bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 16
2 Samuel 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
1
Awo Dawudi bwe yali ng'ayise katono ku ntikko y'olusozi, Ziba omuddu wa Mefibosesi n'amusisinkana ng'alina endogoyi bbiri (2) eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati bibiri (200), n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu kikumi (100), n'ebibala eby'ekyeya kikumi (100), n'ensawo ey'omwenge ey'eddiba.
2
Kabaka n'abuuza Ziba nti, “Bino oleese byaki?” Ziba n'amuddamu nti, “Endogoyi za nnyumba ya kabaka okwebagalangako, emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi bo okulyako, omwenge gwa kunywebwa abo abanaabanga bakoyedde mu ddungu.”
3
Kabaka n'abuuza nti, “Mefibosesi mukama wo ali ludda wa?” Ziba n'amuddamu nti, “Asigadde Yerusaalemi kubanga agambye nti, ‘Leero Abaisiraeri banziriza obwakabaka bwa jjajjange!’ ”
4
Awo kabaka n'agamba Ziba nti, “Byonna ebya Mefibosesi kaakano bibyo.” “Ziba n'addamu nti Neeyanziza, n'eyongere okuganja mu maaso go, ayi mukama wange kabaka.”
5
Awo kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, ne mufuluma omwo omusajja ow'oku nda y'ennyumba ya Sawulo, erinnya lye Simeeyi, mutabani wa Gera; n'afuluma n'ajja, ng'akolima.
6
N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaddu bonna abaali naye, n'abasajja bonna ab'amaanyi baali beetoolodde kabaka.
7
Awo Simeeyi n'avuma Dawudi ng'agamba nti, “Vaawo, genda, musajja ggwe omutemu era atagasa.
8
Mukama awooledde eggwanga ku ggwe olw'okutta ab'ennyumba ya Sawulo, ggwe wanyagako obwakabaka bwe. Obwakabaka Mukama kyavudde abuwa Abusaalomu mutabani wo. Laba kaakano otuuse okuzikirira, kubanga oli mutemu!”
9
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'agamba kabaka nti, “Embwa eno enfu lwaki ekuvuma? Nzikiriza ŋŋende mutemeko omutwe.”
10
Kabaka n'agamba nti, “Kiki kyenina okukola nammwe batabani ba Zeruyiya? Bwaba nga akolima nga Mukama y'amugambye nti, ‘Kolimira Dawudi;’ Kale ani anaayogera nti, ‘Kiki ekikukozeseza bw'otyo?’
11
Omubenyamini mumuleke avume kubanga Mukama yamulagidde. Olaba ne mutabani wange gwenezaalira naye ayagala okunzita!
12
Oba olyawo Mukama anaatunuulira ekibi ekinkoleddwa, naansasula mu obulungi olw'okuvumibwa bw'entyo.”
13
Awo Dawudi ne basajja ne beeyongera okutambula nga bayita mu kkubo; Simeeyi ye n'ayita ku lusozi nga abolekedde, n'agenda nga amuvuma nga era bwabakasukirira amayinja n'okubafumuliira enfuufu.
14
Awo Kabaka n'abantu bonna abaali naye ne batuuka nga bakooye ne bawumulirako awo.
15
Awo Abusaalomu ng'ali ne Akisoferi n'abasajja bonna Abaisiraeri ne bayingira Yerusaalemi.
16
Awo olwatuuka Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, najja eri kabaka Abusaalomu, n'amugamba nti, “Wangaala Ayi kabaka! Wangaala ayi kabaka!”
17
Abusaalomu n'abuuza nti, “Kusaayi nti, Bw'otyo bwoyagala mukwano gwo Dawudi? Kiki ekyakulobera okugenda naye?”
18
Kusaayi n'addamu Abusaalomu nti, “Oyo Mukama n'abantu bonna Abaisiraeri gwe balonze, nange n'abeeranga wuwe era n'abanga naye.
19
Era n'ekirala, ani gwe nnaaweereza bwe siweereza mutabani wa mukama wange? Nga bwe nnaweerezanga kitaawo, era bwe ntyo naawe bwe nnaakuweerezanga.”
20
Awo Abusaalomu n'abuuza Akisoferi nti, “Tuwe amagezi, tukole tutya?”
21
Akisoferi n'addamu Abusaalomu nti, “Genda weegatte n'abazaana bakitaawo b'alese okukuuma olubiri; Isiraeri yenna balikiwulira balimanya nga kitaawo akukyaye, olwo abantu bonna abali naawe ne balyoka beeyongera amaanyi.”
22
Awo ne baterawo Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba; Abusaalomu n'agenda neyeegatta n'abazaana ba kitaawe nga Isiraeri yenna alaba.
23
Mu biro ebyo amagezi gonna Akisoferi ge yawanga gakkirizibwanga nga agavudde eri Katonda; era Dawudi ne Abusaalomu ne bagagobereranga.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24