bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 12
Luke 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
1
Mu bbanga eryo ebibiina by'abantu nkumi na nkumi bwe byali bikuŋŋaana, ng'abantu balinnyaganako na bulinnyaganyi, n'atandika okugamba ng'asookera ku bayigirizwa be nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo, anti bwe bukuusa.
2
Kubanga tewali kikisiddwa kitalibikkulibwa; era tewali kikisiddwa kitalimanyibwa.
3
Awo nno bye mwayogeranga mu nzikiza biriwulirwa mu kitangaala; ne kye mwayogeranga mu nkukutu mu kisenge, kirirangirirwa ku ntikko z'ennyumba.
4
Naye mmwe, mikwano gyange, ka mbabuulire, temutyanga abo abatta omubiri obubiri, bwe bamala ekyo nga tebakyaliko kye bayinza kirala.
5
Ka mbategeeze gwe mubanga mutya: mutyenga oyo amala okutta, ate n'asobola n'okusuula mu Geyenna; yee, mbagamba, oyo mumutyanga.
6
Kale enkazaluggya ttaano, tezitundibwa ssente bbiri? Sso ku ezo tewali n'emu yeerabirwa mu maaso ga Katonda.
7
Mulabe eno, enviiri zammwe ez'oku mutwe, zonna mbale. Temutya; muli ba muwendo okusinga enkazaluggya enkumu.
8
“Ka mbabuulire, buli alinjatula mu maaso g'abantu, n'Omwana w'Omuntu alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
9
Naye alinneegaana mu maaso g'abantu, naye alyegaanibwa mu maaso g'abamalayika ba Katonda.
10
“Buli yenna alyogera ekigambo ku Mwana w'omuntu, kirimusonyiyibwa; naye alivuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa.
11
Awo nno mmwe bwe babatwalanga mu sinaagooga, oba mu maaso g'abafuzi n'ag'ab'obuyinza, temweraliikiriranga nti munaayanukula mutya oba kiki, oba nti kiki kye munaayogera,
12
Kubanga Mwoyo Mutuukirivu y'alibategeeza mu bbanga eryo kye mugwanye okwogera.”
13
Awo omu mu kibiina n'amugamba nti: “Muyigiriza, ŋŋambira ku muganda wange aŋŋabanyize ku by'obusika.”
14
Yezu n'amugamba nti: “Musajja wattu, ani yanteekawo okubalamula n'okubasalirawo ensonga zammwe?”
15
Ate n'abagamba nti: “Mwekkaanye, era mwekuumenga omululu gw'ebintu; kubanga obulamu bw'omuntu tebuli mu buyitirivu bw'ebintu by'alina.”
16
N'alyoka abagerera olugero, n'agamba nti: “Ennimiro y'omusajja omugagga omu yamubaliza ebibala bingi.
17
N'alowooza mu mutima gwe nti: ‘Nkole ntya? Siriiko we nkuŋŋaanyiza bye mbazizza.’
18
N'agamba nti: ‘Nzija kukola bwe nti: nzija kwabya amawanika gange, nzimbe agasingawo obunene, omwo mwe mba nkuŋŋaanyiza eŋŋano yange n'ebintu byange.
19
Ndyoke ŋŋambe omwoyo gwange nti: Mwoyo gwange, ofunye ebirungi nkumu, ebyakuŋŋaanyizibwa okumala emyaka emingi; wummula, olye, onywe, oyagaayagane.’
20
Naye Katonda n'amugamba nti: ‘Musiru ggwe! Mu kiro kino omwoyo gwo bajja kugukutwalako; kale bye weekuŋŋaanyiza binaaba by'ani?’
21
N'eyeekuŋŋaanyiza eby'ensi sso nga mu bya Katonda si mugagga, bw'aba.”
22
Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti: temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti munaalya ki, newandibadde omubiri, nti munaayambala ki?
23
Kubanga obulamu bwe bukira emmere, n'omubiri gwe gukira ekyokwambala.
24
Mwekkaanye binnamuŋŋoona: tebisiga wadde okukungula, tebirina materekero wadde ebyagi; sso Katonda abiriisa. Nga muli ba muwendo okusinga ebinyonyi!
25
Ani mu mmwe ne bwe yeeraliikirira atya, ayinza okwongera omukono ogumu ku buwanvu bwe?
26
Kale nno obanga akatono ng'ako kabalema, ebirala mubyeraliikiririra ki?
27
Mwekkaanye amalanga nga bwe gakula: tegalanga wuzi wadde okuluka; naye, ka mbabuulire, newandibadde Solomoni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.
28
Kale obanga omuddo ku ttale oguliwo leero jjo ne gusuulibwa mu kabiga, Katonda agwambaza bw'atyo, talibasinzaawo mmwe ab'okukkiriza okutono?
29
Kale nno mulekenga kunoonya kye munaalya oba kye munaanywa; temweraliikiriranga.
