bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 23
Luke 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
1
Awo bonna ekibiina ne bayimuka, ne bamutwala eri Pilato.
2
Ne batandika okumulumiriza nga bagamba nti: “Oyo twamusanga ng'awabya eggwanga lyaffe, ng'aziyiza abantu okuwa Kayisari omusolo, era ng'agamba mbu ye ye Kristu Kabaka.”
3
Pilato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Ye n'addamu nti: “Oyogedde.”
4
Pilato n'agamba bakabona abakulu n'ekibiina nti: “Nze omuntu ono simusanzeemu musango na gumu.”
5
Naye bo ne bongera okukalambira nga bagamba nti: “Asasamaza abantu ng'ayigiriza mu Buyudaaya mwonna okuviira ddala e Galilaaya okutuuka kuno.”
6
Pilato bwe yawulira ekyo, n'abuuza oba omuntu oyo Mugalilaaya.
7
Bwe yamanya ng'atwalibwa Erode, n'amuweereza ewa Erode, naye eyali mu Yeruzaalemu mu nnaku ezo.
8
Erode bwe yalaba Yezu, n'asanyuka nnyo kubanga yali yeegomba dda okumulaba; kubanga yali amuwulirako, era yali yeesunga okulaba akabonero k'anaakola.
9
N'amukemereza okumala akabanga, ye n'atabaako ky'amwanukula.
10
Bakabona abakulu n'abawandiisi baali bayimiridde awo, nga bamulumiriza n'amaanyi.
11
Awo Erode n'amujolonga, n'amuduulira, ko n'abakungu be, n'amwambaza omunagiro amakula, n'amusindika addeyo ewa Pilato.
12
Ku olwo Erode ne Pilato ne bafuuka ba mukwano, sso mu kusooka baali bakyawaganye.
13
Awo Pilato n'akuŋŋaanya bakabona abakulu, abakulembeze n'abantu,
14
n'abagamba nti: “Mundeetedde omuntu ono nga mugamba nti awabya abantu; mmubuuzizza nga nammwe we muli, naye simusanzeemu musango na gumu ku egyo gye mumulumiriza;
15
era ne Erode naye kye kimu, kubanga naye amukomezzaawo gye tuli. Tewali kye yali akoze kimusaanyiza kufa.
16
Awo nno nzija kumukubamu, mmute.”
18
Ekibiina kyonna ne kireekaana nti: “Oyo muggyeewo; tuteere Barabba,”
19
__ oyo gwe baali batadde mu kkomera olw'akajagalalo akaali kagudde mu kibuga n'olw'obutemu.
20
Awo Pilato n'ayogera gye bali ogwokubiri ng'ayagala okuta Yezu.
21
Naye bo ne baleekaana nti: “Mukomerere, mukomerere ku musaalaba.”
22
N'abagamba ogwokusatu nti: “Ddala yakola kibi ki? Simulabamu musango na gumu gumussa. Awo nno nzija kumukubamu, mmute.”
23
Naye bo ne bakalambira nga basaba mu ddoboozi eddene akomererwe ku musaalaba; oluyoogaano lwabwe ne lweyongera.
24
Awo Pilato n'asalawo, kye baali basaba kikolebwe.
25
N'abateera omusajja eyali ateekeddwa mu kkomera olw'obujagalalo n'obutemu, gwe baali basaba; ye Yezu n'amuwaayo nga bwe baali baagala.
26
Bwe baali bamutwala, ne bakwata omusajja omu, Simoni ow'e Kureni, eyali ava mu nnimiro, ne bamutikka omusaalaba agutwale ng'agoberera Yezu.
27
Era ekibiina kinene eky'abantu ne kimugoberera, ko n'abakazi nga baaziirana n'okumukaabira.
28
Yezu n'akebuka gye bali, n'agamba nti: “Bawala ba Yeruzaalemu, muleke kunkaabira; naye mwekaabireko mwennyini ne ku lwa baana bammwe.
