bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 6
Joshua 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
1
Yeriko kyali kikomeddwa ggulugulu olw'Abayisirayeli, nga tewali afuluma oba ayingira.
2
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Kati Yeriko ne kabaka waakyo n'abatabaazi bonna mbawadde mu mikono gyo.
3
Mwetooloole ekibuga omulundi gumu buli lunaku n'abatabaazi bonna ababagalidde ebyokulwanyisa; ekyo mukikolere ennaku mukaaga.
4
Ddira bakabona musanvu bakwate eŋŋombe musanvu ez'amayembe g'endiga ennume mu maaso g'Essanduuku ey'Endagaano. Ku lunaku olwomusanvu mwetooloole ekibuga emirundi musanvu, bakabona nga bafuuwa eŋŋombe.
5
Bwe muliwulira eddoboozi ly'eŋŋombe, olwo abantu bonna ne balyoka baleekaanira waggulu n'amaanyi. Bbugwe w'ekibuga agenda kuyeguukulukuka, abantu beeyiwe butereevu mu kibuga.”
6
Yoswa mutabani wa Nuunu n'ayita bakabona n'abagamba nti: “Musitule Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, ate muddire bakabona musanvu bagikulemberemu nga bakutte eŋŋombe musanvu ez'amayembe g'endiga ennume.”
7
N'agamba abantu nti: “Mutandike okutambula, mwetooloole ekibuga; abasajja ababagalidde ebyokulwanyisa bakulemberemu Essanduuku y'Omukama.”
8
Yoswa bwe yamala okwogera eri abantu, bakabona musanvu ne batandika okutambula nga bwe bafuuwa eŋŋombe, Essanduuku y'Endagaano y'Omukama ng'ebagoberera.
9
Eggye eribagalidde ebyokulwanyisa ne likulemberamu bakabona abafuuwa eŋŋombe, ate eggye eriva ennyuma nga ligoberera, zo eŋŋombe nga zivuga.
10
Yoswa yali awadde abantu ekiragiro nti: “Temukuba enduulu oba okufulumya ku ddoboozi, wadde okwogera, okutuusa olunaku lwe ndibagamba okuleekaana; olwo nga muleekaana.”
11
Essanduuku y'Omukama n'agyetoolooza ekibuga olwetoolooza lumu; ate ne badda mu lusiisira ne basula omwo.
12
Yoswa yazuukuka ku maliiri; bakabona ne basitula Ssanduuku y'Omukama.
13
Bakabona musanvu ne bakwata eŋŋombe musanvu ez'amayembe g'endiga ennume, ne batandika okutambula mu maaso g'Essanduuku y'Omukama nga bafuuwa eŋŋombe, eggye eribagalidde ebyokulwanyisa nga likulembeddemu, ate eggye eriva ennyuma nga ligoberera Ssanduuku y'Omukama, zo eŋŋombe nga zivuga.
14
Ne beetooloola ekibuga omulundi gumu ku lunaku olwokubiri, ne badda mu lusiisira; ne bakola batyo ennaku mukaaga.
15
Ku lunaku olwomusanvu baasitula mmambya ng'asala, ne beetooloola mu ngeri ye emu emirundi musanvu; olwo lwokka lwe beetooloola ekibuga emirundi omusanvu.
16
Ku mulundi ogwomusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti: “Muleekaane, kubanga Omukama abawadde ekibuga.
17
Kino ekibuga na byonna ebikirimu bisaliddwa okuzikirizibwa ku lw'Omukama. Malaaya Rakabu yekka y'aba awonawo ne bonna abali naye mu nyumba, kubanga yakweka abakessi be twasindika.
18
Naye mmwe mwewale ebisaliddwa okuzikirizibwa, sikulwa nga nammwe mwereetera ekikolimo, n'ensiisira zonna eza Yisirayeli ne zivumirirwa, ne zizikirira.
19
Yenna zaabu ne ffeeza, na buli kintu eky'ekikomo n'eky'ekyuma biwongeddwa Omukama; bya kutereka mu nkuluze y'Omukama.”
20
Eŋŋombe bwe zaafuuyibwa, abantu bonna ne baleekaana; abantu bwe baawulira okuvuga kw'eŋŋombe, ne baleekaanira waggulu; bbugwe n'ayeguukulukuka; buli omu n'ayingira butereevu, ne bawamba ekibuga.
21
Baazikiriza buli kyalimu, okuva ku musajja okutuuka ku mukazi, okuva ku muwere okutuuka ku mukadde, ssaako ente, endiga, n'endogoyi; ne babitta n'obwogi bw'ekitala.
22
Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaali bakesse ensi nti: “Mugende mu nnyumba ya malaaya muggyemu omukazi n'ababe bonna nga bwe mwamukakasa mu kirayiro.”
23
Abavubuka abaaketta ne bayingira, ne baggyamu Rakabu ne kitaawe, nnyina, bannyina n'abantu be bonna. Ab'omu nnyumba ye bonna ne babassa mu kifo ebweru w'olusiisira lwa Yisirayeli.
24
Ne bookya ekibuga n'ebyakirimu byonna, okuggyako ffeeza ne zaabu n'ebintu eby'ekikomo n'ekyuma; byo baabissa mu nkuluze y'ennyumba y'Omukama.
25
Naye Yoswa yataliza malaaya Rakabu, ennyumba ya kitaawe n'abantu be bonna, kubanga yakweka abakessi Yoswa be yali atumye okuketta Yeriko; Rakabu n'asenga mu Yisirayeli n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
26
Mu budde obwo Yoswa n'alayira ng'agamba nti: “Avumirirwe mu maaso g'Omukama aliddamu n'azimba ekibuga Yeriko. “Aliba awaddeyo muggulanda we bw'alibanga emisingi gyakyo, oba mutabani we asembayo bw'alisimba emiryango gyakyo.”
27
Omukama yali ne Yoswa, era ettutumu lye ne lisaasaana wonna mu nsi.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24