bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 11
Luke 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Yali mu kifo ekimu nga yeegayirira, bwe yamala, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama, tuyigirize okwegayirira nga Yowanna bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
2
N'amugamba nti: “Bwe mubanga mwegayirira, mugambanga nti: “ ‘Taata, erinnya lyo litiibwe; obwakabaka bwo bujje.
3
Tuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku.
4
Tusonyiwe ebibi byaffe, anti nga naffe tusonyiwa buli atulinako ebbanja. Totutwala mu kukemebwa.’ ”
5
Era n'abagamba nti: “Ani mu mmwe aliba ne mukwano gwe, n'agenda gy'ali ettumbi ly'obudde, n'amugamba nti: ‘Munnange, mpolaayo emigaati esatu,
6
kubanga mukwano gwange yaakatuuka okuva mu lugendo; sirina kaakulya ka kumuwa,’
7
oli n'ayima mu nnyumba n'ayanukula nti: ‘Tontawaanya; neggalidde dda; nze n'abaana bange tuli mu buliri; sisobola kugolokoka kujja kukuwa kantu.’?
8
Ka mbabuulire, newandibadde nga taagolokoke kumuwa kantu kubanga mukwano gwe, naye olw'oli okumuteeteza, ajja kugolokoka amuwe kye yeetaaga.
9
“Nange kyenvudde mbagamba nti musabe, muliweebwa; munoonye, mulizuula; mukonkone muliggulirwawo.
10
Kubanga buli asaba afuna; buli anoonya azuula, na buli akonkona aliggulirwawo.
11
Kale muzadde ani mu mmwe mutabani we ng'amusabye ekyennyanja, mu kifo ky'ekyennyanja n'amuwa omusota?
12
Obanga amusabye eggi, amuwa enjaba?
13
Kale oba mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, alabisa Taata ali mu ggulu; talisinzaawo okuwa Mwoyo Mutuukirivu ababa bamusabye?”
14
Awo yali agoba omwoyo omubi era nga gukasiru, omwoyo omubi bwe gwamala okumuvaamu, kasiru n'ayogera, abantu ne beewuunya.
15
Naye abamu ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ku lwa Beelizebuli omukulu w'emyoyo emibi.”
16
N'abalala, okumugeza, ne bamusaba akabonero okuva mu ggulu.
17
Naye ye bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti: “Buli bwakabaka obwetemamu, buzikirira; n'ennyumba egwa ku ginnaayo.
18
Kale nno, oba Sitaani yeetemyemu bw'atyo, obwakabaka bwe bunaanywera butya! Kubanga mmwe mugambye nti emyoyo emibi ngigoba ku bwa Beelizebuli.
19
Kale oba nze emyoyo emibi ngigoba ku bwa Beelizebuli, abaana bammwe bo bagigoba ku bw'ani?” Olwekyo kyebaliva babeera abalamuzi bammwe.
20
Naye obanga emyoyo emibi ngigoba na lugalo lwa Katonda, awo nno obwakabaka bwa Katonda butuuse mu mmwe.
21
Ow'amaanyi abagalidde ebyokulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebibye biba mu ddembe.
22
Naye amusinga amaanyi bw'amulumba, n'amala amugoba, ebyokulwanyisa byonna bye yali yeesiga abimuggyako n'eby'omunyago n'abigereka.
23
Ataba nange, aba mulabe wange; era atakuŋŋaanya nange asaasaanya.
24
“Omwoyo omugwagwa bwe guva mu muntu, gutambulatambula mu bifo ebikalukalu, nga gunoonya we gunaawummulira. Bwe gubulwa, ne gugamba nti: ‘Nzija kudda mu nnyumba yange mwe nava.’
25
Bwe gujja, gugisanga eyereddwa, etereezeddwa.
26
Awo ne gugenda, ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigukira obubi, ne giyingira ne gisula omwo. Awo embeera y'omuntu ey'oluvannyuma n'eba mbi okukira ey'olubereberye.”
27
Bwe yali akyayogera ebyo, omukazi omu n'ayima mu kibiina n'akangula eddoboozi, n'agamba nti: “Olubuto olwakuzaala lwa mukisa, ko n'amabeere ge wayonka.”
28
Naye ye n'agamba nti: “Abasinga omukisa beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikwata.”
29
Ebibiina bwe byali byeyongera obunene, n'atandika okugamba nti: “Ezzadde lino zzadde bbi; lisaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula akabonero ka Yona.
