bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 4
Luke 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Yezu ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'adda okuva ku Yorudani, n'atwalibwa Mwoyo mu ddungu
2
ennaku amakumi ana, n'akemebwa Sitaani. Mu nnaku ezo teyaliiko k'alya; bwe zaggwaako, enjala n'emuluma.
3
Sitaani n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke omugaati.”
4
Yezu n'amwanukula nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mugaati gwokka.’ ”
5
Sitaani n'amutwala waggulu, n'amwoleka amawanga gonna ag'ensi mu kabanga bubanga.
6
Sitaani n'amugamba nti: “Obuyinza bwonna n'ekitiibwa kyago nnaabikuwa, kubanga byampeebwa, gwe njagala gwe mbiwa.
7
Kale nno ggwe omala onsinza, ebyo byonna binaaba bibyo.”
8
Yezu n'ayanukula nti: “Kyawandiikibwa nti: “ ‘Osinzanga Omukama Katonda wo, era yekka gw'oweerezanga.’ ”
9
Era n'amutwala e Yeruzaalemu, n'amussa ku kitikkiro ky'Ekiggwa, n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi okuva wano; kubanga kyawandiikibwa nti:
10
“ ‘Aliragira bamalayika be ku ggwe bakukuume;’
11
Era nti: “ ‘Balikutwalira mu mikono gyabwe, oleme kukoona kigere kyo ku jjinja.’ ”
12
Yezu n'ayanukula n'amugamba nti: “Baagamba nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
13
Sitaani ng'amaze okumukema mu buli ngeri, n'amusegulira okutuusa ku kadde.
14
Awo Yezu n'addayo mu Galilaaya ng'ajjudde amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. Amawulire ku ye ne gabuna wonna mu nsi eyeetoolodde awo.
15
N'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe, bonna nga bamutendereza.
16
Awo n'ajja e Nazareti, gye yakulira; ku lunaku lwa Sabbaato n'ayingira mu sinaagooga nga bwe yali amanyidde, n'asituka okusoma.
17
Ne bamukwasa ekitabo kya Yisaaya omulanzi, n'abikkula ekitabo, n'asanga ekifo awaawandiikibwa bino nti:
18
“Omwoyo gw'Omukama gundiko, kubanga yansiiga omuzigo, yantuma okubuulira abaavu amawulire amalungi, okulangirira okuteebwa eri abasibe, n'eri bamuzibe nti ba kulaba; n'okuleka abatulugunyizibwa bagende mu ddembe,
19
n'okulangirira omwaka gw'ekisa ky'Omukama.”
20
Bwe yamala okubikakko ekitabo, n'akiddiza omuweereza, n'atuula. Bonna abaali mu sinaagooga ne bamwegeka amaaso.
21
Ye n'atandika okubagamba nti: “Olwa leero ekyawandiikibwa ekyo kye muwulidde mu matu gammwe, kituukiridde.”
22
Bonna ne bamwogerako bulungi, ne beewuunya ebigambo ebiwoomerevu ebyali biva mu kamwa ke; ne bagamba nti: “Ono si ye mutabani wa Yozefu?”
23
Ye n'abagamba nti: “Mazima mujja kungerera olugero luno nti: ‘Musawo weewonye! Bye twawulira bye wakola e Kafarunawumu, bikole na wano ewaabommwe.’ ”
24
N'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti tewali mulanzi n'omu akkirizibwa kwa boobwe.
25
Mazima mbagamba nti mu mirembe gya Eliya, bannamwandu baali bangi mu nsi ya Yisirayeli, eggulu lwe lyesibira emyaka esatu n'emyezi omukaaga, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo yonna;
26
naye ku bo tewali n'omu Eliya gye yasindikibwa, wabula ew'omukazi nnamwandu ow'e Sareputa ekya Sidoni.
27
Era mu mirembe gya Elisa omulanzi abagenge baali bangi mu nsi ya Yisirayeli, sso tewali mu bo yalongoosebwa, wabula Naamani Omusiriya.”
28
Bonna abaali mu sinaagooga, bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bajjula obusungu.
29
Ne basituka, ne bamufulumya mu kibuga, ne bamutwala okutuuka ku ntikko y'olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusulinke mu lukonko;
30
naye ye n'abayitamu wakati, n'agenda.
31
Awo n'aserengeta e Kafarunawumu, ekibuga ky'omu Galilaaya, n'abayigiriza ku Sabbaato.
32
Ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza.
33
Mu sinaagooga mwalimu omuntu aliko omwoyo omubi omugwagwa, n'aleekaana n'eddoboozi eddene nti:
34
“Owa! otwagaza ki, ggwe Yezu ow'e Nazareti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi ggwe ani, Omutuukirivu wa Katonda.”
35
Naye Yezu n'amukomako, n'agamba nti: “Sirika, ate muveemu.” Awo omwoyo omubi ne gumulindiggula wakati, ne gumuvaamu nga tegumukoze kabi.
36
Bonna ne batya, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kigambo ki kino! Kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi emyoyo emigwagwa ne givaamu.”
37
Amawulire ku ye ne gatuuka mu buli kifo mu nsi eyetooloddewo.
38
Awo Yezu naasituka, n'ava mu sinaagooga, n'ayingira mu nnyumba ya Simoni. Nnyina muka Simoni Petero yali alwadde omusujja mungi; ne bamwegayirira ku lulwe.
39
N'ayimirira w'ali, n'akoma ku musujja, ne gumuta; amangu ago n'agolokoka n'abaweereza.
40
Enjuba bwe yali egwa, bonna abaali balina abalwadde aba buli nkenyera, ne babaleeta w'ali. N'abassaako emikono kinnoomu, n'abawonya.
41
Emyoyo emibi ne giva mu bangi nga gireekaana nti: “Oli Mwana wa Katonda!” Ye n'agikomako, n'atagiganya kwogera; kubanga gyali gimanyi nga ye Kristu.
42
Bwe bwakya enkya, n'afuluma, n'agenda mu kifo ekyesudde; abantu ne bamunoonya ne bamuggukako; ne bamusibaasiba aleme kubavaako.
43
Ye n'abagamba nti: “Ne mu bibuga ebirala nteekwa okuyigirizaayo amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda, anti ekyo kye natumirwa.”
44
Yayigirizanga mu sinaagooga z'omu Buyudaaya.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24