bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 1
Luke 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
1
Nga bangi bwe bagezezzaako okuwandiika ekyafaayo ky'ebyo byonna ebyagwawo ebyatuukirizibwa mu ffe,
2
nga bwe byatuweebwa abo okuva mu masooka abaabirabirako ddala era abaali abaweereza b'ekigambo,
3
nange nno, ayi Omutiibwa Tewofilo, oluvannyuma lw'okwekenneenya obulungi ebintu byonna nga nviira ddala ku ntandikwa, njagadde mbikuwandiikire nga mbisengese,
4
olyoke onnyonnyoke bulungi obutuufu obuli mu bigambo bye wasomesebwa.
5
Mu mirembe gya Erode kabaka w'e Buyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zakariya, ow'omu kisanja kya Abiya, mukazi we erinnya lye nga ye Elizabeti, nga wa mu bawala ba Aroni.
6
Bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga tebaliiko kibavunaanibwa, nga batambulira mu biragiro by'Omukama byonna ne mu mateeka ge.
7
Baali tebalina mwana, kubanga Elizabeti yali mugumba, ate bombi nga bayise mu myaka.
8
Olumu Zakariya bwe yali ng'akola omulimu gw'obwakabona mu maaso ga Katonda, mu kisanja kye,
9
ng'empisa ey'obwakabona bwe yali, akalulu ne kagwa ku ye, n'ayingira mu Kiggwa ky'Omukama okunyookeza obubaani.
10
Mu budde obw'okunyookeza obubaani, ekibiina ky'abantu kyali bweru, ng'abantu beegayirira.
11
Awo malayika w'Omukama n'amulabikira; yali ayimiridde ku ludda olwa ddyo olw'omwaliiro gw'obubaani.
12
Zakariya bwe yamulaba n'asoberwa, ensisi n'emukwata.
13
Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga essaala zo ziwuliddwa, ne Elizabeti mukazi wo ajja kukuzaalira omwana ow'obulenzi n'omutuuma erinnya lye Yowanna.
14
Olisanyuka n'ojaguza, era bangi balisanyuka olw'okuzaalibwa kwe.
15
Kubanga aliba mukulu mu maaso g'Omukama; talinywa vviini, newandibadde buli ekitamiiza kyonna, era alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu ng'akyali na mu lubuto lwa nnyina.
16
Alizza bangi mu baana ba Yisirayeli eri Omukama Katonda waabwe;
17
era y'alimukulemberamu mu mwoyo ne mu maanyi ebya Eliya, emitima gya bakitaabwe alyoke agizze ku baana baabwe, n'abatawulira abazze mu magezi g'abatuukirivu, bw'atyo Omukama amussizeewo abantu abeetegefu.”
18
Zakariya n'agamba malayika nti: “Ekyo nnaakitegeerera ku ki? Anti ndi mukadde, ne mukazi wange ayise mu myaka.”
19
Malayika n'ayanukula nti: “Nze Gaburyeli, ayimirira mu maaso ga Katonda; nsindikiddwa njogere naawe, nkubuulire amawulire amalungi ago.
20
Kale nno ojja kusirika nga tosobola kwogera, okutuusa ku lunaku ebyo lwe birituukirira, kubanga tokkirizza bigambo byange ebirituukirira mu budde bwabyo.”
21
Bo abantu baali balindirira Zakariya nga beewuunya nga bw'aludde mu Kiggwa.
22
Bwe yafuluma, n'alemwa okwogera gye bali; ne bategeera nga waliwo ekimulabikidde mu Kiggwa; n'aye yennyini yagezaako okukibategeeza mu bubonero, n'asigala atyo nga kasiru.
23
Ennaku ez'omulimu bwe zaggwaako, n'addayo ewaabwe.
24
Oluvannyuma lw'ennaku ezo Elizabeti mukazi we, n'abeera olubuto; ne yeekisiza emyezi etaano ng'agamba nti:
25
“Omukama bw'ankoze ati mu nnaku ze yantekerako eriiso okunzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.”
26
Mu mwezi ogwomukaaga, malayika Gaburyeli Katonda n'amutuma mu kibuga ky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazareti,
27
ew'omuwala embeerera eyali ayogerezeddwa omusajja ow'omu kika kya Dawudi, erinnya lye Yozefu, ate erinnya ly'omuwala embeerera nga ye Mariya.
28
Malayika bwe yayingira gy'ali, n'amugamba nti: “Mirembe, ggwe eyagirirwa ekisa, Omukama ali naawe.”
29
Bwe yawulira, n'asoberwa nnyo olw'ebigambo ebyo, n'alowooza ennamusa eyo bw'ebadde.
30
Malayika n'amugamba nti: “Mariya, leka kutya, kubanga osanze ekisa ewa Katonda.
31
Laba, onoofuna olubuto n'ozaala omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye Yezu.
32
Aliba wa kitiibwa era aliyitibwa Mwana w'Oli Ali Waggulu Ddala; n'Omukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe,
33
n'ennyumba ya Yakobo aligifuga emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.”
34
Awo Mariya n'agamba malayika nti: “Kinaaba kitya ekyo, anti simanyi musajja?”
35
Malayika n'amuddamu nti: “Mwoyo Mutuukirivu anajja ku ggwe, n'amaanyi g'Oli Ali Waggulu Ddala ganaakubikkirira. Omwana alizaalibwa kyaliva ayitibwa omutukuvu, Omwana wa Katonda.
