bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 5
Luke 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
1
Ekibiina bwe kyali kirinnimukira gy'ali nga kyagala okuwulira ekigambo kya Katonda, ye yali ayimiridde ku nnyanja y'e Gennesareti,
2
n'alaba amaato abiri nga gali ku nnyanja; abavubi baali bavuddemu nga banaaza obutimba bwabwe.
3
N'asaabala mu lyato erimu, erya Simoni, n'amusaba asembezeeyo katono eryato okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiriza ng'ayima mu lyato.
4
Bwe yasirissa enjigiriza ye, n'agamba Simoni nti: “Twala mu buziba, musuule obutimba bwammwe mukwase.”
5
Simoni n'ayanukula n'amugamba nti: “Muyigiriza, twamaze ekiro kyonna nga tutegana, tetwakwasizza kantu. Naye olw'ekigambo kyo, nnaasuula akatimba.”
6
Bwe baakola ekyo, ne bakwasa ebyennyanja kafukunya, n'akatimba kaabwe nga kajula kuyulika.
7
Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato eddala bajje babayambe. Ne bajja, ne bajjuza amaato gombi, ne gajula okusaana.
8
Simoni Petero bwe yalaba ekyo, n'agwa ku maviivi ga Yezu, n'amugamba nti: “Ndeka, ayi Mukama, kubanga nze ndi muntu mwonoonyi.”
9
Anti yali mu kusamaalirira, ye na bonna abaali naye, ku lw'ebyennyanja bye baali bakwasizza,
10
kye kimu ne Yakobo ne Yowanna batabani ba Zebedaayo abaali banne ba Simoni. Yezu n'agamba Simoni nti: “Leka kutya, n'okuva kati ojjanga kukwasanga bantu.”
11
Bwe baamala okugolomola amaato gaabwe ku ttale, ne baleka byonna, ne bamugoberera.
12
Bwe yali mu kimu ku bibuga, ne wajjayo omusajja abunye ebigenge; bwe yalaba Yezu, ne yeeyala wansi ku maaso ge, n'amwegayirira nti: “Mukama, bw'oyagala osobola okunnongoosa.”
13
Ye n'agolola omukono, n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, longooka.” Amangu ago ebigenge ne bimuta.
14
N'amukomereza obutabuulira muntu; n'amugamba nti: “Genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone olw'okulongoosebwa kwo, nga Musa bwe yalagira, ng'obukakafu gye bali.”
15
Naye amawulire ku ye ne geeyongera okubuna, n'ebibiina bingi ne byesombera w'ali bawulirize era bawonyezebwe n'endwadde zaabwe.
16
Ye ne yeewungula n'alaga mu ddungu, ne yeegayirira.
17
Awo olumu mu nnaku ezo, yali ayigiriza, Abafarisaayo n'abayigiriza b'amateeka nabo nga batudde awo; baali bavudde mu buli kyalo kyonna eky'e Galilaaya, Buyudaaya, ne mu Yeruzaalemu. Amaanyi g'Omukama gaamuliko okuwonya.
18
Awo ne wajja abasajja nga beetisse ku lunnyo omulwadde akonzibye; ne banoonyereza aw'okumuyingiriza bamuteeke mu maaso ga Yezu.
19
Olw'ekibiina, Ne babulwa we bayita okumuyingiza olw'ekibiina. Awo ne balinnya ku kasolya waggulu, ne bamuyisa mu mategula wamu n'olunnyo ne bamukkiriza mu makkati mu maaso ga Yezu.
20
Bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba nti: “Musajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
21
Abawandiisi n'Abafarisaayo ne batandika okwebuuza nga bagamba nti: “Ani ono ayogera ebivuma Katonda? Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?”
22
Yezu bwe yategeera bye beebuuza, n'abagamba nti: “Mwebuuza ki mu mitima gyammwe?
23
Ekisinga obwangu kiruwa, okugamba nti: ‘Ebibi byo bikusonyiyiddwa?’ nandiki okugamba nti: ‘Situka otambule?’
24
Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba eyali akonzibye nti: “Nkugamba: situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.”
25
Amangu ago n'asituka mu maaso gaabwe, n'akwata kye yali agalamiddeko, n'agenda ewaabwe ng'agulumiza Katonda.
26
Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda; ne bajjula okutya, ne bagamba nti: “Olwa leero tulabye ebikuuno.”
27
Oluvannyuma, n'afuluma; n'alaba omusolooza w'omusolo erinnya lye Leevi ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti: “Ngoberera.”
28
N'aleka byonna, n'asituka n'amugoberera.
29
Awo Leevi n'amufumbira embaga nnene mu nnyumba ye; waaliwo ekibinja kinene eky'abasolooza b'omusolo n'abalala bwe baali naye ku mbaga nga balya.
30
Abafarisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be nti: “Lwaki mmwe mulya ne munywa n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
31
Yezu n'ayanukula n'abagamba nti: “Abalamu si be beetaaga omusawo, wabula abalwadde.
32
Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi, beenenye.”
33
Bo ne bamugamba nti: “Abayigirizwa ba Yowanna basiiba emirundi mingi era beegayirira, era n'abayigirizwa b'Abafarisaayo bakola kye kimu, sso ng'ababo balya ne banywa.”
34
Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole muyinza okubasiibya ng'awasizza akyali nabo?
35
Ennaku zirituuka, awasizza n'abaggyibwako; olwo nno mu nnaku ezo balisiiba.”
36
Era n'abaleetera olugero nti: “Tewali muntu ayuza kiwero ku kyambalo kiggya n'akissa ku kyambalo kikadde; bw'akola atyo, ekiggya akiyuza, n'ekiwero ekiggyiddwa ku kiggya tekigendana na kikadde.
37
Era tewali muntu addira vviini nsu n'agifuka mu nsawo nkadde; bw'akola atyo, evviini ensu eyabya ensawo, n'eyiika, n'ensawo ne zifa.
38
Evviini ensu efukibwa mu nsawo mpya.
39
Era tewali anywa ku vviini nkadde, ate n'addayo n'ayagala ensu; kubanga agamba nti: ‘Enkadde nnungi.’ ”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24