bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 18
Luke 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Awo n'abagerera olugero nga bwe bateekwa okwegayirira buli kakedde n'obutakoowa.
2
N'abagamba nti: “Mu kibuga ekimu mwalimu omulamuzi nga tatya Katonda, era n'abantu nga tabafaako.
3
Mu kibuga ekyo era mwalimu ne nnamwandu eyajjanga gy'ali olutata ng'agamba nti: ‘Ntaasa omulabe wange.’
4
Ye n'alwawo ng'akyagaanyi; kyaddaaki n'agamba mu mutima munda nti: ‘Newandibadde Katonda simutya, n'abantu sibafaako,
5
naye kubanga omukazi ono antawaanya, nzija kumutaasa, aleme kunkooya ng'ajjirira olutata.’ ”
6
Awo Omukama n'agamba nti: “Muwulire omulamuzi omubi oyo ky'agamba.
7
Kale nno Katonda talitaasa ababe be yeerondeddemu abakoowoola gy'ali emisana n'ekiro? Alibalwisa?
8
Ka mbabuulire, agenda kubataasa mangu. Naye Omwana w'Omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
9
Era yagerera abantu abamu olugero abaali beemanyi obutuukirivu nga banyooma abalala, n'agamba nti:
10
“Abantu babiri baayambuka mu Kiggwa okwegayirira, omu nga Mufarisaayo omulala nga musolooza wa musolo.
11
Omufarisaayo n'ayimirira n'asoma munda ye nti: ‘Ayi Katonda, nkwebaza, kubanga siri ng'abantu abalala, abalyazaamaanyi, ababi, abenzi; era siri ng'omusolooza w'omusolo oyo.
12
Buli wiiki nsiiba emirundi ebiri; buli kye nfuna kyonna ntonako ekyekkumi.’
13
Omusolooza w'omusolo ye n'ayimirira wala, nga tageza na kuyimusa maaso eri ggulu, ne yeekuba ekifuba ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nsaasira nze omwonoonyi.’
14
Ka mbabuulire, oyo yaddayo ewuwe ng'atukudde, naye oli nedda. Kubanga buli eyeekuza alitoowazibwa; naye eyeetoowaza, aligulumizibwa.”
15
Baali bamuleetera abaana abawere abakwateko; naye abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne babakomako.
16
Naye Yezu n'abayita w'ali, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.
17
Mazima mbagamba nti yenna atayaniriza bwakabaka bwa Katonda nga mwana muto, talibuyingiramu n'akamu.”
18
Awo omwami omu n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, nnaakola ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
19
Yezu n'amugamba nti: “Ompitidde ki omulungi? Teri mulungi okuggyako Katonda yekka.
20
Ebiragiro obimanyi: ‘Toyendanga; Tottanga; Tobbanga; Tojuliranga bya bulimba; Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ ”
21
Ye n'agamba nti: “Ebyo byonna nabikwata okuva obuto bwange.”
22
Yezu bwe yawulira ekyo, n'amugamba nti: “Okyabulwako kimu: Tunda by'olina owe abaavu, obugagga olibeera nabwo mu ggulu, ojje ongoberere.”
23
Bwe yawulira ebyo, n'anakuwala, kubanga yali mugagga nnyo.
24
Yezu n'amutunuulira, n'agamba nti: “Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25
Kiba kyangu eŋŋamiya okuyita mu nnyindo y'empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26
Awo abaali bawulira ne bagamba nti: “Awo nno ani asobola okulokoka?”
27
Naye ye n'abagamba nti: “Ekitasoboka ku bantu, ku Katonda kisoboka.”
28
Awo Petero n'agamba nti: “Kale ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera.”
29
Ye n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti mpaawo yaleka nnyumba ye, oba mukazi we, oba baganda be, oba baana be okubeera obwakabaka bwa Katonda,
30
atalifuna n'asinzaawo emirundi mingi mu nsi muno, ssaako n'obulamu obutaggwaawo mu mirembe egirijja.”
31
Awo Yezu n'azza ebbali Ekkumi n'Ababiri n'abagamba nti: “Tuutuno twambuka e Yeruzaalemu, byonna abalanzi bye baawandiika ku Mwana w'omuntu bijja kutuukirira.
32
Kubanga balimuwaayo mu b'amawanga n'aduulirwa, n'aweebuulwa, n'affujjirwa amalusu;
33
balimuswanyuula ne bamutta; ate ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
34
Naye bo ne batabaako kye bategeera mu ebyo; ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa; ebyayogerwa tebaabitegeera.
35
Bwe yali asemberera Yeriko, waaliwo muzibe eyali atudde ku kkubo ng'asabiriza.
36
Bwe yawulira ekibiina nga kiyitawo, n'abuuza ogubadde.
37
Ne bamugamba nti: “Yezu ow'e Nazareti y'ayita.”
38
Awo n'akoowoola ng'agamba nti: “Yezu, Omwana wa Dawudi, nsaasira!”
39
Abaali bakulembedde ne bamukomako, ne bamugamba asirike; naye ye n'aleekaana nnyo n'okusingawo nti: “Omwana wa Dawudi, nsaasira.”
40
Yezu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali.
41
Bwe yasembera n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki?” N'agamba nti: “Mukama, ndabe.”
42
Yezu n'amugamba nti: “Ddamu okulaba; okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
43
Amangu ago n'addamu okulaba n'amugoberera ng'atendereza Katonda. N'abantu bonna bwe baalaba, ne batendereza Katonda.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24