bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 20
Luke 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Olumu bwe yali ayigiriza abantu mu Kiggwa, ng'ababuulira amawulire amalungi, bakabona abakulu, abawandiisi n'abakadde,
2
ne bamulumba, ne bamugamba nti: “Tutegeeze ebyo obikozesa buyinza ki, oba ani yakuwa obuyinza obwo?”
3
N'ayanukula n'abagamba nti: “Nange nzija kubabuuza ekigambo kimu, munziremu:
4
Kale batismu ya Yowanna yava mu ggulu nandiki mu bantu?”
5
Ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Bwe tunaagamba nti: ‘Yava mu ggulu,’ ajja kubuuza nti: ‘Lwaki temwamukkiriza?’
6
Ate bwe tugamba nti: ‘Yava mu bantu,’ abantu bajja kutukuba amayinja, kubanga bakakasa nti Yowanna yali mulanzi.”
7
Kwe kuddamu nti: “Tetumanyi gye yava.”
8
Ne Yezu n'abagamba nti: “Nange siibabuulire buyinza bunkoza ebyo.”
9
Awo n'atandika okugerera ekibiina olugero luno, nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agikwasa abalimi, ye n'agenda ku ggwanga ebbanga ggwanvu.
10
Obudde bwe bwatuuka, n'atuma omuweereza eri abalimi nti bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Naye abalimi ne bamukuba, ne bamugoba ngalo nsa.
11
N'ayongera ate okutuma omuweereza omulala, naye ne bamukuba, ne bamuvumaavuma, ne bamugoba ngalo nsa.
12
Era n'atuma owookusatu; n'oyo ne bamussaako ebiwundu, ne bamugobera ebweru.
13
Nnyini nnimiro kwe kugamba nti: ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange omwagalwa, oboolyawo banaamutya.’
14
Abakozi bwe baamulaba, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika, ka tumutte, obusika butuddire.’
15
Ne bamugobera ebweru w'ennimiro y'emizabbibu ne bamutta. Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu abo alibakola ki?
16
Alijja n'azikiriza abalimi abo n'ennimiro ye ey'emizabbibu n'agikwasa abalala.” Olwawulira ekyo, ne bagamba nti: “Kikafuuwe!”
17
Awo Yezu n'abeekaliriza, n'abagamba nti: “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki: “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka lukulwe mu nsonda’?
18
“Buli aligwa ku jjinja eryo alisesebbuka; buli yenna gwe lirigwaako, lirimubetenta.”
19
Bakabona abakulu n'abawandiisi ne banoonya okumukwata mu kaseera ako kennyini, naye ne batya abantu, anti baali bategedde nti olugero olwo yali aluyisizza ku bo.
20
Ne bongera okumulondoola, ne batuma abakessi nga beeryanyizza ng'abalungi, bamukwate mu bigambo bye, balyoke bamuweeyo mu mbuga ne mu buyinza bw'owessaza.
21
Ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oyogera era oyigiriza mu butuufu, ate nga teweeguya muntu, wabula ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda.
22
Kale nno tusaanidde okuwa Kayisari omusolo oba nedda?”
23
Ye n'ategeera enkwe zaabwe, n'abagamba nti:
24
“Munjoleke dinaari. Ekifaananyi n'ekiwandiiko ebiriko by'ani?” Bo ne baddamu nti: “Bya Kayisari.”
25
N'alyoka abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisari mubiddize Kayisari, n'ebya Katonda mubiddize Katonda.”
26
Ne batasobola kumukwasa mu bigambo bye awo mu maaso g'abantu; ne beewuunya nga bw'azzeemu, ne basirika busirisi.
27
Ne wajjawo Abasaddukaayo abamu, abo abawakana nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti:
28
“Muyigiriza, Musa yaleka atuwandiikidde nti: singa muganda w'omuntu afanga ng'abadde n'omukazi naye nga tabadde na baana, muganda we awasanga omukazi oyo n'asibusiza muganda we ezzadde.
29
Waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa omukazi n'afa nga talina mwana;
30
era n'owookubiri;
31
n'owookusatu n'amuwasa; bonna omusanvu bwe batyo, naye ne bafa nga tebalese baana.
32
Oluvannyuma n'omukazi n'afa.
33
Kale mu mazuukira aliba muka ani? Anti bonna omusanvu baamuwasaako.”
34
Yezu n'abagamba nti: “Abaana ab'omu mirembe gino bawasa n'okufumbizibwa;
35
naye abalimala okusaanira emirembe giri n'okuzuukira mu bafu, tebagenda kuwasa yadde okufumbirwa,
36
manyanga tebakyayinza kuddamu kufa, kubanga baliba nga bamalayika na baana ba Katonda, anti nga baana ba kuzuukira.
37
Era okumanya ng'abafu bazuukira, Musa naye yakyolesa bulungi we boogerera ku kisaka w'ayitira Omukama Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, ne Katonda wa Yakobo.
38
Awo nno Katonda taba wa bafu, wabula wa balamu, anti bonna ku ye baba balamu.”
39
Abawandiisi abamu ne baddamu nti: “Muyigiriza, oyogedde bulungi.”
40
Batyo tebaddayo ate kumubuuza kibuuzo kirala.
41
Naye ye n'abagamba nti: “Kale bayinza batya okugamba nti Kristu mwana wa Dawudi,
42
sso nga Dawudi yennyini mu Kitabo kya Zabbuli agamba nti: “ ‘Omukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
43
okutuusa abalabe bo lwe ndibafuula akatebe k'ebigere byo ’?
44
Dawudi bw'atyo amuyita Mukama, awo nno abeera atya omwana we?”
45
Abantu bonna nga bawulira, n'agamba abayigirizwa be nti:
46
“Mwekuume abawandiisi; baagala okukumbira mu matanvuuwa era abaagala n'okulamusibwa mu mbuga, n'entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga, n'ebifo ebisinga ekitiibwa ku bijjulo;
47
abakaliza ennyumba za bannamwandu, ate ne beefukuutiriza essaala empanvu. Balifuna ekibonerezo ekisingako obukambwe.”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24