bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 3
2 Samuel 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
1
Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi; Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu.
2
Bano be batabani ba Dawudi be yazaalira e Kebbulooni; Omubereberye ye Amunoni, nnyina nga ye Akinoamu Omuyezuleeri;
3
Ow'okubiri ye Kireyaabu, nga nnyina ye Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri; Ow'okusatu ye Abusaalomu, nga nnyina ye Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w'e Gesuli;
4
Ow'okuna ye Adoniya, nga nnyina ye Kaggisi; ow'okutaano ye Sefatiya, nga nnyina ye Abitali;
5
Ow'omukaaga ye Isuleyamu, nga nnyina ye Egula mukazi wa Dawudi. Abo Dawudi be yazaalira e Kebbulooni.
6
Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi; mu nnyumba ya Sawulo.
7
Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya; Isubosesi n'abuuza Abuneeri nti, “Lwaki wegatta n'omuzaana wa kitange?”
8
Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti, “Olowooza ndi mutwe gwe mbwa ya Yuda? Okutuusa kaakati mbadde ku ludda lw'ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, kyokka onnanze omusango ogw'omukazi oyo.
9
Nze Abuneeri, Katonda anzitte, bwe sirituukiriza ekyo Mukama kyeyalayirira Dawudi;
10
okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n'okusimba entebe ya Dawudi okufuga Isiraeri ne Yuda, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba.”
11
Isubosesi n'atayinza kwanukula Abuneeri kigambo kirala, kubanga yamutya.
12
Amangwago Abuneeri n'atuuma ababaka eri Dawudi okumugamba nti, “Ani nannyini nsi? Kola nange endagaano ndyoke nkuyambe okuzza Isiraeri yonna ku ludda lwo.”
13
Dawudi n'amuddamu nti, “Kale, nja kulagaana naawe, singa onookkiriza okundeetera Mikali muwala wa Sawulo ng'ojja okundaba.”
14
Awo Dawudi n'atuuma ababaka eri Isubosesi mutabani wa Sawulo ng'agamba nti, “Mpa mukazi wange Mikali gwe nnaasasulira ebikuta ekikumi (100) eby'Abafirisuuti.”
15
Awo Isubosesi n'atumya Mikali, n'amuggya ku bba Palutieri mutabani wa Layisi.
16
Palutieri n'agenda ng'akaaba, n'awondera Mikali okutuuka mu kibuga Bakulimu. Abuneeri n'agamba Palutieri nti, “Genda, ddayo eka.” Awo n'addayo.
17
Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti, “Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe;
18
kale kaakano mukikole, kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti, ‘Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi mwendirokolera abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna.’ ”
19
Abuneeri era n'ayogera n'Ababenyamini n'alyoka agenda e Kebbulooni okutegeeza Dawudi Ababenyamini n'Abaisiraeri bonna kye basazeewo okukola.
20
Awo Abuneeri n'ajja eri Dawudi n'abasajja abiri (20). Dawudi n'abafumbira embaga.
21
Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti, “Nja kusituka ŋŋende nkuŋŋaanyize Abaisiraeri bonna gy'oli mukama wange kabaka, bakole naawe endagaano, olyoke ofuge bonna nga bwe wayagala.” Awo Dawudi n'asiibula Abuneeri, Abuneeri n'agenda mirembe.
22
Mu kaseera ako, Yowaabu n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne bakomawo okuva mu kikwekweto nga bazze n'omunyago mungi. Kyokka baasanga Abuneeri takyali na Dawudi mu Kebbulooni, kubanga Dawudi yali amusiibudde, era Abuneeri ng'agenze mirembe.
23
Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti, “Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusiibudde mirembe”
24
Awo Yowaabu n'agenda eri kabaka Dawudi n'amugamba nti, “Okoze ki kino! Abuneeri okujja gy'oli n'amuleka n'agenda bugenzi?”
25
Mmanya nga Abuneeri mutabani wa Neeri yazze kukulimba, n'okumanya bw'ofuluma ne bw'oyingira n'okumanya byonna by'okola.
26
Awo Yowaabu bwe yava ewa Dawudi n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamusanga ku luzzi lwa Siira ne bamukomyawo naye nga Dawudi tamanyi.
27
Abuneeri bwe yakomawo mu Kebbulooni, Yowaabu n'amuzza ku bbali w'omulyango, n'aba ng'ayagala okumukuba akaama. Bwe baali awo, n'amufumita olubuto n'amutta, kubanga Abuneeri yali asse Asakeri muganda we.
28
Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti, “Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri;
29
gubeerenga ku Yowaabu n'abennyumba ya kitaawe yonna! Era mu buli mulembe gwonna, mu nnyumba ya Yowaabu mubengamu omulwadde w'enziku, omugenge, omulema, attirwa mu lutalo, oba abulwa emmere.”
30
Bwe batyo Yowaabu ne Abisaayi muganda we bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asakeri e Gibyoni mu lutalo.
31
Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna nti, “Muyuze engoye zammwe, mwesibe ebibukutu, mukungubagire Abuneeri.” Kabaka Dawudi n'agoberera olunnyo.
32
Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni; kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonna ne bakaaba amaziga.
33
Kabaka n'akungubagira Abuneeri n'ayogera nti, “Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa?
34
Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba; Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo.” Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga.
35
Abantu bonna ne bajja okusikiriza Dawudi okulya ku mmere nga obudde bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti, “Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba lw'eneegwa!”
36
Kino abantu bonna ne bakitegeera, ne kibasanyusa. Era byonna kabaka Dawudi bye yakolanga, abantu baabisiimanga.
37
Abantu ba Dawudi bonna n'abantu ba Isiraeri bonna, ne bakitegeera ku lunaku olwo nti tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri.
38
Kabaka n'agamba abaweereza be nti, “Temumanyi nti omukulembeze ow'amaanyi era ow'ekitiibwa mu Isiraeri afudde olwa leero?
39
Newakubadde nga nnafukibwako amafuta okuba kabaka, olwaleero mpulira nga sirina maanyi. Batabani ba Zeruyiya bano bayitiridde okuba abakakanyavu gyendi. Akoze ekibi ekyo, Mukama amusasule ng'obubi bwe, bwe buli!”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24