bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 14
Joshua 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Bino bye bitundu Abayisirayeli bye baafuna ng'obusika mu nsi y'e Kanaani, ebyabaweebwa Eleyazari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuunu n'abakulu b'amasiga mu bika bya Yisirayeli.
2
Obusika bwabwe baabugabira ebika omwenda n'ekitundu ku kalulu, nga Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa.
3
Ebika ebibiri n'ekitundu Musa yali amaze okubiwa obusika bwabyo emitala wa Yorudani; naye Abaleevi bo yali tabawadde busika mu bannaabwe.
4
Bazzukulu ba Yozefu bo baali bakoze ebika bibiri: Manasse ne Efurayimu. Abaleevi tebaafuna mugabo mu nsi, wabula ebibuga mwe banaabeera n'ebitundu ebiriraanyeewo balundiremu ensolo zaabwe n'amagana.
5
Nga Omukama bwe yali alagidde Musa, n'Abayisirayeli bwe baakola, ne bagabanya mu nsi.
6
Bazzukulu ba Yuda bajja eri Yoswa e Gilugali, Kalebu mutabani wa Yefunne Omukenizzi n'amugamba nti: “Omanyi Omukama kye yagamba Musa omuntu wa Katonda e Kadesi-Baruneya ku ggwe nange.
7
Nali wa myaka amakumi ana egy'obukulu, Musa omuweereza w'Omukama bwe yantuma okuva e Kadesi-Baruneya okuketta ensi. Namubuulira ebintu nga bwe nabiraba,
8
naye baganda bange abaagenda nange ne batekemula emitima gy'abantu. Nze ku lwange nagoberera Omukama Katonda wange n'omutima gwange gwonna.
9
Ku olwo Musa yeeyama nti: ‘Ensi ekigere kyo kwe kirinnye eriba yiyo ggwe n'abaana bo emirembe gyonna, kubanga wagoberera Omukama Katonda wange n'omutima gwo gwonna.’
10
Nzuuno n'okutuusa ku lunaku lwa leero Omukama ankuumye nga nkyali mulamu, nga bwe yansuubiza. Emyaka giri ana mu etaano kasookedde Omukama agamba Musa kigambo ekyo. Olwo Yisirayeli yali akyabungeetera mu ddungu; kati ndi wa myaka kinaana mu etaano egy'obukulu.
11
Na kati nkyali wa maanyi nga luli Musa lwe yansindika okuketta; nkyalina amaanyi agatabaala, ag'okugenda n'okudda, nga bwe nagalina na luli.
12
Kale nno mpa ensi eno ey'ensozi Omukama gye yansuubiza luli. Naawe wawulira nti eriyo Abaanaki, nti n'ebibuga byabwe binene okuli n'ebigo. Omukama ng'annyambye nzija kubagobawo, nga bwe yagamba.”
13
Yoswa n'asabira Kalebu mutabani wa Yefunne omukisa, n'amuwa Keburoni ng'obusika bwe.
14
Era okuva olwo Keburoni kyasigalira ddala nga kya Kalebu mutabani wa Yefunne Omukenizzi n'okutuusa ku lunaku lwa leero, kubanga yagoberera Omukama Katonda wa Yisirayeli n'omutima gwe gwonna.
15
Keburoni edda kyayitibwanga Kiriyati-Aruba, nga bakibbudde mu Aruba, eyali omusajja omwatiikirivu ennyo mu Baanaki. Awo ensi n'eweerako ku ntalo.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24