bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Luke 24
Luke 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Naye ku lusooka mu wiiki, ku makya, ne bajja ku ntaana nga baleeta ebyakaloosa bye baali bategese.
2
Ne basanga ejjinja nga liyiringisiddwa okuva ku ntaana;
3
naye bwe baayingira, omubiri gwa Yezu ne batagulabamu.
4
Ekyo kyali kikyabasobezza, abasajja babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezimasamasa.
5
Ne batya, ne bakoteka emitwe wansi; bo ne babagamba nti: “Munyoonyeza ki omulamu mu bafu?
6
Muno taliimu; azuukidde; mujjukire kye yababuulira ng'akyali mu Galilaaya,
7
bwe yagamba nti: ‘Omwana w'Omuntu ateekwa okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi, n'okukomererwa ku musaalaba, n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.’ ”
8
Awo ne bajjukira ebigambo bye.
9
Bwe baava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira ekkumi n'omu n'abalala bonna.
10
Mariya Magudalena ne Yowannina ne Mariya nnyina Yakobo wamu n'abakazi abalala be baabuulira ebyo Abatume.
11
Naye ebigambo ebyo ne bibafaananira ng'eby'akalogojjo, ne batabikkiriza.
12
Petero n'asituka, n'agenda mbiro ku ntaana. Bwe yakutama n'atunula munda, n'alaba essuuka nga ziri zokka; n'addayo eka nga yeewuunya ekyali kiguddewo.
13
Ku lunaku olwo era bannaabwe babiri baali bagenda mu kyalo ekiyitibwa Emmawusi, nga kiri sitadiyo nga nkaaga okuva e Yeruzaalemu.
14
Baali bagenda banyumya ku ebyo byonna ebyali biguddewo.
15
Bwe baali bakyanyumya nga bwe beewuunaganya, Yezu yennyini n'asembera, n'atambula nabo.
16
Naye amaaso gaabwe nga gaziyiziddwa okumutegeera.
17
N'abagamba nti: “Bigambo ki ebyo bye mugenda munyumyako nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu.
18
Omu ku bo erinnya lye Kulewopa n'ayanukula n'amugamba nti: “Ggwe wekka ggwe mugenyi mu Yeruzaalemu atamanyi biguddewo mu nnaku zino?”
19
Ye n'abagamba nti: “Biki?” Bo ne bagamba nti: “Ebifa ku Yezu ow'e Nazareti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bikolwa ne mu bigambo mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna,
20
bakabona baffe n'abakulembeze nga bwe baamuwaayo okusalirwa ogw'okufa, ne bamukomerera ku musaalaba.
21
Ffe twali tusuubira nti ye wuuyo ajja okununula Yisirayeli. Ate si kino kyokka, kati luno lwe lwokusatu kasooka ebyo byonna bigwawo.
22
Ate abakazi abamu mu b'ewaffe batwewuniikirizza, bwe baagenze ku ntaana mu makya
23
omubiri gwe ne batagusangamu, ne bajja bagamba mbu bamalayika baabalabikidde ne babagamba nti mulamu.
24
Bannaffe abamu baagenze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe boogedde; ye tebaamusanzeemu.”
25
Awo Yezu n'abagamba nti: “Babuyabuya mmwe, abatakkiriza mangu byonna abalanzi bye baayogera!
26
Kristu yali tateekeddwa okubonyaabonyezebwa ebyo alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”
27
Awo n'abannyonnyola buli kigambo ekimukwatako mu Biwandiiko ebitukuvu byonna, ng'asookera ku Musa n'Abalanzi bonna.
28
Bwe baasemberera ekyalo mwe baali bagenda, ye n'afaanana ng'akyeyongerayo;
29
bo ne bamukwatiriza nga bagamba nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buubuno buwungeera n'olunaku luuluno lweyerawo.” N'ayingira, n'asigala nabo.
30
Bwe yali atudde nabo okulya, n'akwata omugaati, n'aguwa omukisa, n'agumenyamu n'agubawa.
31
Awo amaaso ne gazibuka, ne bamutegeera; naye ye n'ababulako nga tebakyamulaba.
32
Ne bagambagana nti: “Emitima gyaffe gyabadde tegitubugujja muli ng'ayogera naffe mu kkubo, ng'atunnyonnyola Ebiwandiiko ebitukuvu?”
33
Ne basitukiramu mu kasera ako kennyini, ne baddayo e Yeruzaalemu. Ne basanga ekkumi n'omu n'abalala abaali nabo nga bakuŋŋaanye,
34
nga bagamba nti: “Omukama azuukiridde ddala; alabikidde ne Simoni.”
35
Nabo ne banyumya ebyafudde mu kkubo, era nga bwe baamutegeeredde ku kumenya omugaati.
36
Baali bakyayogera ebyo, Yezu yennyini n'abayimiriramu wakati, n'abagamba nti: “Emirembe gibeere ku mmwe.”
37
Bo ne beekanga, ne batya, ne balowooza nga balaba muzimu.
38
N'abagamba nti: “Mwesisiwalidde ki? N'ebirowoozo bizze bitya mu mitima gyammwe?
39
Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange, nti nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe; manyanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga nze bwe mundaba nabyo.”
40
Bwe yamala okwogera ebyo n'abalaga ebibatu bye n'ebigere bye.
41
Naye baali tebanakkiriza olw'essanyu n'okwewuunya; awo ye n'abagamba nti: “Mulinawo wano ekyokulya?”
42
Ne bamuleetera ekitundu ky'ekyennyanja ekyokye.
43
N'akikwata n'akirya mu maaso gaabwe.
44
Ate n'abagamba nti: “Ebyo bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyampandiikibwako mu Tteeka lya Musa ne mu Balanzi ne mu Zabbuli tebirirema kutuukirira.”
45
Awo n'aggula amagezi gaabwe bategeere Ebiwandiiko ebitukuvu.
46
Era n'abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristu yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olwokusatu,
47
era okubonerera n'okusonyiyibwa kw'ebibi kuteekwa okulangirirwa mu linnya lye mu mawanga gonna, okusookera ddala mu Yeruzaalemu.
48
Mmwe nno muli bajulirwa ba bino.
49
Nange ntuma mu mmwe Kitange gwe yasuubiza. Musigale mu kibuga okutuusa nga mwambaziddwa amaanyi agava waggulu.”
50
Awo n'abafulumya okutuusa ng'e Betaniya; n'asitula emikono gye n'abawa omukisa.
51
Bwe yali akyabawa omukisa, n'abavaako, n'atwalibwa mu ggulu.
52
Bo ne bamusinza, ne baddayo e Yeruzaalemu n'essanyu lingi,
53
ne babeeranga mu Kiggwa nga batendereza Katonda.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24