bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 6
Luke 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
1
Awo olumu ku Sabbaato bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋano, abayigirizwa be ne bagenda nga banuula ebirimba by'eŋŋano, ne babikunya mu ngalo, ne balya.
2
Abafarisaayo abamu ne babagamba nti: “Lwaki mukola ekitakkirizibwa kukola ku Sabbaato?”
3
Yezu n'abaanukula nti: “Temusomanga Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala, ye n'abaali naye:
4
nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'atoola Emigaati gy'Okwolesebwa, n'alya, n'awaako n'abo abaali naye, egyali gizira okuliibwa omuntu omulala yenna, wabula bakabona bokka?”
5
Era n'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu ye mukama wa Sabbaato.”
6
Ate ku Sabbaato endala, n'ayingira mu sinaagooga, n'ayigiriza. Omwo mwalimu omuntu omukono gwe ogwa ddyo nga mukalu.
7
Abawandiisi n'Abafarisaayo ne bamwekaliriza balabe oba anaamuwonya ku Sabbaato, bafune ensonga okumuwaawabira.
8
Yezu n'amanya ebirowoozo byabwe, n'agamba oli eyalina omukono omukalu nti: “Situka oyimirire wakati.” N'asituka n'ayimirira.
9
Yezu n'abagamba nti: “Mbuuza, ku Sabbaato kisaanye kukolera bubi oba kukolera bulungi? Kuwonya bulamu oba kubuzikiriza?”
10
N'abeebunguluza amaaso bonna, n'agamba oli nti: “Golola omukono gwo.” N'akikola, omukono gwe ne guddirawo ddala.
11
Bo bali ne bajjula empiiga, ne beebuuzaganya kye banaakola Yezu.
12
Mu nnaku ezo, n'alaga ku lusozi okwegayirira, n'akeesa obudde ng'ali mu kwegayirira Katonda.
13
Bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be, n'alondamu kkumi na babiri, be yayita Abatume:
14
Simoni gwe yatuuma Petero, ne Andureya muganda we; Yakobo ne Yowanna, Filippo ne Barutolomaawo,
15
Matayo ne Toma, Yakobo mutabani wa Alufayo ne Simoni ayitibwa Omutakabanyi;
16
ne Yuda owa Yakobo, ne Yuda Yisikariyoti eyamulyamu olukwe.
17
N'aserengeta nabo, n'ayimirira ku museetwe, wamu n'ekibiina kinene eky'abayigirizwa be, n'abantu abalala nkumu abaava mu Buyudaaya yonna n'e Yeruzaalemu, ne ku lubalama lw'ennyanja y'e Tiiro ne Sidoni, abaali bazze okumuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe.
18
Abajeezebwajeezebwa emyoyo emigwagwa ne bawonyezebwa.
19
Ekibiina kyonna kyafubanga okumukwatako, kubanga amaanyi gaamuvangamu ne gawonya bonna.
20
Awo n'asitulira amaaso ge eri abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Mwesiimye, mmwe abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
21
“Mwesiimye, mmwe abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkuta. “Mwesiimye, mmwe abakaaba kaakano, kubanga muliseka.
22
“Mwesiimye, bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga, bwe banaasambajjanga erinnya lyammwe nga baliyita ebbi olw'okubeera Omwana w'Omuntu.
23
Musanyukanga ku lunaku olwo ne mwebuukiza olw'essanyu, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene; anti bajjajjaabwe bwe batyo bwe baakola abalanzi.
24
“Kyokka zibasanze, mmwe abagagga, kubanga mmwe mufunye ekikubagizo kyammwe kyonna.
25
“Zibasanze, mmwe abakkufu kaakano, kubanga mulirumwa enjala. “Zibasanze, mmwe abaseka kaakano, kubanga muliwooba, mulikaaba.
26
“Zibasanze, abantu bonna bwe banaaboogerangako obulungi, kubanga bajjajjaabwe bwe baakolanga batyo abalanzi ab'obulimba.
