bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 8
Luke 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
1
Awo oluvannyumako n'ayitaayita mu bibuga n'ebyalo ng'ayigiriza, era ng'ababuulira amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda; n'Ekkumi n'Ababiri nga bali naye,
2
n'abakazi abamu abaali bawonyezeddwa emyoyo emibi n'endwadde: Mariya ayitibwa Magudalena eyagobebwamu emyoyo emibi musanvu,
3
ne Yowannina muka Kuza omuwanika wa Erode, ne Suzanna, n'abalala bangi, abaabalabiriranga nga batoola ku byabwe.
4
Awo ebibiina binene ne bikuŋŋaana, abantu ne bava mu bibuga n'ebibuga ne bajja w'ali, n'ayogera mu ngero nti:
5
“Omusizi yafuluma okusiga ensigo ye. Yali asiga, ensigo emu n'egwa mu kkubo, n'erinnyirirwa ebigere, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bigirya.
6
Endala n'egwa ku lwazi; n'emeruka, n'ekala, kubanga teyalina mazzi.
7
Endala n'egwa mu maggwa; amaggwa ne gamera wamu nayo ne gagifuuwa.
8
Endala n'egwa mu ttaka eddungi, n'ekula, n'ereetako ebibala kikumi.” Bwe yasirissa ebyo, n'akoowoola nti: “Alina amatu okuwulira, awulire.”
9
Awo abayigirizwa be ne bamubuuza ku lugero olwo bwe luli.
10
Ye n'abagamba nti: “Mmwe mwaweebwa okumanya ebyama by'obwakabaka bwa Katonda; abalala bo kibabuulirwa mu ngero, bwe balaba baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera.
11
Kale olugero lwe luno: Ensigo kye kigambo kya Katonda.
12
Ensigo ey'oku kkubo, be baabo abawulira, oluvannyuma Sitaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu myoyo gyabwe, baleme kukkiriza na kulokoka.
13
Ate eyagwa ku lwazi, be baabo, bwe bawulira ekigambo, bakyaniriza n'essanyu; naye obutabaako mirandira, bakkiriza akabanga, ate mu budde obw'okukemebwa, nga beeseebulula.
14
Eyagwa mu maggwa, be baabo abawulira; naye bwe bagenda, okweraliikirira n'obugagga, n'amasanyu ag'obulamu ne bibatuga ne batabala bibala.
15
Eyagwa ey'omu ttaka eddungi, be baabo abawulira ekigambo ne bakitereka mu mutima omulungi, omwesimbu, ne baleeta ebibala mu kugumiikiriza.”
16
“Tewali akoleeza ttawaaza n'agisaanikirako nsuwa, oba n'agissa wansi wa kitanda; naye agiwanika ku kikondo abayingira balyoke balabe ekitangaala.
17
Kubanga tewali kyakisibwa ekitalibikkulibwa, era n'ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kijja mu kitangaala.
18
Mwekkaanye engeri gye muwuliramu. Kubanga alina alyongerwako; ate buli atalina, ne ky'alowooza nti akirina kirimuggyibwako.”
19
Awo nnyina ne baganda be ne bajja gy'ali; ne batasobola kumutuukako olw'ekibiina.
20
Ne bamutumira nti: “Nnyoko ne baganda bo bayimiridde wano ebweru baagala okukulabako.”
21
Ye n'ayanukula n'abagamba nti: “Mmange ne baganda bange be baabo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakissa mu nkola.”
22
Awo olumu n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Tusomoke, tulage emitala w'ennyanja.” Ne basitula.
23
Bwe baali bawunguka, ne yeebaka. Omuyaga ogw'empewo ne gukka ku nnyanja, ne bajjula amazzi, ne baba mu kabi.
24
Ne basembera w'ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Muyigiriza, Muyigiriza, tusaanawo!” Ye n'agolokoka, omuyaga n'ennyanja eyali esiikuuse n'abikomako, ne bikoma, ne guba mulaala.
25
N'abagamba nti: “Okukkiriza kwammwe kuli wa?” Ne batya, ne beewuunya, ne bagambagana nti: “Ono ye ani, alagira empewo n'amazzi ne bimuwulira?”
26
Ne basaabala, ne bagoba mu nsi y'Abagerasa emitala wa Galilaaya.
27
Bwe yagoba ku ttale, n'ajjirwa omuntu okuva mu kibuga eyalimu emyoyo emibi. Ebiro bingi yali takyayambala, nga tasula na mu nnyumba, wabula ng'abeera eyo mu biggya.
28
Olwalengera ku Yezu, n'awowoggana, n'ajja agwa mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Onjagaza ki ggwe Yezu Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ddala? Nkwegayiridde tombonyaabonya.”
