiwonvu,
20
Beti-Pewori, enkonko za Pisuga ne Beti-Yesimoti,
21
ebibuga byonna eby'omu museetwe n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni, kabaka w'Abaamori, eyali afugira e Kesuboni. Musa yali amuwangudde n'abaami abaali bafuga Midiyaani: Evi ne Rekemu Zuru, Kuru, ne Reba, abaami ba Sikoni abaabeeranga mu nsi eyo.
22
Okwongereza ku balala Abayisirayeli be baali basanjaze, mwe mwali ne Balaamu mutabani wa Bewori, omulaguzi.
23
Ensi y'ab'ekika kya Rubeni ng'ekoma ku mugga Yorudani. Ekyo kye kitundu ab'ekika kya Rubeni kye baafuna mu masiga gaabwe, ebibuga n'ebyalo byabyo.
24
Musa yawa ekika kya Gaadi, be bazzukulu ba Gaadi, ng'agoberera amasiga gaabwe,
25
ne bafuna ekitundu ky'e Yazeri n'ebibuga byonna ebya Gileyaadi, n'ekyokubiri ky'ensi y'Abammoni, okutuukira ddala ku Aroweri ekiriraanye Rabba,
26
ate n'okuva e Kesuboni okutuuka e Ramati-Mizupa ne Betonimu, era n'okuva e Makanayimu okutuukira ddala ku nsi y'e Debiri.
27
Mu kiwonvu baafuna Beti-Aramu, Beti-Nimura, ne Sukkoti ne Zafoni, ekitundu ekisigadde eky'obwakabaka bwa Sikoni, kabaka wa Kesuboni. Kino kye kitundu eky'ebuvanjuba wa Yorudani, ekigoba Yorudani okutuukira ddala ku nsonda eya wansi w'ennyanja ya Kinnereti.
28
Ekyo kye kitundu bazzukulu ba Gaadi kye baafuna mu masiga gaabwe, ebibuga n'ebyalo byabyo.
29
Musa yali awadde ekyokubiri ky'ekika kya Manasse, kwe kugamba ekyokubiri ky'ekika ky'abazzukulu ba Manasse, omugabo ng'agoberera amasiga gaabwe,
30
ne bafuna ekitundu okuva e Makanayimu, Basani yenna, obwali obwakabaka bwa Ogi, kabaka wa Basani, ebyalo byonna ebya Yayiri ebiri mu Basani; byonna awamu bye bibuga nkaaga.
31
Ekyokubiri ekya Gileyaadi, Asutaroti ne Edureyi, ebyali ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, byaweebwa ekyokubiri ky'ab'essiga lya Makiri, mutabani wa Manasse, ng'agoberera amasiga gaabwe.
32
Obwo bwe busika Musa bwe yali agerese mu nsenyi za Mowabu, emitala wa Yorudani ebuvanjuba wa Yeriko.
33
Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa busika, kubanga Omukama Katonda wa Yisirayeli yennyini bwe busika bwabwe, nga bwe yali abagambye.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24