27
“Naye nze mbagamba mmwe abawuliriza: Mwagalenga abalabe bammwe; mukolerenga bulungi ababakyaye.
28
Mwagalizenga bulungi ababavumirira; musabirenga ababavuma.
29
Oli akukubanga ku ttama erimu, mukyusize n'eddala; n'oli atwalanga omunagiro gwo, mulekere n'ekkanzu.
30
Buli akusabanga, omuwanga; n'oli akututteko ebibyo, tobimusabanga.
31
Nga bwe mwagalanga abantu babakolere, nammwe bwe mubanga mubakolera.
32
Obanga mwagala babaagala, ekinaabasiimisa kiruwa? Anti n'aboonoonyi baagala ababaagala.
33
Obanga mukolera bulungi ababakolera obulungi, ekinaabasiimisa kiruwa! Kubanga n'aboonoonyi bwe bakola batyo.
34
Obanga muwola abo bokka be musuubira okufunako, ekinaabasiimisa kiruwa! Kubanga n'aboonoonyi nabo bawola boonoonyi bannaabwe, balyoke baddizibwe kyenkana.
35
Naye mmwe mwagalenga ababakyaye; mukolerenga bulungi; muwolenga nga temulina kye musuubirayo, olwo empeera yammwe eriba nnene; mulibeera baana b'Oli Ali Waggulu Ddala, kubanga agirira ekisa entasiima n'ababi.
36
Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw'ali ow'ekisa.
37
“Temulamulanga, nammwe lwe mutaliramulibwa. Temusaliranga bantu misango, nammwe lwe gitalibasalirwa kubasinga. Musonyiwenga, nammwe lwe munaasonyiyibwanga.
38
Mugabenga, nammwe lwe muligabirwa; ekipimo ekituufu, ekikkaatiriziddwa, ne kisuukundwa, ne kibooga, balikibayiwa mu kikondoolo. Kubanga ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.”
39
Era n'abagerera olugero nti: “Kale, muzibe ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebagwa mu bunnya?
40
Omuyigirizwa takira muyigiriza; wabula buli aba ayigiriziddwa obulungi afaanana n'omuyigiriza we.
41
Lwaki olaba akasubi akali mu liiso lya muganda wo, ggwe n'otolaba kisiki kiri mu liryo?
42
Oba kale, ogamba otya muganda wo nti: ‘Muganda wange, ka nkuggye akasubi mu liiso lyo,’ sso nga tolaba kisiki kiri mu liiso lyo? Mukuusa ggwe, sooka weggye ekisiki mu liiso lyo, awo lw'onoolaba obulungi, n'oggya akasubi mu liiso lya muganda wo.
43
“Anti tewali muti mulungi gubala bibala bibi; oba omuti omubi ogubala ebibala ebirungi.
44
Buli muti nno gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga entontogolo z'omukunyu tezinogebwa ku maggwa; n'emizabbibu teginogebwa ku kirobo.
45
Omuntu omulungi ku birungi by'aterese mu mutima gwe kw'aggya ebirungi; n'omuntu omubi ku bibi by'aterese kw'aggya ebibi; anti ku bijjudde mu mutima akamwa ke kwe kaggya bye koogera.
46
“Lwaki mumpita Mukama, Mukama, sso ga temukola bye ŋŋamba?
47
Buli ajja gye ndi n'awulira ebigambo byange, n'abissa mu nkola, nzija kubalaga gw'afaanana.
48
Afaanana omuntu mu kuzimba ennyumba, eyasima n'akka wansi, omusingi n'agutandikira ku lwazi; omujjuzi bwe gwajja, mukoka n'akuluggukira ku nnyumba eyo, naye n'atayinza kugimenya, kubanga yazimbibwa bulungi.
49
Naye buli awulira n'atassa mu nkola, afaanana omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimyewo musingi; mukoka bwe yagikuluggukirako, amangu ago n'egwa, n'ekigwo kyayo ne kiba kinene.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24