bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 9
Luke 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
1
Awo n'ayita Ekkumi n'Ababiri wamu n'abawa amaanyi n'obuyinza ku myoyo emibi gyonna era n'okuwonya endwadde.
2
N'abatuma okuyigiriza obwakabaka bwa Katonda n'okuwonya.
3
N'abagamba nti: “Temutwalanga kantu mu lugendo, newandibadde omuggo, newandibadde ensawo, newandibadde omugaati, newandibadde ffeeza, era temubeeranga na kkanzu bbiri.
4
Buli nnyumba gye muyingiramu, mubeeranga omwo era wo we muvanga.
5
Yonna gye bagaananga okubaaniriza, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe ng'obujulizi obubalumiriza.”
6
Bo ne bagenda, ne bayitaayita mu bibuga nga bayigiriza Evangili n'okuwonya buli wantu.
7
Awo Erode omufuzi atwala ekitundu n'awulira byonna ebyakolebwa, n'asoberwa, kubanga abamu baagambanga nti Yowanna Batista azuukidde mu bafu;
8
n'abalala nti Eliya alabise, ate abandi nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde.
9
Erode n'agamba nti: “Yowanna nze namutemako omutwe; ate oyo gwe mpulirako ebyenkana awo ye ani?” N'ayagala okumulaba.
10
Awo abatume ne badda, ne bamunyumiza byonna bye baakola. Ye n'abatwala, n'ava awo nagenda ebbaliko yekka mu kibuga ekiyitibwa Betisayida.
11
Naye abantu bwe baamanya, ne bamugoberera; n'abasanyukira, era n'ababuulira ku bwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya.
12
Obudde bwe bwagenda buziba, Ekkumi n'Ababiri ne bamusemberera ne bagamba nti: “Abantu basiibule, bagende mu bibuga ne mu byalo ebyetoolodde basule eyo, bafune ne kye banaalya, kubanga wano we tuli kifo kyesudde.”
13
Ye n'abagamba nti: “Mmwe mubawe kye banaalya.” Bo ne bamugamba nti: “Tetulina kirala, okuggyako emigaati etaano gyokka n'ebyennyanja bibiri; mpozzi tugende tugulire abantu bano bonna emmere.”
14
Kubanga abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. N'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze ebibinja nga by'amakumi ataano kinna kimu.”
15
Ne bakola batyo; ne babatuuza bonna.
16
Awo n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, n'abimenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be babigabire abantu.
17
Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebyalema, ebisero kkumi na bibiri eby'obutundutundu.
18
Olwatuuka, yali ali yekka nga yeegayirira, n'abayigirizwa be nga bali naye, n'ababuuza nti: “Abantu bagamba nze ani?”
19
Bo ne bayanukula ne bagamba nti: “Yowanna Batista, naye abalala nti Eliya, n'abandi nti omulanzi omu ku b'edda azuukidde.”
20
Awo n'abagamba nti: “Naye nga mmwe mugamba nze ani?” Petero n'ayanukula nti: “Kristu wa Katonda.”
21
Naye ye n'abakuutira, n'abalagira ekyo obutakibuulirako muntu.
22
N'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu yalina okubonyaabonyezebwa ebingi n'okwegaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi n'okuttibwa, n'okuzuukizibwa ku lunaku olwokusatu.”
23
Awo bonna n'abagamba nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe buli lukya, angoberere.
24
Kubanga buli alyagala okuwonya obulamu bwe, alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe okubeera nze, oyo alibuwonya.
25
Kale omuntu kimugasa ki okulya ensi yonna, sso ye n'azaawa oba n'afiirwa?
26
Kubanga buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, oyo Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijja mu kitiibwa kye n'ekya Taata n'ekya bamalayika abatuukirivu.
27
Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye obwakabaka bwa Katonda.”
28
Oluvannyuma lw'ebigambo bino nga wayise ennaku nga munaana, n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna, n'alinnya nabo ku lusozi okwegayirira.
29
Bwe yali yeegayirira, enfaanana y'amaaso ge n'efuuka, ebyambalo bye ne byeruka, ne bimasamasa.
30
Awo ne walabikawo abasajja babiri nga boogera naye; baali Musa ne Eliya;
31
baalabikira mu kitiibwa; baali boogera ku kugenda kwe kwe yali agenda okutuukiriza mu Yeruzaalemu.
