bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joshua 19
Joshua 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
1
Akalulu akookubiri kaayokya ab'ekika ky'abazzukulu ba Simewoni mu masiga gaabwe; obusika bwabwe bwagwa mu makkati g'ekitundu ky'abazzukulu ba Yuda;
2
Bwalimu Beeriseba, oba Seba, ne Molada;
3
Kazari-Suwali, Bala ne Ezemu;
4
Elutoladi, Betuli ne Koruma;
5
Zikulagi, Beti-Marukaboti ne Kazari-Susa;
6
Beti-Lebawoti ne Sarukeni; bye bibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo.
7
Era ne Ayini, Rimmoni, Eteri ne Asani; bye bibuga bina n'ebyalo byabyo,
8
n'ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga bino okutuukira ddala ku Baalati-Beeri, oba Rama mu Negevu. Obwo bwe bwali obusika bw'ab'ekika ky'abazzukulu ba Simewoni mu masiga gaabwe.
9
Obusika bw'abazzukulu ba Simewoni bwaggyibwa ku kitundu ky'abazzukulu ba Yuda, kubanga ekyabwe kyali kinene okusinga kye beetaaga. Awo nno obusika bw'abazzukulu ba Simewoni kwe kubeera mu makkati g'obusika bw'abazzukulu ba Yuda.
10
Akalulu akookusatu kaayokya abazzukulu ba Zebuluni mu masiga gaabwe. Ensalo zaabwe nga zituukira ddala e Saridi.
11
Ne zambuka ebugwanjuba okutuuka e Marala, ne zikwata ku Dabbeseti, ne zeyongerayo okutuuka ku kiwonvu ekiri mu maaso ga Yokunewamu.
12
Ate ne zidda ebuvanjuba mu bitundu by'e Kisuloti-Tabori nga ziva e Saridi, ne zigenda e Daberati, ne zambuka e Yafiya.
13
Bwe ziva eyo, ne zeeyongerayo ebuvanjuba okutuuka e Gita-Keferi Ne Eti-Kazini, ne zigguka e Rimmoni, olwo ne ziweta nga zidda e Newa.
14
Ne ziwetera emambuka wa Kanatoni, ne zikoma mu kiwonvu ky'e Yefutakeli.
15
Ebibuga ye Kattati, Nawalali, Simuroni, Yidala ne Beteleemu; bye bibuga kkumi na bibiri n'ebyalo byabyo.
16
Obwo bwe busika bw'abazzukulu ba Zebuluni mu masiga gaabwe, omwali ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
17
Akalulu akookuna kaayokya abazzukulu ba Yissakari mu masiga gaabwe.
18
Ekitundu ky'obusika bwabwe mwalimu ebibuga: Yezureeli, Kesulloti, ne Sunemu;
19
Kafarayimu, Siwoni ne Anakarati;
20
Rabbiti, Kisiwoni ne Ebezi;
21
Remeti, Eni-Gannimu, Eni-Kadda ne Beti-Pazzezi.
22
Ensalo nga zikwata ku Tabori ne Sakazuma ne Beti-Semesi, ne zikoma ku Yorudani; bye bibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo.
23
Obwo bwe busika bw'ab'ekika ky'abazzukulu ba Yissakari mu masiga gaabwe, omwali ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
24
Akalulu akookutaano kaayokya abazzukulu ba Aseeri mu masiga gaabwe.
25
Ekitundu kyabwe mwalimu ebibuga: Kelukati, Kali, Beteni ne Akusafu;
26
Allammeleki, Amadi ne Misali. Mu bugwanjuba ensalo nga zikwata ku Karumeli ne ku Sikori-Libunati,
27
ate ne zidda enjuba gy'eva okwolekera Beti-Dagoni, ne zikoma ku Zebuluni n'Ekiwonvu Yefutakeli, ne zambuka e Beti-Emeki ne Neyeli, ne ziyita ku kkono wa Kabuli.
28
Ne zigenda e Eburoni, Rekobu, Kammoni, Kana okutuuka e Sidoni Omukulu.
29
Ne zidda e Rama, ne zigenda ku kibuga ekya bbugwe ekya Tiiro, ne zidda e Kosa, ne ziggukira ku nnyanja mu kitundu ky'e Akuzibu,
30
Wumma, Afeki ne Rekobu; bye bibuga abiri mu bibiri n'ebyalo byabyo.
31
Obwo bwe busika bw'abazzukulu ba Aseeri mu masiga gaabwe, omwali ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
32
Akalulu akoomukaga kaayokya abazzukulu ba Nafutali, ku lw'abazzukulu ba Nafutali, mu masiga gaabwe.
33
Ensalo zaabwe zitandikira Kelefu, ziizo ku muvule gw'omu Zaanannimu, ne ziyita e Adami-Nekebu, ne Yabuneeli, okutuka e Lakkumu ne zikoma ku Yorudani.
34
Ate ne zidda ebugwanjuba okwolekera Azunoti-Tabori, ne zisinziira eyo okudda e Kukoki, ne zituuka ku Zebuluni emaserengeta, ne ku Aseeri ebugwanjuba, ne ku Yuda ku Yorudani ebuvanjuba.
35
Ebibuga ebiriko bbugwe byali: Ziddimu, Zeri, Kamati, Rakkati ne Kinnereti;
36
Adama, Rama ne Kazori;
37
Kedesi, Edureyi ne Eni-Kazori;
38
Yironi, Migudali, Eli-Koremu, Beti-Anati ne Beti-Semesi; bye bibuga kkumi na mwenda n'ebyalo byabyo.
39
Obwo bwe busika bw'ab'ekika ky'abazzukulu ba Nafutali mu masiga gaabwe, omwali ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
40
Akalulu akoomusanvu kaayokya abazzukulu ba Daani mu masiga gaabwe.
41
Mu kitundu ky'obusika bwabwe mwalimu: Zora, Esutawoli, ne Yiri-Semesi;
42
Saalabbini, Ayijaloni ne Yitula;
43
Eloni, Timuna, ne Ekuroni;
44
Eluteke, Gibbetoni ne Balaati;
45
Yudi, Bene-Beraki ne Gati-Rimmoni;
46
Me-Yarukoni, Rakkoni n'ekitundu ekitunuulidde Yoppa.
47
Bazzukulu ba Daani beesanga ng'ekitundu kyabwe tekibamala, kwe kwambuka ne balumba Lesemu, ne bakikwata, ne bakikuba n'ekitala, ne bakyezza. Baakisengamu, ne bakiyita Lesemu-Daani, nga basinziira ku jjajjaabwe Daani.
48
Obwo bwe busika bw'ekika ky'abazzukulu ba Daani mu masiga gaabwe, omwali ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
49
Abayisirayeli bwe baamala okugabanyaamu ensi mu bitundutundu ku kalulu, ne bawa Yoswa mutabani wa Nuunu obusika mu bo.
50
Nga Omukama bwe yali alagidde, baamuwa ekibuga kye yali asabye, Timunati-Sera, mu nsozi za Efurayimu. Yakizimba, n'abeera omwo.
51
Ebyo bye bitundu Eleyazari kabona, Yoswa mutabani wa Nuunu, n'abakulu b'ebika by'Abayisirayeli bye baagereka ku kalulu nga bali e Silo mu maaso g'Omukama, ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, ne bamaliriza batyo okugabanyaamu ensi.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24