30
Ebyo byonna amawanga gonna ag'ensi bye gettanira. Kitammwe amanyi ng'ebyo byonna mubyetaaga.
31
Kale musookenga kunoonya bwakabaka bwe, n'ebyo byonna biribongerwako.
32
Muleke kutya, mmwe eggana ettono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa obwakabaka.
33
“Mutunde bye mulina, mugabire abaavu, mwefunire ensawo ezitakaddiwa, obugagga obutaggwaawo mu ggulu, omubbi gyatasembera n'ennyenje gye zitabwonoonera.
34
Kubanga awabeera obugagga bwammwe, eyo n'omutima gwammwe gye gulibeera.
35
“Mube nga mwesibye emisipi n'ettawaaza zammwe nga zaaka;
36
mufaanane abantu abalindirira mukama waabwe lw'anaava ku mbaga ey'obugole; bw'atuuka n'akonkona ku luggi, bamuggulirewo mangu.
37
Abaweereza abo beesiimye mukama waabwe bw'alijja n'amala abasanga nga batunula. Mazima mbagamba nti agenda kwesiba abatuuze ku lujjuliro, ayiteeyite ng'agenda abaweereza.
38
Ne bw'alituuka mu kisisimuka ekyokubiri oba ekyokusatu, amala abasanga bw'atyo, abaweereza abo baliba ba mukisa.
39
Mumanye na kino, nti singa nnannyinimu yali ategedde akaseera omubbi k'anajjiramu, teyandiremye kwetegeka n'ataganya nnyumba ye kumenyebwa.
40
Nammwe nno mwetegekenga, kubanga Omwana w'Omuntu alijja mu kaseera ke mutalowooza.”
41
Awo Petero n'amugamba nti: “Mukama, olugero olwo olugeredde ffe, nandiki bonna?”
42
Omukama n'amugamba nti: “Awo nno ye ani oyo omuwanika omwesigwa era omwegendereza, mukama we gw'alissa ku bakozi b'omu nnyumba ye okubagereranga ekipimo ky'eŋŋano akadde nga katuuse?
43
Omuweereza oyo yeesiimye, mukama we bw'alijja amala amusanga ng'akola bw'atyo!
44
Mazima mbagamba nti alimussa ku bibye byonna.
45
Naye singa omuweereza oyo agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aludde okutuuka,’ n'asooka okukuba abaweereza n'abazaana, okulya, okunywa n'okutamiira,
46
mukama w'omuweereza oyo alijja ku lunaku lw'atamusuubira ne mu kaseera k'atamanyi; alimubonereza nnyo n'amubalira mu batakkiriza.
47
Kyokka omuweereza oyo eyamanya mukama we ky'ayagala n'atabaako ky'ateekateeka, n'atakola nga bwe yalagira, aliweweenyulwa nnyo.
48
Naye ataamanya, n'amala akola ebimusaanyiza okukubwa, aliweweenyulwa katono. Kubanga buli eyaweebwa ebingi alibuuzibwa bingi; era oyo eyasingirwa ebingi, balimubuuza na bingi okusingawo. Yezu aleese muliro na njawukana
49
“Najja kuleeta muliro ku nsi, ate njagala ki, wabula gubeere nga gwakoleera na dda!
50
Ninayo ne batismu gye ŋŋenda okubatizibwamu; nga nkabiriddwa okutuusa ng'etuukiridde!
51
“Mulowooza nti najja kuleeta mirembe mu nsi? Busa! Ka mbabuulire, wabula enjawukana;
52
Kubanga n'okuva kati, abataano abali mu nnyumba emu balibaamu enjawukana: abasatu balyawukana n'ababiri, n'ababiri balyawukana n'abasatu.
53
Balyawukana: kitaawe w'omwana ne mutabani we, n'omwana ne kitaawe; nnyina w'omwana ne muwala we, n'omuwala ne nnyina; nnyazaala ne mukaamwana we, ne mukaamwana ne nnyazaala we.”
54
Ate n'agamba ebibiina nti: “Bwe mulaba ekire nga kyambuka okuva ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti: ‘Enkuba ejja,’ era bwe kiba.
55
Ate empewo bw'eva emaserengeta, mugamba nti: ‘Bujja kubeera bwa bbugumu,’ era bwe kiba.
56
Bakuusa mmwe! Mumanyi okusoma enfaanana y'ensi n'ey'eggulu, naye lwaki temumanyi kusoma budde buno?
57
“Lwaki mmwe temweramulira kituufu?
58
Bw'oba oyambuka ew'omwami n'oli gw'owoza naye, gezaako okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme kukutwala wa mulamuzi, omulamuzi aleme kukuwa muserikale, omuserikale akusuule mu kkomera.
59
Ka nkubuulire, omwo tolivaamu okutuusa ng'omaze n'okusasula akasente akasembayo.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24