36
Kale laba, Elizabeti muganda wo ali lubuto lwa mwana mulenzi, sso nga mukadde; era guno gwe mwezi ogwomukaaga ogw'oyo gwe baayitanga omugumba,
37
Kubanga tewali kintu kitayinzika eri Katonda.”
38
Awo Mariya n'agamba nti: “Nzuuno Omuzaana w'Omukama, kinkolebwe nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava w'ali.
39
Mu nnaku ezo, Mariya n'asituka n'agenda bunnambiro mu nsi ey'ensozi, mu kibuga ky'omu Buyudaaya;
40
n'ayingira mu nnyumba ya Zakariya n'alamusa Elizabeti.
41
Elizabeti olwawulira ng'amulamusa, omwana n'asambagala mu lubuto lwe; Elizabeti n'ajjula Mwoyo mutuukirivu,
42
n'akoowoola n'eddoboozi ddene nti: “Oli wa mukisa mu bakazi, n'omwana w'olubuto lwo wa mukisa.
43
Kale kinvudde ku ki nnyina mukama wange okujja gye ndi?
44
Kubanga oluwulidde eddoboozi lyo ng'onnamusa, omwana n'asambagala mu lubuto lwange olw'essanyu.
45
Wamma wa mukisa oyo eyakkiririzaawo nti ebyamugambibwa okuva ew'Omukama birituukirira.”
46
Mariya n'agamba nti: “Emmeeme yange egulumiza Omukama,
47
n'omwoyo gwange gujaguliza mu Katonda mulokozi wange.
48
Kubanga yatunuulira obutene bw'omuzaana we. Laba, n'okuva kati amazadde gonna ganampitanga wa mukisa.
49
Kubanga Omuyinza yankolera ebinene, n'erinnya lye ttukuvu.
50
Ekisa kye kiri ku bamutya mu mazadde n'amazadde.
51
Akoze eby'amaanyi n'omukono gwe; abaali beekuza mu mitima gyabwe yabasaasaanya.
52
Ab'obuyinza yabaggya ku ntebe zaabwe, n'agulumiza abatene.
53
Abayala yabajjuza ebirungi, abagagga n'abagobera eri ngalo nsa.
54
Yalyowa Yisirayeli omuweereza we, ng'ajjukira ekisa kye,
55
nga bwe yagamba bajjajjaffe okukigirira Yiburayimu n'ezzadde lye emirembe gyonna.”
56
Mariya n'amala emyezi ng'esatu ng'ali ne Elizabeti, oluvannyuma naddayo ewaabwe.
57
Ennaku za Elizabeti ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala omwana wa bulenzi.
58
Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira ng'Omukama amugiridde ekisa, ne bamusanyukirako.
59
Olunaku olwomunaana ne bajja okutayirira omwana. Baali ba kumuyita erinnya lya kitaawe Zakariya,
60
naye nnyina n'agamba nti: “Nedda, ajja kuyitibwa Yowanna.”
61
Ne bamugamba nti: “Nga mu kika kyo temuli ayitibwa linnya eryo?”
62
Ne bakolera kitaawe obubonero nga bamubuuza bw'ayagala bamuyite.
63
Ye n'asaba ekipande, n'awandiika nti: “Erinnya lye ye Yowanna.” Bonna ne beewuunya.
64
Amangu ago akamwa ke ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera ng'agulumiza Katonda.
65
Baliraanwa baabwe ne bajjula okutya; ebigambo ebyo byonna ne byogerwako mu nsozi zonna ez'omu Buyudaaya.
66
Bonna abaabiwulira, ne babirowoozalowooza mu mitima gyabwe nga bagamba nti: “Omwana ono aliba atya?” kubanga omukono gwa Katonda gwamuliko.
67
Ne Zakariya kitaawe, Mwoyo Mutuukirivu n'amujjula, n'alanga, n'agamba nti:
68
“Omukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe; kubanga alambudde abantu be n'abanunula.
69
Atusitulidde Omulokozi ow'obuyinza, mu nnyumba ya Dawudi omuweereza we,
70
nga bwe yayogera mu kamwa k'abatuukirivu be, abalanzi be okuva mu mirembe egy'edda,
71
nti tujja kuwonyezebwa abalabe baffe ne mu mikono gya bonna abatukyawa,
72
agirire ekisa bajjajjaffe, ajjukire n'endagaano ye entukuvu;
73
okulayira kwe yalayiriramu Yiburayimu jjajjaffe,
74
ng'ajja kutuwa, nga tumaze okuwonyezebwa mu mikono gy'abalabe baffe, tumuweereze awatali kutya,
75
mu butuukirivu ne mu butuufu mu maaso ge ennaku zaffe zonna.
76
Naawe omwana oliyitibwa mulanzi w'Oli Ali Waggulu Ddala, kubanga olikulemberamu Omukama okumutegekera amakubo ge;
77
n'abantu be obamanyise obulokofu, basonyiyibwe ebibi byabwe,
78
olw'okusaasira okunene okwa Katonda waffe, enjuba lw'erivaayo waggulu eyo n'ejja etulambula,
79
emulise abatudde mu nzikiza ne mu kisiikirize eky'olumbe, erambike ebigere byaffe mu kkubo ery'eddembe.”
80
Omwana n'agenda ng'asuumuka, nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abeeranga mu ddungu okutuusa olunaku lwe yeeyoleka Yisirayeli.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24