bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 19
Luke 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
1
Awo Yezu n'ayingira mu Yeriko, n'akiyitamu.
2
Kati nno waaliwo omusajja, erinnya lye Zakkayo, omukulu w'abasolooza b'omusolo, yali mugagga,
3
n'ayagala okulaba Yezu ye ani; naye n'atasobola olw'okubeera ekibiina, kubanga yali mumpi.
4
N'adduka, n'amwesooka mu maaso, n'alinnya mu muti gw'omukunyu asobole okumulaba; kubanga yali wa kukwata eryo.
5
Yezu bwe yatuukawo, n'atunula waggulu, n'amugamba nti: “Zakkayo, kka mangu, kubanga olwa leero ndi wa kusigala mu nnyumba yo.
6
N'akka mangu, n'amwaniriza n'essanyu.”
7
Bwe baalaba, bonna ne beemulugunya nga bagamba nti: “Akyadde ew'omwonoonyi.”
8
Awo Zakkayo n'ayimirira, n'agamba Omukama nti: “Laba, Mukama, ekyokubiri eky'ebintu byange nkigabira abaavu; ate obanga waliwo gwe nalyazaamaanya ekintu, mmuddizaawo emirundi ena.”
9
Yezu n'amugamba nti: “Olwa leero obulokofu butuukiridde ennyumba eno, anti n'ono naye mwana wa Yiburayimu.
10
Kubanga Omwana w'Omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyali kibuze.”
11
Baali bakyawuliriza ebyo, Yezu n'abagerera olugero, kubanga yali ayambuka e Yeruzaalemu, na bonna nga balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bwali buli kumpi okulabika.
12
Awo kwe kubagamba nti: “Omusajja omu omukungu yagenda mu nsi ey'ewala alye obwakabaka ate akomewo.
13
N'ayita abaweereza be, n'abawa mina kkumi, n'abagamba nti: ‘Muzisuubuze okutuusa lwe ndidda.’
14
Kyokka abantu be, bannansi, baali bamukyaye; ne bamugobereza ababaka nga bagamba nti: ‘Oyo tetwagala atufuge.’
15
“Bwe yadda ng'amaze okufuna obwakabaka, n'alagira okumuyitira abaweereza be yawa ensimbi ze, ategeere amagoba ge baggya mu kuzisuubuza.
16
Omubereberye n'ajja, n'agamba nti: ‘Ssebo mina yo yavaamu mina kkumi.’
17
N'amugamba nti: ‘Weebale, omuweereza omulungi; kubanga wabeera mwesigwa mu bitono, onoofuga ebibuga kkumi.’
18
N'owookubiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Ssebo, mina yo yazaala mina ttaano.’
19
N'oyo n'amugamba nti: ‘Naawe onoofuga ebibuga bitaano.’
20
N'omulala n'ajja n'agamba nti: ‘Ssebo, mina yo gye wampa yiiyo; nagitereka eyo mu kiwero,
21
Kubanga nakutya, kubanga oli muntu wa lukaali; oyanula ky'otaayanika, okungula ky'otaasiga.’
22
N'amugamba nti: ‘Muweereza ggwe omubi, by'ogambye kwe nnaayima okukusalira omusango. Wali omanyi bwe ndi ow'olukaali, nga nnyanula kye saayanika, nga nkungula kye saasiga;
23
Lwaki tewassa nsimbi zange mu bawaanyisa baazo? Bwe nandikomyewo, nandizikuŋŋaanyizza wamu n'amagoba gaakwo.’
24
N'agamba abaali awo nti: ‘Mina mugimuggyeeko, mugiwe oli alina mina ekkumi.’
25
Ne bamugamba nti: ‘Ssebo, alina ekkumi!’
26
Ka mbabuulire, buli alina aliweebwa; naye atalina, ne ky'alina kirimuggyibwako.
27
Bo nno bano abalabe bange, abaali batayagala mbafuge, mubaleete wano, mubatte nga ndaba.”
28
Bwe yasirissa ebyo, n'abakulemberamu ng'ayambuka e Yeruzaalemu.
29
Bwe baasemberera Betifage ne Betaniya, kumpi n'olusozi oluyitibwa olw'Oliva, n'atuma babiri ku bayigirizwa be,
30
n'agamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso; nga mwakayingira, mujja kusanga akalogoyi akasibiddwa, akateebagalwangako muntu n'omu; mukayimbule, mukaleete.
31
Bwe wabaawo ababuuza nti: ‘Mukayimbulira ki?’ muddamu nti: ‘Omukama akeetaaga.’ ”
32
Abaatumibwa ne bagenda, ne basanga ng'ebintu biri nga bwe yali abagambye.
33
Bwe baali basumulula akalogoyi, bannyiniko ne babagamba nti: “Lwaki musumulula akalogoyi?”
34
Bo ne bagamba nti: “Omukama akeetaaga.”
35
Awo ne bakaleeta eri Yezu. Ne basuula ebyambalo byabwe ku kalogoyi, ne beebagazaako Yezu.
36
Yali agenda, ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo.
37
Bwe yali asembera, ku kaserengeto k'Olusozi lw'Oliva, ekibiina ky'abayigirizwa kyonna ne kitandika okutendereza Katonda n'eddoboozi eddene nga bwe basanyuka olw'okubeera ebikolwa eby'amaanyi byonna bye baali balabye;
38
ne bagamba nti: “Agulumizibwe oyo Kabaka, oyo ajja mu linnya ly'Omukama; emirembe mu ggulu, n'ekitiibwa waggulu ddala eyo.”
39
Abafarisaayo abamu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti: “Muyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.”
40
N'abaddamu nti: “Ka mbabuulire, singa bano basirika, amayinja gennyini gajja kuleekaana.”
41
Bwe yasembera, n'alaba ekibuga, n'akikaabira,
42
n'agamba nti: “Singa nno otegeera yadde ku lwa leero luno ebiyinza okuleeta emirembe!
43
Naye kaakano bikisiddwa amaaso go, kubanga ennaku zigenda kukujjira, n'abalabe bo lwe balikwetoolooza embibiro, ne bakutaayiza, ne bakunyigiriza ku njuyi zonna,
44
era ne bakuwuula ku ttaka ko n'abaana bo abakulimu; tebalireka ku ggwe jjinja ku linnaalyo, kubanga tewamanya budde bwe walambulirwamu.”
45
Bwe yayingira mu Kiggwa, n'atandika okugobamu abatunda;
46
n'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kwegayiririramu;’ sso mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
47
Era yabeeranga bulijjo mu Kiggwa. Bakabona abakulu, abawandiisi n'abakulu b'abantu ne banyoonya amagezi ag'okumuzikiriza;
48
ne babulwa kye banaakola, kubanga abantu bonna baali banyweredde ku bigambo bye.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24