bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 15
Luke 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
1
Abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi baali bamusemberera okumuwulira,
2
Abafarisaayo n'abawandiisi ne beemulugunya, ne bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi n'okulya n'alya nabo.”
3
Ye kwe kubagerera okugero luno, n'agamba nti:
4
“Ani mu mmwe abeera n'endiga ekikumi, emu ku zo emala emubulako, ataleka ekyenda mu omwenda mu ddungu n'agoberera eri ebuze, okutuusa lw'agiraba?
5
Ng'agizudde, agissa ku kibegabega nga musanyufu.
6
Bw'atuuka eka, n'ayita mikwano gye n'ab'omuliraano, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga endiga yange eyali ebuze ngizudde.’
7
Ka mbabuulire, essanyu bwe liriba lityo mu ggulu olw'omwonoonyi omu eyeenenya okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya.
8
“Oba kale mukazi ki abeera ne durakima ze ekkumi, bw'amala abulwako emu, atakoleeza ttawaaza, n'ayera ennyumba ye, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'agiraba?
9
Bw'agiraba, n'ayita banne n'ab'omuliraano, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga durakima yange eyali ebuze ngizudde.’
10
Ka mbabuulire, essanyu bwe liriba lityo mu bamalayika ba Katonda okubeera omwonoonyi omu eyeenenya.”
11
Ate n'abagamba nti: “Waaliwo omusajja ng'alina batabani be babiri;
12
asingako obuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, ekitundu ky'obusika ekyandibadde omugabo gwange kimpe.’ Naye ebintu n'abibagabanyizaamu.
13
Ennaku sizaayita nnyingi, mutabani we asinga obuto n'akuŋŋaanya byonna, n'asengukira mu nsi ey'ewala; ng'ali eyo byonna bye yalina n'abiyiwaayiwa mu bulamu obw'okusaasaanya.
14
Bwe yamala okuggwesa byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo; n'asooka okujeera.
15
N'agenda yeerimbika ku munnansi omu mu nsi eyo; ye n'amusindika mu nnimiro ye alunde embizzi.
16
Ne yeegombanga okusembekera olubuto lwe ebikuta embizzi bye zaali zirya, nabyo nga tewali abimuwa.
17
Ne yeddamu muli, n'agamba nti: ‘Mu nnyumba ya kitange abakozi bali bameka abalya emmere n'okulemwa ne balemwa? Wuuno ndi wano nfa enjala!
18
Ka nsituke ŋŋende eri kitange; nzija kumugamba nti: Ssebo, nayonoona eri eggulu ne mu maaso go;
19
sikyasaana na kuyitibwa mwana wo; mala ganfuula ng'omu ku bakozi bo.’
20
“N'ayimuka n'alaga eri kitaawe. Naye bwe yali akyali walako, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'addukanako, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera.
21
Mutabani we n'amugamba nti: ‘Ssebo, nayonoona eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana na kuyitibwa mwana wo.’
22
Naye kitaawe n'agamba abaweereza be nti: ‘Muleete omunagiro ogusinga obulungi mumwambaze, mumunaanike n'empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere;
23
muleete n'ennyana ensava, mugitte; mugire tulye, tusanyuke,
24
kubanga omwana wange ono yali afudde, azzeemu obulamu; yali azaaye, azaawuse.’ Ne batandika ekinyumu.
25
Naye mutabani we omukulu yali mu nnimiro; bwe yali akomawo ng'ali kumpi n'ennyumba, n'awulira okuyimba, n'okuzina.
26
N'ayita omu ku baweereza, n'abuuza ogubadde.
27
Ye n'amugamba nti: ‘Muganda wo akomyewo; kitaawo kwe kutta ennyana ensava; kubanga amufunye ng'akyali mulamu.’
28
Naye ye n'asunguwala, n'agaana okuyingira. Awo kitaawe n'afuluma, n'amwegayirira;
29
naye ye n'ayanukula kitaawe nti: ‘Laba, emyaka gino gyonna nkuweerezza, sikutenguwangako mu by'ondagira; sso tompanga yadde akabuzi nsanyuke ne bannange!
30
Naye mutabani wo ono eyalya ebibyo ne bamalaaya bw'akomyewo, ggwe n'omuttira ennyana ensava!’
31
Ye n'amugamba nti: ‘Mwana wange, bulijjo ggwe oli wamu nange; byonna ebyange bibyo.
32
Naye kibadde kisaana okusanyuka n'okujaguza, kubanga muganda wo oyo, yali afudde, kati mulamu; yali azaaye, azaawuse.’ ”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24