bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 13
Luke 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamunyumiza ku Bagalilaaya omusaayi gwabwe Pilato gwe yatabula n'ebitambiro byabwe.
2
N'ayanukula nti: “Mulowooza nti Abagalilaaya abo ekyo okubagwako kityo be baali aboonoonyi okusinga Abagalilaaya abalala bonna?
3
Nze mbagamba nti si bwe kiri; kyokka bwe muteenenya, nammwe bwe mutyo bwe mulizikirira mwenna.
4
Na bali ekkumi n'omunaana omunaala gw'e Silowamu be gwagwira ne gubatta, mulowooza nti be baali basingayo obwonoonyi mu bantu bonna abasula mu Yeruzaalemu?
5
Nze mbagamba nti si bwe kiri; kyokka bwe muteenenya, nammwe bwe mutyo bwe mulizikirira mwenna.”
6
Awo n'aleeta olugero luno nti: “Waaliwo omuntu ng'alina omukunyu mu nnimiro ye ey'emizabbibu; yagendanga n'anoonyaako ebibala, nga tasangako.
7
Kwe kugamba omulimi w'ennimiro eyo nti: ‘Laba kati gino emyaka esatu nga nzija ne nnoonya ekibala ku mukunyu guno, naye sisangako kantu. Guteme nno, guliira ki ettaka ery'obwereere!’
8
Naye oli n'ayanukula n'amugamba nti: ‘Ssebo, guleke, ne mu mwaka guno; ka ngutemeretemere, nteekeko n'obusa.
9
Bwe gunaabala omwaka ogujja, awo kale; bwe gutaabale, oyinza okugutema.’ ”
10
Yali ayigiriza mu sinaagooga emu ku Sabbaato,
11
waaliwo omukazi eyali alina omwoyo ogw'obuyongobevu okumala emyaka kkumi na munaana; yali abenduse omugongo nga tayinza kwesimba n'akatono.
12
Yezu bwe yamulaba, n'amuyita, n'amugamba nti: “Mukazi wattu, osumuluddwa mu buyongobevu bwo.”
13
N'amussaako omukono, amangu ago ne yeesimba, n'atendereza Katonda.
14
Omukulu wa sinaagooga n'anyiiga olw'okubanga Yezu amuwonyezza ku Sabbaato; n'agamba ekibiina nti: “Ennaku ezigwanidde okukolerwamu emirimo ziri mukaaga; mujjenga mu ezo muwonyezebwe; naye temujjanga ku Sabbaato.”
15
Omukama n'amwanukula, n'agamba nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu mu mmwe tayimbula nte ye oba ndogoyi ye ku mmanvu yaayo ku Sabbaato n'agitwala okunywa?
16
Kale omukazi ono muwala wa Yiburayimu, Sitaani gw'asibidde emyaka ekkumi n'omunaana emiramba, abadde tasaanye kutemwa mu nvuba ezo ku Sabbaato?”
17
Bwe yayogera ebyo abaali bamuvunaana ne bakwatibwa ensonyi; abantu bonna ne basanyuka olw'ebyettendo bye yali akola.
18
Awo kwe kugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana ki? Nnaabugeranya ku ki?
19
Bufaanana ng'empeke ya kaladaali omuntu gye yaddira n'agisiga mu nnimiro ye; yakula n'efuuka omuti, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo.”
20
Era n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda nnaabugeranya ku ki?
21
Bufaanana ng'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akitabula mu bipimo by'obutta bisatu okutuusa bwonna lwe bwazimbulukuka.”
22
N'ayongera olugendo lwe mu maaso ng'ayita mu byalo ne mu bibuga ng'ayigiriza, nga bw'alaga e Yeruzaalemu.
23
Ne wajjawo omu n'amubuuza nti: “Mukama, abalirokoka be batono?” Yezu n'abagamba nti:
24
“Mwefubirire okuyingirira mu muzigo omufunda; kubanga, ka mbabuulire, bangi baligeza okuyingira ne batasobola.
25
Olwo nnannyinimu bw'alisituka n'aggala oluggi, mmwe mulitandika okuyimirira ebweru n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti: ‘Mukama, tuggulirewo.’ Alibaddamu nti: ‘Simanyi gye muva!’
26
Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga ne tunywera mu maaso go, era wayigirizanga mu mbuga zaffe.’
27
Ye alibagamba nti: ‘Mbagamba, simanyi gye muva! Munnyamuke mwenna abakozi b'obubi.’
28
Eyo walibaayo okukaaba n'okuluma obujiji bwe muliraba Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo n'abalanzi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, ate nga mmwe mugobeddwa ebweru.
29
Abantu baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, baliva emambuka n'emaserengeta, ne batuula ku mbaga mu bwakabaka bwa Katonda.
30
Kale mulabe: waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, ate n'ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.”
31
Mu ssaawa eyo yennyini Abafarisaayo abamu bajja gy'ali ne bamugamba nti: “Dduka ove wano, kubanga Erode ayagala kukutta.”
32
Ye n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Nzuuno olwa leero n'enkya ngoba emyoyo emibi ne mponya n'endwadde; olw'essatu ne mmaliriza omulimu gwange.
33
Kyokka olwa leero n'enkya n'oluddirira sirema kutambula, kubanga omulanzi tayinza kufiira bweru wa Yeruzaalemu.’
34
“Yeruzaalemu, Yeruzaalemu, ggwe atta abalanzi n'abakutumirwa n'obakuba amayinja! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekumiriza obwana bwayo wansi w'ebiwaawaatiro byayo, n'otaganya!
35
Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa ttayo. Ka mbabuulire, temulindaba okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama.’ ”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24