bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 7
Luke 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Bwe yamala enjigiriza ye yonna eri abantu, n'ayingira mu Kafarunawumu.
2
Kati eyo waaliyo Senturiyo eyalina omuddu we omu nga mulwadde ng'ajula kufa, sso nga yali muganzi gy'ali.
3
Bwe yawulira ebifa ku Yezu, n'atuma gy'ali abakadde b'Abayudaaya ng'amwegayirira ajje awonye omuddu we.
4
Bwe baatuuka awali Yezu ne banyiikira okumusaba, ne bamugamba nti: “Asaanye okukolerwa ekyo,
5
Kubanga ayagala eggwanga lyaffe, era yennyini yatuzimbira ne sinaagooga.”
6
Yezu n'agenda nabo; yali esigadde ebbanga ttono okutuuka ku nnyumba, Senturiyo n'amutumira banne, n'amugamba nti: “Ssebo, leka kweteganya, kubanga sisaanidde ggwe kuyingira mu nnyumba yange.
7
Kyennavudde ndowooza nti nange nzennyini sisaanidde kujja gy'oli; wabula yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona.
8
Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nnina n'abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba omu nti: ‘Genda,’ ng'agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ng'ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kino kikole,’ ng'akikola.”
9
Yezu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'akyukira ekibiina ekyali kimugoberera, n'abagamba nti: “Ka mbabuulire, newandibadde mu Yisirayeli, sinnasanga kukkiriza kwenkana wano.”
10
Abaali batumiddwa bwe baddayo eka, ne basanga ng'omuddu mulamu.
11
Awo oluvannyumako, n'agenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini, abayigirizwa be ne bagenda naye ko n'ekibiina kinene.
12
Naye bwe yali asemberera omulyango gw'ekibuga, ne wabaawo omufu gwe baali batwala, omutabani omu yekka owa nnyina, omukazi nnamwandu. Abantu ab'ekibuga bangi baali naye.
13
Omukama bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa, n'amugamba nti: “Leka kulira.”
14
N'asembera kumpi, n'akwata ku lunnyo; abaali beetisse ne bayimirira. N'agamba nti: “Mulenzi, nkugamba golokoka.”
15
Omufu, n'atuula, n'atandika okwogera. Ye n'amuddiza nnyina.
16
Entiisa n'ekwata bonna, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Mu ffe musituseemu omulanzi omukulu, Katonda alambudde eggwanga lye.”
17
Ekigambo ekyo ku ye ne kibuna mu Buyudaaya bwonna ne mu nsi yonna eriraanyeewo.
18
Abayigirizwa ba Yowanna ne bamunyumiza ebyo byonna.
19
Awo ye Yowanna n'ayita babiri ku bayigirizwa be n'abatuma eri Omukama, ng'agamba nti: “Ggwe wuuyo ow'okujja, nandiki tulindirireyo omulala?”
20
Abasajja bwe baatuuka gy'ali, ne bagamba nti: “Yowanna Batista atutumye gy'oli ng'agamba nti: ‘Ggwe wuuyo ow'okujja, nandiki tulindirireyo omulala?’ ”
21
Awo mu kaseera ako kennyini n'awonyezaamu bangi abaalina endwadde, obukosefu n'emyoyo emibi, n'abazibe b'amaaso bangi n'abawa okulaba,
22
n'ayanukula n'abagamba nti: “Muddeeyo mubuulire Yowanna bye mulabye ne bye muwulidde: Bamuzibe baddamu okulaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa, n'abaavu babuulirwa amawulire amalungi.
23
Yeesiimye oyo atanneesittalako.”
24
Yowanna be yatuma bwe baamala okugenda, n'asooka okwogera eri ekibiina ku Yowanna nti: “Mwagenda mu ddungu kulaba ki? Olumuli oluyuuyuzibwa empewo?
25
Kale mwagenda kulaba ki? Omuntu ayambadde eminagiro egitonnya? Mbadde ababa mu byambalo eby'omuwendo ne mu kwejalabya baba mu mbiri za bakabaka.