30
Kubanga nga Yona bwe yabeera akabonero eri abantu b'e Nineve, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba eri ezzadde lino.
31
Nnaabakyala ow'emaserengeta ku kulamulibwa alisituka wamu n'abantu b'ezzadde lino, n'abasalira omusango okubasinga, kubanga yava ku nkingi z'ensi okujja okuwulira amagezi ga Solomoni; sso nga wano waliwo akira ne Solomoni.
32
Abasajja b'e Nineve, ku kulamulibwa balisituka wamu n'abantu b'ezzadde lino ne babasalira omusango okubasinga, kubanga bo Yona bwe yababuulira, baabonerera; sso nga wano waliwo asinga Yona.
33
“Tewali akoleeza ttawaaza n'agissa buziizi, oba n'agivuunikirako kibbo; wabula agiwanika ku kikondo kyayo, abayingira balyoke balabe ekitangaala.
34
Eriiso lyo y'ettawaaza y'omubiri gwo; eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gutangaala; naye bwe liba eddwadde, era n'omubiri gwo guba mu nzikiza.
35
Awo nno wekkaanye, sikulwa ng'ekitangaala ekiri mu ggwe kiba nzikiza.
36
Obanga omubiri gwo gwonna gutangaala, nga tewali kitundu na kimu kiri mu nzikiza, gwonna gulitangaala ne gukutangaaza ng'ettawaaza bw'ekutangaaza n'okwaka kwayo.”
37
Yali akyayogera, Omufarisaayo n'amusaba okulya ewuwe. N'ayingira n'atuula okulya.
38
Awo Omufarisaayo n'atandika okwewuunya okulaba nga teyamala kunaaba ng'agenda okulya.
39
Awo Omukama n'amugamba nti: “Kale mmwe Abafarisaayo mutukuza ebikopo n'entamu ku ngulu, sso munda mujjudde obunyazi n'obugwenyufu.
40
Babuyabuya mmwe! Eyakola eky'okungulu si ye yakola n'ekiri munda?
41
Awo nno mugabire abaavu kye mulina munda, byonna bwe bityo lwe biribabeerera ebitukuvu.
42
“Zibasanze mmwe Abafarisaayo! Kubanga muwa ekyekkumi ekya nnabbugira n'eky'akakubansiri, n'ekya buli kiddo, ne mutafa ku bwenkanya na ku kwagala Katonda; sso ebyo mwanditeekeddwa okubikola nga na biri temubirese.
43
Zibasanze, mmwe Abafarisaayo! Kubanga mwagala entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga n'okulamusibwa mu mbuga.
44
Zibasanze mmwe! Kubanga muli ng'entaana ezitalabika, abantu ne bazitambulirako nga tebamanyi.”
45
Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'amugamba nti: “Muyigiriza, bw'oyogera otyo nga naffe otuvumye.”
46
N'amugamba nti: “Nammwe abayigiriza b'amateeka, zibasanze! Kubanga abantu mubabinika emigugu emizibu okwetikka; sso nga mmwe temugikwata nako wadde n'olugalo lwammwe olumu luti.
47
Zibasanze mmwe! Kubanga muzimba amalaalo g'abalanzi bajjajjammwe be batta;
48
ne mujulira era ne mukkiriza ebikolwa bya bajjajjammwe; anti bo baabatta ate mmwe ne mubazimbira amalaalo.
49
Amagezi ga Katonda kyegaava gagamba nti: ‘Ndibatumira abalanzi n'abatume, abamu ku bo balibatta n'okubayigganya,’
50
ezzadde lino liryoke libuuzibwe omusaayi ogw'abalanzi bonna ogwali guyiiyiddwa okuva ensi lwe yabangibwawo,
51
okuva ku musaayi gwa Abeli okutuuka ku gwa Zakariya eyazikiririra wakati w'omwaliiro n'Ekiggwa. Yee! ka mbabuulire, gulibuuzibwa ezzadde lino.
52
Zibasanze mmwe abayigiriza b'amateeka! Kubanga mwakwata ekisumuluzo ky'okumanya, naye mmwe mwennyini temwayingira, ate ne muziyiza n'abandiyingidde.”
53
Bwe yavaawo n'agenda, Abafarisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne batandika okumukambuwalira n'okumusimaasima ku bintu bingi,
54
nga bamulindiridde okumukwasa mu by'anaaba ayogedde.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24