29
Kubanga ennaku zijja ze baligambiramu nti: ‘Ba mukisa abagumba, n'embuto ezitazaalangako, n'amabeere agatayonsanga!’
30
Balitandika okugamba ensozi nti: ‘Mutugwire,’ n'obusozi nti: ‘Mutubuutikire.’
31
Kubanga kale, oba omuti omubisi bagukola bati, leero alirabisa omukalu?”
32
N'abasajja abalala babiri ababbi baatwalibwa wamu naye okuttibwa.
33
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Akawanga, ne bamukomerera ku musaalaba, era n'ababbi, omu ku ddyo n'omulala ku kkono.
34
Yezu n'agamba nti: “Kitange, basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola.” Ne bagabanyaamu ebyambalo bye, ne babikubako akalulu.
35
Ekibiina kyali kiyimiridde nga kitunuulira. Abakulembeze ne bamusekerera nga bagamba nti: “Yawonyanga balala; kale naye yeewonye obanga ye Kristu wa Katonda, Omulonde we.”
36
N'abaserikale nabo ne bamuduulira; ne basembera, ne bamuweereza enkaatu
37
nga bagamba nti: “Obanga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weewonye!”
38
Ne waggulu we waaliwo ekiwandiiko nti: ONO YE KABAKA W'ABAYUDAAYA.
39
Omu ku babbi abo abaali bawanikiddwa n'amuvuma ng'agamba nti: “Si ggwe Kristu? Weewonye naffe otuwonye!”
40
Naye omulala n'ayogera, ng'akoma ku munne, ng'agamba nti: “Naawe Katonda tomutya, sso ng'oli mu kibonerezo kimu naye?
41
Ffe nno, era kale, kitusaanidde; anti tufunye ekigwanira ebikolwa byaffe; naye ono taliiko kabi ke yakola.”
42
Awo n'agamba Yezu nti: “Yezu, bw'otuuka mu bwakabaka bwo, onzijukira.”
43
N'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti olwa leero onooba nange mu kifo ky'okwesiima.”
44
Essawa yali nga ya mukaaga; enzikiza n'ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa eyoomwenda,
45
ng'enjuba esiikiriziddwa; olutimbe lw'omu Kiggwa ne luyulikamu wabiri.
46
Yezu n'akoowoola n'eddoboozi ddene, n'agamba nti: “Kitange, mu mikono gyo mwe ntadde omwoyo gwange.” Mu kwogera ebyo n'assa omukka omuvannyuma.
47
Senturiyo bwe yalaba ebibaddewo, n'agulumiza Katonda, n'agamba nti: “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.”
48
N'ekibiina kyonna eky'abantu abaali bakuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebyaliwo, ne baddayo nga bakuba ebifuba.
49
N'abamanyi be bonna n'abakazi abaali bamugoberedde okuva mu Galilaaya baali bayimiridde walako, baalaba ebintu bino.
50
Awo waaliwo omusajja erinnya lye Yozefu, omukiise mu Lukiiko, nga muntu mulungi, mutuukirivu.
51
Yali takkirizaganyizza nabo mu nteesa yaabwe ne mu bye baakola. Yali w'e Arimateya, ekibuga ky'omu Buyudaaya; naye yali alindirira obwakabaka bwa Katonda.
52
Omusajja ono n'agenda eri Pilato, n'amusaba omubiri gwa Yezu,
53
n'aguwanula, n'aguzinga mu ssuuka, n'agussa mu ntaana ensime mu lwazi, eyali teteekebwangamu muntu.
54
Lwe lwali Olunaku olw'Okuteekateeka, ne Sabbaato ng'etandise.
55
Abakazi abaali bavudde naye mu Galilaaya baali bagoberedde, nabo ne balaba entaana n'omubiri gwe nga bwe gwali guteekeddwamu.
56
Bwe baddayo, ne bateekateeka ebyakaloosa n'emizigo egy'obuwoowo. Ku Sabbaato lwonna ne bawummula ng'etteeka bwe liragira.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24