bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 22
Luke 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Awo embaga enkulu Ey'Emigaati Egitazimbulukuse, eyitibwa Pasika, n'esembera.
2
Bakabona abakulu n'abawandiisi baali banoonya engeri gye banaamuzikiriza; kubanga baali batya ekibiina.
3
Awo Sitaani n'ayingira mu Yuda, ayitibwa Yisikariyoti, omu ku Kkumi n'Ababiri,
4
n'agenda n'ateesa ne bakabona abakulu n'abaserikale engeri gy'anaamuwaayo gye bali.
5
Ne basanyuka, ne bakkaanya naye okumuwa ensimbi.
6
N'akkiriza; n'anyoonya akakisa okumuwayo gye bali ekibiina nga tekiriiwo.
7
Awo olunaku olw'Emigaati Egitazimbulukuse ne lutuuka, akaliga ka Pasika lwe kattirwako.
8
N'atuma Petero ne Yowanna, n'abagamba nti: “Mugende mututegekere Pasika, tugirye.”
9
Bo ne bamugamba nti: “Oyagala tugitegekere wa?”
10
N'abagamba nti: “Bwe munaaba muyingira mu kibuga, omusajja eyeetisse ensumbi y'amazzi ajja kubasisinkana; mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira;
11
mugambe nnannyinimu nti: ‘Omuyigiriza akugambye nti: Eddiiro liri wa mwe nnaaliira Pasika wamu n'abayigirizwa bange?’
12
Ye ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu ekyaliiriddwa; omwo mwe muba muteekateeka.”
13
Ne bagenda; ne basanga nga bwe yali abagambye; ne bateekateeka Pasika.
14
Essaawa bwe yatuuka, n'atuula ku mmeeza, n'Abatume nga bali naye.
15
N'abagamba nti: “Neegombanga nnyo okulya Pasika eno wamu nammwe nga sinnaba kubonaabona;
16
kuba, ka mbabuulire, okuva kati sigenda kuddayo kugirya okutuusa lw'erituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.”
17
Awo n'akwata ekikompe, bwe yamala okwebaza n'agamba nti: “Mukwate, mugabane;
18
kubanga, ka mbabuulire, n'okuva kati, siriddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.”
19
Awo n'akwata omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agubawa ng'agamba nti: “Kino mubiri gwange ogunaweebwayo ku lwammwe. Kino mukikolanga okunzijukira.”
20
Bwe yakola ne ku kikompe ekyeggulo nga kiwedde, n'agamba nti: “Ekikompe kino eky'okuyiwa ku lwammwe, ye ndagaano empya mu musaayi gwange.”
21
“Kyokka omukono gw'oyo agenda okundyamu olukwe, guuguno guli nange ku lujjuliro.
22
Weewaawo Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyateesebwa; kyokka zimusanze oyo anaamuwaayo!”
23
Bo ne batandika okwebuuzaganya ani ku bo anaakola ekyo.
24
Awo ne wasituka empaka mu bo ku ani ku bo eyandibaliddwa ng'asinga obukulu.
25
N'abagamba nti: “Bakabaka b'ab'amawanga babafuga, n'ababaliko obuyinza bayitibwa balyoyi,
26
naye mu mmwe si bwe kityo bwe kiri; wabula asinga obukulu mu mmwe abeere ng'asinga obuto, n'akulembera abeere ng'omuweereza.
27
Kale asinga obukulu ye aluwa, atudde ku mmeeza, n'andiki aweereza? Si oyo atudde ku mmeeza? Naye nze mbalimu kyenkana ng'omuweereza.
28
“Mmwe muumwo abagumye nange mu bizibu byange,
29
nange mbategekera obwakabaka nga Kitange bwe yabuntegekera,
30
mulyoke mulye, munywe ku lujjuliro lwange mu bwakabaka bwange, era mutuule ku ntebe ku nnamulondo nga mulamula ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
31
“Simoni, Simoni, laba Sitaani yabasaba okubawewa ng'eŋŋano;
32
naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme kugooka; naawe bw'onooba okomyewo, onywezanga baganda bo.”
33
Ye n'amugamba nti: “Mukama, neetegese okugenda naawe ne mu kkomera ne mu kufa.”
34
Ye n'amugamba nti: “Petero, ka nkubuulire, olwa leero enkoko eneeba tennakookolima, onooba omaze okwegaana emirundi esatu nga bw'otommanyi.”
35
Bonna awamu n'abagamba nti: “Bwe nabatuma nga temulina nsawo, yadde endyanga newandibadde musaasaane, waliwo kye mwajula?” Ne bagamba nti: “Tewali.”
36
N'abagamba nti: “Naye kaakano alina ensawo agikwate, kye kimu n'endyanga; ate atalina kitala atunde omunagiro gwe yeegulire ekitala.
