bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 2
Luke 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
1
Awo mu nnaku ezo ekiragiro ne kiva ewa Kayisari Agusto, okuwandiisa abantu ab'ensi yonna.
2
Kuno kwe kwali okuwandiisa okubereberye, Kwiriniyo bwe yali nga ye wessaza lya Siriya.
3
Bonna ne bagenda okwewandiisa buli muntu mu kibuga kyaboobwe.
4
Ne Yozefu n'ava e Galilaaya, mu kibuga ky'e Nazareti, n'ayambuka mu Buyudaaya, mu kibuga kya Dawudi kye bayita Beteleemu, kubanga yali wa mu nnyumba ya Dawudi na wa mu lunyiriri lwe;
5
alyoke awandiikibwe wamu ne Mariya gwe yali ayogerezza eyali olubuto.
6
Bwe baali bali eyo, ennaku ez'okuzaala kwe ne zituuka.
7
N'azaala omwana we omuggulanda wa bulenzi, n'amuzingazinga mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu; kubanga baali tebafunye kifo mu nnyumba y'abatambuze.
8
Mu kitundu ekyo mwalimu abasumba nga bali eyo ku ttale, nga bakuuma eggana lyabwe ekiro.
9
Awo malayika w'Omukama n'abalabikira; ekitangaala kya Katonda ne kibabuna, ne bajjula okutya.
10
Malayika n'abagamba nti: “Muleke kutya, kubanga anti mbaleetera amawulire amalungi ag'essanyu eringi erinaakwata abantu bonna;
11
Kubanga olwa leero, Omulokozi, ye Kristu Omukama, abazaaliddwa mu kibuga kya Dawudi.
12
Kano ke kanaaba akabonero gye muli: munaasanga omwana omuwere, azingiddwazingiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu.”
13
Amangu ago awaali malayika oyo ne wajjawo ekibiina kinene eky'eggye ery'omu ggulu, nga batendereza Katonda, nga bagamba nti:
14
“Ekitiibwa kibeere eri Katonda waggulu ddala eyo, n'emirembe gibeere ku nsi mu bantu ab'omwoyo omulungi.”
15
Bamalayika bwe baamala okubaawukanako ne baddayo mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti: “Tugende e Beteleemu, tulabe ekigambo ekyo ekifuddeyo Omukama ky'atumanyisizzaako.”
16
Ne bagendayo bunnambiro, ne basanga Mariya ne Yozefu n'Omwana omuwere azazikiddwa mu mmanvu.
17
Bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baali babuuliddwa ku mwana oyo.
18
Na bonna abaawulira ne beewuunya ebigambo abasumba bye baabanyumizanga.
19
Mariya ye ebigambo ebyo byonna yabitereka, ng'abirowoozalowooza mu mutima gwe.
20
Abasumba ne baddayo nga bagulumiza n'okutendereza Katonda olw'ebyo byonna bye baali balabye ne bye baali bawulidde nga bwe byali bibagambiddwa.
21
Oluvannyuma lw'ennaku omunaana, bwe yatayirirwa, n'ayitibwa erinnya Yezu, malayika lye yamuwa nga tannaba kugwa mu lubuto.
22
Ennaku ez'okutukuzibwa kwabwe bwe zaatuuka, nga bwe kiri mu tteeka lya Musa, ne bamutwala e Yeruzaalemu okumusingira Omukama,
23
nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka ly'Omukama nti: “Buli kiggulanda ekisajja kinaayitibwanga kitukuvu eri Omukama,”
24
n'okuwaayo ekitambiro, nga bwe kiri mu tteeka ly'Omukama: amayiba abiri oba obuyiibwa bubiri.
25
Mu Yeruzaalemu mwalimu omusajja erinnya lye Simewoni, omuntu oyo nga mutuukirivu era nga musomi; yali alindirira okukubagizibwa kwa Yisirayeli, ne Mwoyo Mutuukirivu yabanga naye.
