bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 17
Luke 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
1
Ate n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebyesittazo tebirirema kujja; naye alibireeta zimusanze!
2
Ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo okussibwa mu bulago bwe n'asuulibwa mu nnyanja, aleme kuleetera kyesittazo omu ku bato bano.
3
“Mwegendereze; muganda wo bw'asobyanga mukomeko; ate bw'amala n'abonerera, musonyiwenga.
4
Ate bw'asobyanga gy'oli emirundi musanvu mu lunaku lumu, emirundi omusanvu egyo n'ajja gy'oli ng'agamba nti: ‘Mmoneredde,’ omusonyiwanga.”
5
Awo abatume ne bagamba Omukama nti: “Yongera ku kukkiriza kwaffe.”
6
Omukama n'agamba nti: “Singa mwalina okukkiriza okwenkana ng'empeke ya kaladaali, mwandigambye omuti gw'omukunyu guno nti: ‘Weesindule, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira.”
7
“Ani mu mmwe, bw'abeera n'omuweereza alima oba alunda, amugamba nga yaakava mu nnimiro nti: ‘Yingira mangu, otuule, olye?’
8
n'atamugamba nti: ‘Ntegekera ekyeggulo, weesibe ompeereze, mmale okulya n'okunywa, awo naawe olyoke olye n'okunywa?’
9
Omuweereza oyo amwebaza olw'okukola ky'amulagidde?
10
Nammwe nno bwe mutyo; bwe mumalanga okukola byonna ebibalagiddwa, mugambanga nti: ‘Tuli baweereza ntagasa; bye tubadde tulagirwa okukola bye tukoze.’ ”
11
Awo bwe yali agenda e Yeruzaalemu, n'ayita mu nsi ekoota Samariya ne Galilaaya.
12
Bwe yali ayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi ne bamusisinkana, ne bayimirira walako,
13
ne bayogerera waggulu nga bagamba nti: “Yezu, Muyigiriza, tusaasire.”
14
Bwe yabalaba, n'agamba nti: “Mugende mweyoleke bakabona.” Bwe baali bagenda, ne balongoosebwa.
15
Awo omu ku bo bwe yalaba ng'awonye, n'afunyamu ng'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene,
16
n'agwa ku maaso ge ku bigere bya Yezu nga yeebaza, sso nga yali Musamariya.
17
Yezu kwe kugamba nti: “Abalongooseddwa tebabadde kkumi? Kale omwenda bali luuyi wa?
18
Tewabadde akomawo kuwa Katonda kitiibwa, wabula munnaggwanga ono?”
19
Kwe kumugamba nti: “Yimuka ogende, kubanga okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
20
Awo Abafarisaayo ne bamubuuza obwakabaka bwa Katonda we bulituukira; n'abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja mu ngeri erabika;
21
wadde tebaligamba nti: ‘Buubuno wano,’ oba nti: ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe munda.”
22
Era n'agamba abayigirizwa nti: “Ennaku zijja ze mulyegomberamu okulaba olunaku olumu olw'Omwana w'Omuntu, ne mutalulaba.
23
Era balibagamba nti: ‘Laba, wuuli,’ oba nti: ‘Laba, wuuno;’ temugezanga kugendayo, temubagobereranga.
24
Kubanga ng'ekimyanso bwe kimyansa ne kimulisa olubaale okuva ku luuyi olumu okutuusa ku lulala, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu ku lunaku lwe bw'alibeera.
25
Kyokka ateekwa okusooka okubonyaabonyezebwa mu bingi, n'okugaanibwa ezzadde lino.
26
Nga bwe gwali mu budde bwa Nowa, era bwe guliba ne mu budde bw'Omwana w'Omuntu.
27
Baali balya nga banywa, nga bawasa, nga bafumbizibwa, okutuusa olunaku Nowa lwe yayingira mu kyombo; omujjuzi ne gujja ne gubazikiriza bonna.
28
Era nga bwe gwali mu budde bwa Loti: baali balya nga banywa, nga bagula nga batunda, nga basimba nga bazimba,
29
naye Loti lwe yava mu Sodoma, ne watonnya omuliro n'ebibiriiti nga biva mu ggulu, bonna ne bibazikiriza.
30
Bwe gutyo bwe guliba ku lunaku Omwana w'Omuntu lw'alyorekerwako.
31
“Mu kaseera ako, aliba ku kasolya waggulu, ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubitwala; era n'abeeranga mu nnimiro naye bw'atyo; taddanga mabega.
32
Mujjukire muka Loti.
33
Buli awatanya okuwonya obulamu bwe alibubuza; naye buli abuza obulamu bwe, alibuwa okulama.
34
Ka mbabuulire, mu kiro kiri abasajja babiri balibeera mu kitanda kimu, omu alitwalibwa omulala n'alekebwa.
35
Abakazi ababiri baliba basa wamu ku lubengo, omu alitwalibwa, omulala n'alekebwa.”
37
Awo bo kwe kumubuuza nti: “Ludda wa, Mukama?” Ye n'abagamba nti: “Omulambo we gubeera n'ensega we zikuŋŋaanira.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24