bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 1
2 Samuel 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
1
Awo olwatuuka Sawulo ng'amaze okufa, ne Dawudi ng'akomyewo ng'amaze okuwangula Abamaleki, era nga yakamala ennaku bbiri (2) e Zikulagi;
2
awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu (3), omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe, awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza.
3
Dawudi n'amubuuza nti, “Ova wa?” N'amuddamu nti, “Ntolose okuva mu lusiisira lwa Isiraeri.”
4
Dawudi n'amugamba nti, “Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira.” N'addamu nti, “Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.”
5
Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde?”
6
Omulenzi n'amuddamu nti, “Nnabadde ku lusozi Girubowa ne ndaba Sawulo nga agudde ku ffumu lye. Era ne ndaba ab'amagaali n'abeebagadde embalaasi nga bamufumbiikiriza.
7
Awo bwe yakyuse n'andaba, n'ampita. Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’
8
N'aŋŋamba nti, ‘Ggwe ani?’ Ne muddamu nti, ‘Nze ndi Mwamaleki.’
9
N'aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga nfumitiddwa ebiwundu by'amaanyi sijja kuwona.’
10
Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu nga amaze okugwa; ne muggyako engule eyali ku mutwe gwe, n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbikuletedde mukama wange.”
11
Awo Dawudi n'akwata engoye ze n'aziyuza; era n'abasajja bonna abaali naye ne bakola bwe batyo;
12
ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga battiddwa n'ekitala.
13
Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti, “Oli wa wa?” N'addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki.”
14
Dawudi n'amubuuza nti, “ Kiki ekyakulobera okutya okugolola omukono gwo okuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako amafuta?”
15
Dawudi n'ayita omu ku balenzi n'amugamba nti, “Sembera omutte.” N'amufumita n'amutta.
16
Dawudi n'amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; akamwa ko ye mujulirwa kubanga oyogedde nti, ‘Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”
17
Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we bwati,
18
n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda oluyimba olw'omutego; laba, lwawandiikibwa mu Kitabo kya Yasali.
19
Ekitiibwa kyo, ayi Isiraeri, kittiddwa ku bifo byo ebigulumivu! Ab'amaanyi nga bagudde!
20
Temukibuuliranga mu Gaasi, Temukyatulanga mu nguudo za Asukulooni; Abawala b'Abafirisuuti baleme okusanyuka, Abawala b'abatali bakomole baleme okujaguza.
21
Mmwe ensozi za Girubowa, Ku mmwe kuleme okubaako omusulo newakubadde enkuba, newakubadde ensuku ez'ebiweebwayo; Kubanga eyo engabo ey'ab'amaanyi gye yasuulibwa obubi, Engabo ya Sawulo, ng'ataafukibwako mafuta.
22
Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga mabega Okuva ku musaayi gw'abattibwa, ku masavu g'ab'amaanyi, N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere.
23
Sawulo ne Yonasaani baali balungi nga basanyusa mu bulamu bwabwe, Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa; Baali ba mbiro okusinga empungu, Baali ba maanyi okusinga empologoma.
24
Mmwe abawala ba Isiraeri, mukaabire Sawulo, Eyabambaza engoye ezitwakaala ez'okwesiima, Eyayonja ebyambalo byammwe ne zaabu.
25
Ab'amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku bifo byo ebigulumivu.
26
Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani; Wansanyusanga nnyo nnyini; Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo, Nga kusinga okwagala kw'abakazi.
27
Ab'amaanyi nga bagudde, N'eby'okulwanyisa nga bizikiridde!
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24