26
Awo nno mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Weewaawo! Ka mbabuulire, n'okusinga asinga omulanzi.
27
Ye wuuyo eyawandiikibwako nti: “ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, anaakutegekera ekkubo lyo mu maaso go.’
28
Mbagamba nti mu baali bazaaliddwa abakazi, mpaawo mulanzi akira Yowanna. Kyokka asinga obutene mu bwakabaka bwa Katonda amukira.”
29
Abantu bonna n'abasolooza b'omusolo bwe baawulira, ne batendereza Katonda kubanga baali baabatiziddwa mu batismu ya Yowanna.
30
Naye Abafarisaayo n'abakugu mu mateeka baagaana entegeka ya Katonda kubanga tebaamuganya kubabatiza.
31
“Kale, abantu b'ezzadde lino nnaabageranya ku ki? Bafaanana ki?
32
Bali ng'abaana abato abatudde mu mbuga, bano nga balaamiriza bannaabwe nti: “ ‘Twabafuuyira endere, naye temwazina; twabakubira ebiwoobe, naye temwakaaba.’
33
Kubanga Yowanna Batista yajja nga talya mmere wadde okunywa evviini, ne mugamba nti: ‘Alimu omwoyo omubi,’
34
Omwana w'Omuntu n'ajja ng'alya era ng'anywa, ne mugamba nti: ‘Mulabe, omuntu ono wa mulugube, mutamiivu, mukwano gwa basolooza b'omusolo n'aboonoonyi.’
35
Naye amagezi abaana baago bonna be bagejjeereza.”
36
Awo omu mu Bafarisaayo n'ayita Yezu okulya ewuwe. Ye n'ayingira mu nnyumba y'Omufarisaayo n'atuula okulya.
37
Awo omukazi omwonoonyi ow'omu kibuga ekyo, bwe yawulira ng'atudde mu nnyumba y'Omufarisaayo, n'aleeta akasumbi k'alabasiteri akalimu omuzigo ogw'akawoowo,
38
n'ayimirira emabega we kumpi n'ebigere bye ng'akaaba, n'atandika okutobya ebigere bye n'amaziga ge, n'abisiimuuza enviiri ez'omutwe gwe, n'anywegera ebigere bye, n'abisiiga n'omuzigo.
39
Naye Omufarisaayo eyamuyita, bwe yalaba, n'alowooza munda ye nti: “Singa ono abadde mulanzi, ggwe wamma yanditegedde ani era mukazi wa ngeri ki oyo amukwatako, kubanga mwonoonyi.”
40
Awo Yezu n'amuddamu nti: “Simoni, nnina kye nkugamba.” Ye n'agamba nti: “Muyigiriza, yogera.”
41
“Omuwozi omu yalina b'abanja babiri, omu yali abanjibwa dinaari ebikumi bitaano, n'omulala amakumi ataano.
42
Bwe baalemwa okusasula, bombi n'abasonyiwa. Kale ani anaasinga okumwagala?”
43
Simoni n'addamu nti: “Ndowooza ng'oli gwe yasonyiwa ezisinga.” Yezu n'amugamba nti: “Osaze bulungi.”
44
Awo n'akyukira omukazi, n'agamba Simoni nti: “Omukazi ono omulaba? Kale bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba bigere; sso ng'oyo atobezza ebigere byange n'amaziga ge, n'abisiimuula n'enviiri ze.
45
Era tewannywegedde; sso nga kaayingirira wano oyo tannata kunywegera bigere byange.
46
Tewansiize muzigo mu mutwe; sso ng'oyo ansiize ebigere omuzigo.
47
Olw'ekyo, ka mbabuulire, asonyiyiddwa ebibi bye ebingi, kubanga alina okwagala kungi. Asonyiyibwa ebitono aba n'okwagala kutono.”
48
Awo n'agamba omukazi, nti: “Ebibi bikusonyiyiddwa.”
49
Abaali batudde naye okulya ne batandika okulowooza mu myoyo gyabwe nti: “Ono ani asonyiwa n'ebibi?”
50
Ye n'agamba omukazi nti: “Okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24