37
Kubanga ka mbabuulire, kino ekyawandiikibwa tekirema kutuukirira ku nze nti: ‘Yabalirwa mu bajeemu,’ kubanga ebyanjogerwako bituuse okukomekkerezebwa.”
38
Bo ne bamugamba nti: “Mukama, laba wano waliwo ebitala bibiri.” Ye n'abagamba nti: “Kimala.”
39
Awo n'afuluma n'agenda ku Lusozi lw'Oliva ng'empisa ye bwe yali; abayigirizwa nabo ne bamugoberera.
40
Bwe yatuuka mu kifo, n'abagamba nti: “Mwegayirire, muleme kutwalibwa mu kukemebwa.”
41
Ye n'abaawukanako katono, ebbanga nga lya lukasuka lwa jjinja, n'afukamira ne yeegayirira, n'agamba nti:
42
“Taata, obanga oyagala, ekikompe kino kinzigyeko; naye era si nze kye njagala, wabula ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa.”
43
Awo malayika w'Omukama n'amulabikira ng'ava mu ggulu, n'amugumya.
44
Bwe yakabirirwa, ne yeegayirira na nnyo okusingawo; entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi agatonnya ku ttaka.
45
Awo n'asituka okuva mu kwegayirira, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'ennaku;
46
n'abagamba nti: “Mwebaka ki? Musituke, mwegayirire, muleme kutwalibwa mu kukemebwa.”
47
Yali akyayogera, ekibiina ne kijja n'oli omu ku Kkumi n'Ababiri ayitibwa Yuda, ng'abakulembeddemu, n'asemberera Yezu amunywegere.
48
Naye Yezu n'amugamba nti: “Yuda, Omwana w'Omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?”
49
Awo abagoberezi be bwe baategeera ebigenda okubaawo, ne bamugamba nti: “Mukama, tubateme n'ebitala?”
50
Munnaabwe omu n'atema omuddu wa kabona omukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo.
51
Naye Yezu n'addamu nti: “Temuddira.” N'akwata okutu kw'oli n'akuwonya.
52
Awo Yezu n'agamba bakabona abakulu n'abakuumi b'Ekiggwa, abaali bavuddeyo okumukwata nti: “Muvuddeyo n'ebitala n'emiggo okunkwata ng'abajjirira omunyazi?
53
Buli lunaku nabanga nammwe mu Kiggwa, temwangololera mikono gyammwe kunkwata; kale kino kye kiseera kyammwe n'obuyinza bw'enzikiza.”
54
Awo ne bamukwata, ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona omukulu. Petero n'agoberera ng'ayima walako.
55
Bwe baamala okukuma omuliro mu luggya wakati, ne batuula nga bagwetoolodde, ne Petero n'atuula mu bo.
56
Omuzaana omu n'amulaba bwe yali atudde mu kitangaala, n'amwekaliriza, n'agamba nti: “N'ono yabadde naye,”
57
naye ye ne yeegaana, n'agamba nti: “Mukazi, oyo simumanyi.”
58
Ate nga wayiseewo akabanga katono, omuntu omulala n'amulaba, n'agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Petero n'agamba nti: “Musajja wattu, siri.”
59
Ekiseera ne kiyitawo nga kya ssaawa emu, omulala era n'alumiriza nti: “Kya mazima n'ono abadde naye, anti Mugalilaaya.”
60
Petero n'agamba nti: “Musajja wattu, simanyi ky'ogamba.” Amangu ago, yali akyayogera, enkoko n'ekookolima.
61
Awo Omukama n'akyuka n'atunuulira Petero. Petero n'ajjukira ekigambo Omukama kye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima olwa leero, onooba onneegaanye emirundi esatu.”
62
Petero n'afuluma ebweru, n'akaaba n'okunyolwa kungi.
63
Abasajja abaali bamukutte ne bamuduulira, ne bamukuba;
64
ne bamusiba kantuntunu, ne bamubuuza nti: “Lagula! Ani akukubye?”
65
Ne bamwogerera n'ebirala bingi nga bamuvuma.
66
Obudde bwe bwakya, abakadde n'abantu bonna wamu ne bakuŋŋaana, wamu ne bakabona abakulu n'abawandiisi; ne bamutwala mu Lukiiko lwabwe,
67
nga bagamba nti: “Oba ggwe Kristu, tubuulire.” Ye n'abagamba nti: “Ne bwe nnaabagamba, temujja kunzikiriza;
68
bwe nnaababuuza, temujja kunnyanukula.
69
Kyokka n'okuva kati Omwana w'Omuntu ajja kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'obuyinza bwa Katonda.”
70
Bonna ne bagamba nti: “Awo nno ggwe Mwana wa Katonda?” N'abagamba nti: “Mmwe mugamba nti ye nze.”
71
Ne bagamba nti: “Tukyetaagira ki obujulizi? Anti ffe ffennyini twewuliridde ekivudde mu kamwa ke.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24