32
Petero n'abaali naye otulo twali tubali bubi, naye baasigala batunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abasajja bali ababiri abaali bayimiridde naye.
33
Awo bali bwe baali bava w'ali, Petero n'agamba Yezu nti: “Muyigiriza, kirungi ffe okubeera wano; ka tukole wano ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'ayogera.
34
Yali akyayogera ebyo, ekire ne kijja, ne kibabuutikira; ne batya nga balaba bayingirira ekire.
35
Awo eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange, Omulondemu wange, mumuwulirenga.”
36
Eddoboozi lyagenda okusirika, nga Yezu yekka y'aliwo. Bo ne basirika; mu nnaku ezo ebyo bye baalaba ne wataba gwe baabibuulirako.
37
Ku lunaku olwaddako, bwe baali baserengeta olusozi, ekibiina kinene ne kibasisinkana.
38
Omusajja n'aleekaana okuva mu kibiina ng'agamba nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, tunuulira mutabani wange; ono ye muzaale yekka gwe nnina.
39
Omwoyo gumukwata, amangu ago n'awowoggana; ne gumusambagaza, n'abimba ejjovu; gumuta na buwaze, ate gumumenyaamenya.
40
Neegayiridde abayigirizwa bo bagugobe, ne batasobola.”
41
Awo Yezu n'ayanukula, n'agamba nti: “Owa ezzadde lino eritakkiriza, eryonoonefu! Ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? Kale mutabani wo muleete wano.”
42
Bwe yali asembera, omwoyo omubi ne gumutaagulataagula ne gumusambagaza. Naye Yezu n'akabukira omwoyo omugwagwa, omulenzi n'amuwonya, n'amuddiza kitaawe.
43
Abantu bonna ne beewuunya obukulu bwa Katonda. Bonna baali bakyewuunya byonna by'akola,
44
n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebigambo bino biyingire mu matu gaamwe: kubanga Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu.”
45
Bo ne batategeera kigambo ekyo; kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera; ate baali batya okumubuuza ku kigambo ekyo.
46
Awo enkaayana ne zisituka mu bo ku ani asinga obukulu mu bo.
47
Yezu bwe yalaba ebirowoozo ebyali mu mitima gyabwe, n'akwata omwana omuto, n'amuyimiriza ku lusegere lwe,
48
n'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana omuto ono, mu linnya lyange, aba ayanirizza nze; na buli annyaniriza, aba ayanirizza oli eyantuma. Kubanga asinga obutene mu mmwe mwenna, y'asinga obukulu.”
49
Yowanna n'ayanukula nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi mu linnya lyo, ne tumuziyiza; kubanga yali tayita naffe.”
50
Naye Yezu n'amugamba nti: “Muleke kumuziyiza; kubanga oyo atatuwakanya, aba ku ludda lwammwe.”
51
Olwatuuka, ennaku ez'okulinnyisibwa kwe bwe zaali ziri kumpi, amaaso ge n'agasimbira ddala ku kulaga e Yeruzaalemu. N'asindika ababaka bamukulemberemu.
52
Ne bagenda, ne bayingira mu kyalo ky'Abasamariya bamutegekere.
53
Naye abantu ne batamwaniriza kubanga amaaso ge yali agasimbye ku kulaga Yeruzaalemu.
54
Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanna, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?”
55
Naye ye n'akyuka n'abakomako.
56
Ne bagenda mu kibuga ekirala.
57
Bwe baali batambula mu kkubo, ne wajjawo amugamba nti: “Nzija kukugobereranga yonna gy'onoogendanga.”
58
Yezu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya n'ebinyonyi eby'omu bbanga birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'awunzika mutwe.”
59
Ate n'agamba omulala nti: “Ngoberera.” Naye ye n'agamba nti: “Mukama, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.”
60
N'amugamba nti: “Leka abafu baziike abafu baabwe; ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.”
61
Omulala n'agamba nti: “Ssebo, nzija kukugoberera; kyokka, nzikiriza ŋŋende nsiibule ab'eka.”
62
Yezu n'amugamba nti: “Mpaawo oyo akwata ku nkumbi erima n'akebuka mabega asaanidde bwakabaka bwa Katonda.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24