bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 10
Luke 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
1
Oluvannyuma, Omukama n'alonda abalala nsanvu mu babiri, n'abatuma kinnababirye bamukulembere mu byalo byonna ne mu buli bifo gye yali agenda okutuuka.
2
N'abagamba nti: “Amakungula mangi, naye abakozi batono. Mwegayirire nno Omukama nnannyini makungula asindike abakozi mu makungula ge.
3
Mugende; nzuuno mbatumye kyenkana ng'obuliga mu misege wakati.
4
Temwambaliranga ndyanga wadde ensawo ya ssente, newandibadde musaasaane, ne mu kkubo temulamusanga muntu.
5
Buli nnyumba mwe muyingiranga, musookenga kugamba nti: ‘Emirembe gibeere ku nnyumba eno.’
6
Bwe munaabangamu omwana w'emirembe, emirembe gyammwe ginaamujjangako; bw'ataabengamu, emirembe gyammwe nga gibaddira.
7
Mubeeranga mu nyumba eyo nga mulya era nga munywa ku bye babawa, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temugezanga kuva mu nnyumba emu kudda mu ndala.
8
Bwe muyingiranga mu kibuga ne babaaniriza, mulyenga ku bye babaleetera;
9
muwonyanga abalwadde abalimu, ne mubagamba nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’
10
Naye bwe muyingiranga mu kibuga ne batabaaniriza, mugendanga mu mpya zaakyo,
11
ne mugamba nti: ‘N'enfuufu y'ekibuga kyammwe ekwatidde ku bigere byaffe, tugibakunkumulidde; kyokka mumanye ng'obwakabaka bwa Katonda busembedde.’
12
Ka mbabuulire, ekirituukirira Sodoma ku lunaku luli kiriba kigumiikirizika okusinga ekirituukirira ekibuga ekyo.
13
“Zikusanze, ggwe Korazini! Zikusanze, ggwe Betisayida! Kubanga ebikolwa eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byali bibadde mu Tiiro ne mu Sidoni, singa baabonerera dda mu bikutiya nga batudde mu vvu.
14
Ekirituukirira Tiiro ne Sidoni ku kulamulibwa, kiriba kigumiikirizika okusinga ekiribatuukirira.
15
Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumizibwa kutuuka ku ggulu? Ojja kussibwa okutuuka wansi mu magombe.
16
“Abawulira, ng'awulidde nze; abagaya, ng'agaye nze; ate buli angaya, aba agaye Oli eyantuma.”
17
Awo abayigirizwa ensanvu mu ababiri ne bakomawo nga basanyufu, nga bagamba nti: “Mukama, emyoyo emibi gituwulira mu linnya lyo.”
18
Ye n'abagamba nti: “Nalaba Sitaani ng'awanuka mu ggulu ng'enjota.
19
Mulabye, nabawa obuyinza obw'okulinnyirira emisota, n'enjaba, ne ku maanyi gonna ag'omulabe; tewali kintu na kimu kiribakolera bubi.
20
Naye muleme kusanyuka olwa kino nti emyoyo emibi gibawulira, wabula musanyuke kubanga amannya gammwe gaawandiikibwa mu ggulu.”
21
Mu kaseera ako, n'ajaguliza mu Mwoyo Mutuukirivu, n'agamba nti: “Taata, Omukama w'eggulu n'ensi, nkutendereza, kubanga ebyo wabikisa abagezi n'abategeevu n'obibikkulira abato. Weewaawo, Taata, bw'otyo bwe wasiima.
22
Byonna Taata yabinkwasa; tewali amanyi Mwana, wabula Taata, ne Taata tewali amumanyi, wabula Mwana, n'oyo Mwana gw'aba ayagadde okumumanyisaako.”
23
Awo n'akebukira abayigirizwa be n'abagamba bo bokka nti: “Amaaso agalaba mmwe bye mulaba galina omukisa;
24
Ka mbabuulire, abalanzi bangi ne bakabaka bangi beegomba okulaba mmwe bye mulaba ne batabiraba; okuwulira mmwe bye muwulira ne batabiwulira.”
25
Awo omuyigiriza w'amateeka omu n'asituka okumukema, n'agamba nti: “Muyigiriza, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”
26
Ye n'amugamba nti: “Mu mateeka baawandiikamu ki? Osomamu otya?”
27
Oli n'ayanukula nti: “Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amaanyi go gonna, n'emmeeme yo yonna; ne munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”
28
N'amugamba nti: “Oyanukudde bulungi. Kola bw'otyo oliba mulamu.”
29
Naye oli olw'okwagala okulaga nti yalina ensonga, n'agamba Yezu nti: “Munnange oyo ye ani?”
30
Awo Yezu okumwanukula n'agamba nti: “Omuntu omu yali ava e Yeruzaalemu ng'aserengeta e Yeriko, n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba, ne bagenda, ne bamuleka ng'aliko kateetera.
31
Mu butanwa ne wabaawo kabona naye eyali aserengeta mu kkubo eryo; n'amulaba, kyokka n'ayita buyisi.
32
Mu ngeri ye emu n'Omuleevi bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'amulaba, naye ne yeetambulira.
33
Naye Omusamariya eyali ku lugendo lwe, n'ajja we yali, bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa;
34
n'agenda w'ali n'amusiba ebiwundu ng'amaze okubifukamu omuzigo n'evviini, n'amussa ku nsolo ye, n'amutwala mu nnyumba y'abatambuze, n'amujjanjaba.
35
Ku lunaku olwaddako, n'atoola dinaari bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba, n'amugamba nti: ‘Mujjanjabe; ate kyonna ky'oliba osussizzaako, nze ndikikusasula amadda.’
36
Kale ku abo abasatu, ggwe ogamba ani eyali munne w'oli eyagwa mu batemu?”
37
Ye n'agamba nti: “Oli eyamukwatirwa ekisa.” Yezu n'agamba nti: “Genda naawe okolenga bw'otyo.”
38
Awo bwe baali batambula, n'ayingira mu kyalo ekimu; omukazi, gwe bayita Marita, n'amwaniriza mu nnyumba ye.
39
Yali alina muganda we, nga bamuyita Mariya, oyo yatuula kumpi n'ebigere by'Omukama ng'awulira ekigambo kye.
40
Marita yali yeetawula mu mirimo mingi egy'okuweereza; n'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Mukama, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Muŋŋambireko annyambe.”
41
Naye Omukama n'ayanukula nti: “Marita, Marita, weeraliikirira era otawaanyizibwa bingi. Naye ekitalekeka kiri kimu kyokka.
42
Mariya yeerobozezza ekitundu ekirungi, ekitagenda kumuggyibwako.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24