bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 23
2 Samuel 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
1
Era bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Omusajja eyagulumizibwa ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era eyayiya zabbuli za Isiraeri ezisanyusa;
2
Omwoyo gwa Mukama gwogerera mu nze, Ekigambo kye kiri ku lulimi lwange.
3
Katonda wa Isiraeri yayogera, Lwazi lwa Isiraeri yaŋŋamba; Omuntu afuga abantu n'obutuukirivu, Afuga ng'atya Katonda,
4
Ali ng'akasana k'oku makya, ak'enjuba ng'evaayo, Akaaka ku ggulu okutali bire; ne katangalijja ku muddo, enkuba ng'ekedde.
5
Mazima ennyumba yange bw'eri bw'etyo eri Katonda; Kubanga yalagaana nange endagaano ey'olubeerera, Eteredde mu byonna era ey'enkalakkalira; Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era bye nneegomba byonna, ajja kubituukiriza.
6
Naye abatatya Katonda bonna baliba ng'amaggwa agasindikirizibwa, Kubanga tegayinza kukwatibwa na ngalo;
7
Naye omuntu agakwasaako, kyuma na lunyago lwa ffumu; ne gokerwa awo, obutasigalawo na limu.
8
Gano ge mannya g'abasajja ba Dawudi abalwanyi abaatiikirivu be yalina! asooka ye Yosebubasu-sebesi Omutakemoni, omukulu w'Abasatu. Era yali ayitibwa Adino Omwezeni, kubanga yalwana n'abasajja lunaana (800) be yatta omulundi gumu.
9
Ow'okubiri ku basatu (3) abo ab'amaanyi ye Ereazaali, mutabani wa Dodayi, Dodayi mutabani wa Akoki. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abaisiraeri bonna ne badduka.
10
Naye ye n'asituka n'atta Abafirisuuti, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo. Abaisiraeri ne bakomawo awali Ereazaali, lwa kunyaga obunyazi.
11
Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omukalali. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjude ebijanjaalo, Abaisiraeri ne badduka Abafirisuuti abo.
12
Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti; Mukama n'aleeta okuwangula okunene.
13
Awo abasatu ku bakulu asatu (30) ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adulamu, mu kiseera eky'amakungula ng'ekibinja ky'Abafirisuuti kisiisidde mu kiwonvu ky'e Lefayimu.
14
Era Dawudi yali mu mpuku mu biro ebyo n'Abafirisuuti ab'omu kigo baali mu Besirekemu.
15
Awo Dawudi n'ayagala okunywa ku mazzi, n'agamba nti, “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunya agava mu luzzi olw'e Besirekemu, oluli ku wankaaki!”
16
Abasajja abo abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwalira Dawudi; naye Dawudi n'agaana okuganywako, naye n'agayiwa ku ttaka okuba ekiweebwayo eri Mukama.
17
N'agamba nti, “Kikafuuwe, ayi Mukama, nze okunywa amazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima!” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo abasajja abasatu (3) ab'amaanyi bye baakola.
18
Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja asatu (30) ab'amaanyi. Y'agalula effumu lye okulwana n'abasajja bisatu (300) n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu asatu (30).
19
Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu (3).
20
Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri owa Mowaabu bombi; era lumu mu biseera eby'omuzira yekka mu bunnya n'atta empologoma;
21
era yatta Omumisiri, omusajja omulungi. Omumisiri yali akutte effumu mu mukono gwe; Benaya nga alina omuggo n'aserengeta eri Omumisiri, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri n'amutta.
22
Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi.
23
Yasinga ekitiibwa abo asatu (30) naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi.
24
Abalala ku basajja asatu (30) be bano: Asakeri muganda wa Yowaabu; Erukanani mutabani wa Dodo Omubesirekemu;
25
Samma Omukalodi; Erika Omukalodi;
26
Kerezi Omupaluti, Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa;
27
Abiyezeeri Omwanasosi, Mebunnayi Omukussai;
28
Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa;
29
Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow'e Gibeya eky'abaana ba Benyamini;
30
Benaya Omupirasoni, Kiddayi ow'oku bugga obw'e Geyaasi;
31
Abi-aluboni Omwalubasi, Azumavesi Omubalukumi;
32
Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani;
33
Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali;
34
Erifereti mutabani wa Akasubayi omwana w'omu Maakasi, Eriyamu mutabani wa Akisoferi Omugiro;
35
Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi;
36
Igali mutabani wa Nasani ow'e Zoba, Bani Omugaadi;
37
Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, abaasitulanga eby'okulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya;
38
Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli;
39
ne Uliya Omukiiti; bonna awamu baali asatu mu musanvu (37).
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24