26
Mwoyo Mutuukirivu yali amubikkuliddeko nti yali tagenda kufa nga talabye ku Musiige wa Mukama.
27
N'ajja mu Kiggwa ng'afuuyiriddwa Mwoyo Mutuukirivu. Abazadde bwe baali bayingiza omwana mu Kiggwa, balyoke bamukole ng'empisa ey'etteeka bwe yali,
28
n'amukwata mu mikono gye, n'agulumiza Katonda, n'agamba nti:
29
“Kati leka omuweereza wo, ayi Mukama, agende mirembe, nga bwe wayogera;
30
kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo,
31
bwe wategekera mu maaso g'amawanga gonna;
32
ekitangaala eky'okumulisa amawanga, n'ekitiibwa ky'abantu bo Abayisirayeli.”
33
Kitaawe ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebimwogeddwako.
34
Simewoni n'abaagaliza omukisa; ate n'agamba Mariya nnyina nti: “Ono ateekeddwawo ku lw'okuzikirira ne ku lw'okuzuukira kw'abangi mu Yisirayeli; era aliba akabonero ke banaawakanyanga;
35
naawe ekitala kirisoya omutima gwo, ebirowoozo by'emitima gy'abangi byerulwe.”
36
Era waaliwo ne Anna omulanzi omukazi, muwala wa Fanuweli, ow'omu kika kya Aseri; yali ayise mu myaka. Yamala ne bba emyaka musanvu okuva ku bubeererevu bwe,
37
n'aba nnamwandu okutuusa ku myaka kinaana mu ena. Teyavanga mu Kiggwa, ng'asiiba, yeegayirira n'okuweereza emisana n'ekiro.
38
Naye n'atuukira ddala mu kaseera ako kennyini, ne yeebaza Katonda, n'ayogera ku mwana oyo eri abantu bonna abaali basuubira okununulibwa kwa Yeruzaalemu.
39
Bwe baamala okutuukiriza byonna nga bwe biri mu tteeka ly'Omukama, ne baddayo e Galilaaya mu kibuga kyabwe Nazareti.
40
Awo omwana n'agenda ng'asuumuka, ng'akakata, ng'ajjudde amagezi n'ekisa kya Katonda nga kimuliko.
41
Buli mwaka bakadde be baagendanga e Yeruzaalemu ku mbaga enkulu eya Pasika.
42
Bwe yaweza emyaka ekkumi n'ebiri, ne bambuka naye e Yeruzaalemu ng'empisa bwe yali.
43
Embaga enkulu bwe yaggwa, bwe baali baddayo, omwana Yezu n'asigala mu Yeruzaalemu; bakadde be ne batamanya.
44
Baalowoozanga nti bali naye mu kisinde; ne batambula olugendo lwa lunaku lulamba; ne bamumagamaga mu beŋŋanda ne mu bamanyi.
45
Bwe baalaba ababuze, ne baddayo e Yeruzaalemu, nga bamunoonyanoonya.
46
Nga wayiseewo ennaku ssatu, ne bamuggukako mu Kiggwa ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza ate ng'ababuuza ebibuuzo.
47
Bonna abaali bamuwulira bawuniikirira olw'amagezi ge n'okwanukula kwe.
48
Bwe baamulaba, ne bawuniikirira; nnyina n'amugamba nti: “Mwana wange, ekyatukoza otyo kiki? Kale laba kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tuli beeraliikirivu.”
49
Ye n'abagamba nti: “Kira munnoonyeza ki? Mubadde temumanyi nga nteekwa okubeera ku bya Kitange?”
50
Bo ne batategeera kigambo kye yabagamba.
51
N'aserengeta nabo, n'agenda e Nazareti, n'abawuliranga. Nnyina ebigambo ebyo n'abitereka mu mutima gwe.
52
Yezu ne yeeyongeranga amagezi n'okukula era n'okuganja eri Katonda ne mu bantu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24