bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 16
Luke 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
1
Era n'agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omuntu omugagga ng'alina omuwanika we; ne bamumuloopera nti yali ayiwaayiwa ebibye.
2
N'amuyita, n'amugamba nti: ‘Kye mpulidde ku ggwe kiri kitya? Kale woza obuwanika bwo, kubanga tokyayinza kubeera muwanika.’
3
Awo omuwanika ne yeebuuza munda muli nti: ‘Nnaakola ntya, anti mukama wange obuwanika buubuno abunzigyako? Okulima sikusobola, n'okusabiriza kunkwasa ensonyi.
4
Ntegedde kye nzija okukola, abantu balyoke bansuze mu mayumba gaabwe bwe nnaaba ngobeddwa mu buwanika.’
5
Awo n'ayita buli alina ebbanja lya mukama we kinnoomu. N'agamba eyasooka nti: ‘Mukama wange akubanja ki?’
6
Ye n'agamba nti: ‘Amatogero g'omuzigo kikumi.’ N'amugamba nti: ‘Kwako ekiwandiiko kyo, tuula mangu owandiike amakumi ataano.’
7
Ate n'agamba omulala nti: ‘Ate nga ggwe, obanjibwa ki?’ Ye n'agamba nti: ‘Ensawo z'eŋŋano kikumi.’ N'amugamba nti: ‘Kwako ekiwandiiko, owandiike kinaana.’
8
Omwami n'atenda omuwanika omulyazaamaanyi olw'obukujjukujju bwe. Kubanga abaana b'ensi mu luse lwabwe babeera bakalabakalaba okusinga abaana b'ekitangaala.
9
“Nange mbagamba nti: Mwegunjire emikwano nga mukozesa obugagga obubi, bwe bulimala okubaggwaako, balyoke babaanirize mu bisulo eby'olubeerera.
10
N'abeera omwesigwa mu bitono aba mwesigwa ne mu bingi; n'aba omulyazaamaanyi mu bitono aba mulyazaamaanyi ne mu bingi.
11
Kale oba temwali beesigwa mu bugagga obubi, obugagga ddala ani alibubakwasa?
12
Obanga temwali beesigwa ku bya beene, ebyammwe ddala ani alibibakwasa?
13
Mpaawo muweereza asobola kuweereza baami babiri; kubanga oba alikyawako omu, n'ayagala omulala, oba alyesiba ku omu, omulala n'amunyooma. Temuyinza kuweereza Katonda na byabugagga.”
14
Abafarisaayo, abaali abaagazi b'essente, ebyo byonna baabiwulira, naye ne bamusekerera.
15
N'abagamba nti: “Mmwe mwesaanyiriza mu maaso g'abantu; kyokka Katonda emitima gyammwe agimanyi; anti abantu kye batenda, mu maaso ga Katonda kyenyinyalwa.”
16
“Amateeka n'abalanzi byaliwo okutuuka ku Yowanna; okuva olwo amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda gabuulirwa; buli muntu abuyingiramu na lyanyi.
17
“Kyokka eggulu n'ensi kyangu okuggwaawo okusinga akatonnyeze akamu kati okuva mu Tteeka.
18
“Buli agoba mukazi we n'awasa omulala, aba ayenze; n'oyo awasa omukazi agobeddwa ku bba, aba ayenze.
19
“Waaliwo omugagga, eyayambalanga eminagiro egya kakobe n'engoye ezinekaaneka, era buli lunaku ng'aliira mu kinyumu.
20
Ate omusajja omu omunkuseere, erinnya lye Lazaro, yassibwanga awo ku wankaaki we, ng'ajjudde amabwa;
21
yeegombanga okukkuta n'obukunkumuka obwagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; ate n'embwa zajjanga ne zimukomberera amabwa.
22
“Olwatuuka, omunkuseere oyo n'afa, bamalayika ne bamutwala ku mubiri gwa Yiburayimu. Omugagga naye n'afa, n'aziikibwa.
23
Bwe yali mu magombe mu bibonoobono, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Yiburayimu ewalako, nga Lazaro amutudde ku mubiri,
24
n'akoowoola nti: ‘Kitange Yiburayimu, nsaasira otume Lazaro annyike mu mazzi akasammambiro k'engalo ye avubirize olulimi lwange, kubanga nnumwa mu muliro guno.’
25
Yiburayimu n'amugamba nti: ‘Mwana wange, jjukira nga wafuna ebirungi byo mu bulamu bwo, ye Lazaro bibi byereere; kati ye akubagizibwa, ate ggwe oli mu kulumwa.
26
Ye ate naddala, wakati waffe nammwe waateekebwawo olukonko olunene, abandyagadde okuva eno okujja gye muli balemwe, n'ewaandibadde ab'eyo okujja gye tuli.’
27
Ye n'agamba nti: ‘Kale nno, kitange, nkwegayiridde, mutume mu nnyumba ya ssebo;
28
Kubanga nnina baganda bange bataano; abalabule baleme kujja mu kifo kino eky'ebibonoobono.’
29
Yiburayimu n'amugamba nti: ‘Balina Musa n'abalanzi; babawulirenga.’
30
Ye n'agamba nti: ‘Nedda, kitange Yiburayimu; wabula omu bw'anaabatuukako okuva mu bafu, bajja kwenenya.’
31
N'amuddamu nti: ‘Bwe batawulira Musa na balanzi, oli ne bw'anaazuukira okuva mu bafu, tebagenda kukkiriza.’ ”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24