bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 14
Luke 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Ku Sabbaato emu yayingira mu nnyumba y'omukulu w'Abafarisaayo omu okulya emmere; bo ne bamwekaliriza.
2
Mu maaso ge awo waaliwo alwadde entumbi.
3
Awo Yezu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafarisaayo, n'agamba nti: “Kisaanye okuwonya ku Sabbaato, nandiki?”
4
Bo ne basirika busirisi. Ye n'amukwata, n'amuwonya, n'amusiibula.
5
Awo n'abagamba nti: “Ani mu mmwe alina endogoyi oba ente, n'egwa mu luzzi, atagiggyamu mangu ago newandibadde ku Sabbaato?”
6
Ne batabaako kye bayinza kumwanukula.
7
Abayitiddwa ku mbaga, bwe yalaba nga bagobereza ebifo eby'ekitiibwa, n'abagerera olugero, n'abagamba nti:
8
“Bw'obanga oliko akuyise ku mbaga y'obugole, totuulanga mu kifo kisinga kitiibwa, sikulwa nga waliwo omulala gw'ayise akusinga ekitiibwa,
9
oli eyabayise mwembi n'ajja akugamba nti: ‘Segulira ono mu kifo,’ olwo n'odda mu kifo eky'ennyuma ng'osonyiwadde.
10
Bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo eky'emabega, oli eyakuyita ng'azze alyoke akugambe nti: ‘Munnange, weyongereyo waggulu,’ olwo n'ofuna ekitiibwa mu maaso ga bonna abatudde naawe.
11
Kubanga buli eyeekuza alitoowazibwa, na buli eyeetoowaza, aligulumizibwa.”
12
Awo n'agamba oli eyali amuyise nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, oba baganda bo, oba abeŋŋanda zo, yadde baliraanwa bo abagagga, oboolyawo nabo ne bakuyita ne bakuddiza bwe batyo.
13
Wabula ggwe bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, balema, bakateeyamba, bamuzibe,
14
lw'olibeera n'omukisa, kubanga bano tebayinza kukuddiza. Oliddizibwa ku kuzuukira kw'abatuukirivu.”
15
Awo omu ku baali batudde okulya, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti: “Yeesiimye alirya emmere mu bwakabaka bwa Katonda.”
16
Naye ye n'amugamba nti: “Omuntu omu yafumba embaga nnene, n'ayita bangi.
17
Obudde obw'embaga bwe bwatuuka, n'atuma omuweereza we agambe abayitiddwa nti: ‘Mujje, byonna biwedde okuteekateeka.’
18
Buli omu okufaanana munne ne basooka okuwampanya; eyasooka n'amugamba nti: ‘Naguze ennimiro; nnina okugenda okugirambula; nkwegayiridde, mala gansonyiwa.’
19
Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigongo gy'ente ezirima etaano, ŋŋenda kugigeza; nkwegayiridde, mala gansonyiwa.’
20
Omundi n'agamba nti: ‘Nawasizza omukazi; olw'ekyo siyinza kujja.’
21
Omuweereza n'ajja, ebyo n'abibuulira mukama we. Ssemaka mu busungu n'agamba omuweereza we nti: ‘Genda mangu mu nguudo ne mu nkuubo z'ekibuga, oyingize wano abaavu, abalema, bamuzibe ne bakateeyamba.’
22
Omuweereza n'agamba nti: ‘Ssebo, nkoze nga bwe walagidde, naye era ekifo kikyaliwo.’
23
Mukama we n'agamba omuweereza we nti: ‘Genda ku makubo ne ku bukubo obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule.
24
Kyokka ka mbabuulire; ku basajja abo ababadde bayitiddwa, mpaawo anaakomba ku mbaga yange.’ ”
25
Ebibiina binene byali bitambula wamu naye, n'akyukira gye biri, n'abigamba nti:
26
“Oli bw'ajja gye ndi n'amala takyawa kitaawe na nnyina, na mukazi we, na baana be, na baganda be, na bannyina, newandibadde obulamu bwe bwennyini, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
27
N'oli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
28
“Ani mu mmwe ng'ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira muwendo oguligendako alabe oba alina eby'okugumaliriza?
29
Sikulwa ng'amala okuyiwa omusingi, n'alemwa okumaliriza; bonna abagulaba ne bamusekerera, nga bagamba nti:
30
‘Omuntu nno yatandika okuzimba, n'atayinza kumaliriza.’
31
Oba kale, kabaka ki ayagala okutabaala kabaka omulala, atasooka kutuula ne yeebuuza oba ayinza okutalira oli amujjira n'abantu obukumi obubiri, sso ye ng'alina kakumi kamu.
32
Obanga taasobole, oli ng'akyali wala ddala n'amutumira ababaka bateesaganye emirembe.
33
Bwe kityo nno buli muntu mu mmwe ataleka byonna by'alina, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
34
“Omunnyo mulungi; naye omunnyo bwe gusaabulukuka, gunaalungwa naki?
35
Guba tegukyagasa ttaka wadde olubungo, bagusuula eri. Alina amatu agawulira, awulire.”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24