29
Kubanga yali alagidde omwoyo omugwagwa guve mu musajja. Anti ebbanga lyali ddene bukya gumukwata; baamukuumiranga mu masamba ne mu njegere, naye ebyamusibanga ng'abikutula, omwoyo omubi ne gumutwala mu ddungu.
30
Yezu n'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” n'amugamba nti: “Ggye,” kubanga emyoyo emibi gyali gimuyingiddemu mingi.
31
Ne gimwegayirira aleme kugiragira kugenda mu nnyanga.
32
Eggana ly'embizzi ddene lyali lirya awo ku lusozi; ne gimusaba agireke giyingire omwo. N'agikkiriza.
33
Awo emyoyo emibi ne giva mu muntu, ne giyingira mu mbizzi; eggana lyonna ne lifubutuka, ne lyesolessa mu nnyanja okuva waggulu ku bbanga, ne lisaanawo.
34
Abaali bazirunda bwe baalaba ekyali kiguddewo, ne badduka, ne bagenda boogera mu kibuga ne mu byalo.
35
Bo ne bavaayo okulaba ekibaddewo; ne bajja eri Yezu, ne basanga omuntu emyoyo emibi gwe gyavaamu ng'atudde ku bigere bya Yezu, ayambadde era ng'ategeera bulungi; ne batya.
36
Abaali balabye ne babanyumiza eyali akwatiddwa emyoyo emibi nga bwe yali awonyezeddwa.
37
Ekibiina kyonna eky'ab'omu nsi ey'Abagerasa ekyetooloddewo ne kimwegayirira abaviire; kubanga entiisa yali ebakutte nnene. Awo kwe kusaabala mu lyato n'addayo.
38
Eyalimu emyoyo emibi n'amusaba amukkirize abeerenga naye; Yezu ye n'amusiibula, n'amugamba nti:
39
“Genda ewammwe, obuulire Katonda by'akukoledde.” N'agenda n'ayitaayita mu kibuga kyonna ng'alangirira obunene bw'ebyo Yezu bye yali amukoledde.
40
Awo Yezu n'akomawo, ekibiina ne kimwaniriza; kubanga bonna baali bamulinda.
41
Ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulu wa sinaagooga; n'agwa ku bigere bya Yezu, n'amwegayirira ayingire mu nnyumba ye,
42
Kubanga yali alina omwana we ow'obuwala omu yekka nga wa myaka kkumi n'ebiri, yali afa. N'agenda, naye ekibiina nga kimusindiikiriza.
43
Awo omukazi eyali alwadde endwadde eya ggerenge okumala emyaka kkumi n'ebiri ne watabaawo amuwonya,
44
n'afuluma emabega, n'akoma ku matanvuuwa g'ekyambalo kye, amangu ago okukulukuta kw'omusaayi ne kukoma.
45
Yezu n'agamba nti: “Ani oyo ankomyeko?” Bonna ne beegaana. Awo Petero n'agamba nti: “Muyigiriza, abantu bakwetoolodde, bakusindiikiriza.”
46
Yezu n'agamba nti: “Waliwo ankomyeko, kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvaamu.”
47
Omukazi bwe yalaba nga tasobola kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'avunnama ku bigere bye n'ayatula mu maaso g'abantu bonna ensonga eyamumukomezzaako, era nga bw'awonye amangu ago.
48
Awo Yezu n'amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”
49
Yali akyayogera, ne wabaawo ajja okuva ew'omukulu wa sinaagooga ng'agamba nti: “Muwala wo afudde; omuyigiriza toyongera kumuteganya.”
50
Yezu bwe yawulira ekigambo ekyo, n'amugamba nti: “Totya, kkiriza bukkiriza, ajja kuwona.”
51
Bwe yatuuka ku nnyumba, n'ataganya muntu mulala yenna kuyingira naye, okuggyako Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda wa Yakobo, ne kitaawe w'omuwala ne nnyina.
52
Bonna baali awo nga bakaaba, nga bamukubira ebiwoobe; naye ye n'agamba nti: “Muleke kukaaba; kubanga tafudde, yeebase bwebasi.”
53
Ne bamusekerera, kubanga baali bamanyi ng'afudde.
54
Awo n'akwata omukono gw'omuwala n'ayogerera waggulu, n'agamba nti: “Muwala, golokoka.”
55
Omwoyo gwe ne gumuddamu, amangu ago n'agolokoka. N'alagira okumuwa ekyokulya.
56
Bakadde be ne bawuniikirira; ye n'abakuutira obutabuulirako muntu kyali kibaddewo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24